Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apu. 1
“Okuva bwe kiri nti obutonde bw’ensi bukozesebwa bubi, wali weebuuzizzaako obanga ddala ensi eno eneesobola okubaawo emirembe gyonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kino ekizzaamu amaanyi. [Soma Zabbuli 104:5.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku biseera by’ensi eby’omu maaso.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
Awake! Apu.
“Olw’okuba tulina eby’okukola bingi, bangi bakisanga nga kizibu okuffisaawo akadde ak’okusinza Katonda. Ekyo naawe okisanga nga kizibu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaefeso 5:15-17.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku biseera n’amaanyi Katonda by’atusuubira okuwaayo mu buweereza bwe.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower May. 1
“Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu ekyo kyokka kye balabako. Okkiriziganya nabo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 1:20.] Magazini eno eyogera ku ngeri za Katonda ssatu ezeeyolekera mu bitonde era n’engeri gye tusobola okukwatibwako nga tuzitegedde.”
Awake! May.
“Abantu bangi leero batya ebiseera eby’omu maaso. Ggwe olowooza ebintu bineeyongera kuba birungi oba bibi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 21:3, 4.] Magazini eno ewa ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti mangu ddala Katonda ajja kuggyawo ebizibu byonna eby’amaanyi abantu bye balemereddwa okumalawo.”