Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Wali weebuuzizzaako obanga ebintu abantu bye bakola birina engeri gye bikwata ku Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri enneeyisa yaffe gy’ekwata ku Katonda. [Soma Engero 27:11.] Magazini eno eyogera ku bantu abamu abaasanyusa omutima gwa Katonda, era ennyonnyola engeri naffe gye tuyinza okumusanyusa.”
Awake! May. 22
“Okukulaakulana mu by’ekisawo kusobozesezza okulwanyisa endwadde, naye olowooza ekiseera kirituuka ensi yonna n’eba nga tekyalimu ndwadde? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola nti luliba olwo bonna abali ku nsi ne baba n’obulamu obulungi ng’ekisuubizo kino kituukirizibwa.” Soma Isaaya 33:24.
The Watchtower Jun. 1
“Abantu abamu balowooza nti tekibeetaagisa kubeera mu kibiina kyonna eky’eddiini okusobola okusinza Katonda. Ekyo wali okirowoozezzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu mu biseera ebyayita. Era ennyonnyola kye kitegeeza okusinza Katonda mu mazima.” Soma Yokaana 4:24.
Awake! Jun. 8
“Abantu bangi leero bawulira ekiwuubaalo. Ekyo kizingiramu okuwulira nti tolina nkolagana n’abalala. Tokkiriziganya nange nti embeera ng’eyo eba nzibu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 25:16.] Awake! eno ennyonnyola engeri y’okuvvuunukamu ekiwuubaalo.”