Eby’Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Olowooza oyinza okunyumirwa obulamu mu mbeera ezoogerwako mu kyawandiikibwa kino? [Soma 2 Peetero 3:13. Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola amakulu g’eggulu eriggya n’ensi empya. Era eraga engeri obulamu gye bujja okuba obw’enjawulo nga Katonda atuukirizza ebigendererwa bye eri ensi.”
Awake! May.
“Abantu abamu balowooza nti okusobola okutuuka ku buwanguzi mu nsi eya kaakano, olina kuba mukambwe. Okwawukana ku ekyo, weetegereze Yesu ky’atukubiriza. [Soma Matayo 5:5, 9.] Ebigambo ebyo okkiriziganya nabyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga emiganyulo esatu egiva mu kubeera ow’emirembe.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Jun. 1
“Mu mawanga agasinga obungi, bannamukadde bassibwangamu ekitiibwa, nga bwe kiri mu teeka lino ery’edda. [Soma Eby’Abaleevi 19:32.] Olowooza kino kikyaliwo leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Katonda gy’afaayo ku bannamukadde era naffe engeri gye tusobola okumukoppa.”
Awake! Jun.
“Obwa nnalukalala si kintu kippya, naye ennaku zino bubunye ensi yonna, era buli omu ali mu kabi. Lwaki olowooza kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erimu ebyawandiikibwa ebiraga ekiseera obwa nnalukalala lwe buliggwaawo era n’engeri Katonda gy’anaaleetawo emirembe ku nsi.” Soma Mikka 4:4.