Watchtower eri mu Lungereza Olugonzeddwamu
TULI basanyufu okubanjulira magazini ya Watchtower, omuli ebitundu eby’okusoma mu kibiina, egenda okusooka okufulumizibwa mu Lungereza olugonzeddwamu. Magazini eyo ejja kufulumizibwanga buli mwezi okumala omwaka gumu, era bwe kinaaba kyetaagisa, ejja kwongera okufulumizibwa. Ejja kuweerezebwanga mu bibiina mu kiseera kye kimu n’eyo ebaddewo.
Kikulu nnyo buli omu okutegeera obulungi ebyo bye tuyiga mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki kubanga olukuŋŋaana olwo ye ngeri enkulu “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” mw’ayitira okuyigiriza abantu ba Katonda leero. (Mat. 24:45) Naye lwaki Watchtower ey’Olungereza olugonzeddwamu yeetaagisa?
Ab’oluganda bangi mu nsi, gamba nga Fiji, Ghana, Kenya, Liberia, Nigeria, Papua New Guinea, ne Solomon Islands bakozesa olulimi Olungereza. Wadde ng’ab’oluganda mu nsi ng’ezo boogera ennimi ezikozesebwa mu nsi zaabwe, oba enzaaliranwa, batera okukozesa Olungereza mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka Olungereza lwe bakozesa lwangu okusinga ku olwo lwe tukozesa mu bitabo byaffe. Ate era waliwo n’abantu ba Yakuwa bangi abasengukidde mu bitundu by’ensi ebitali bimu nga kibeetaagisa okukozesa Olungereza wadde nga bayinza okuba nga tebalumanyi bulungi. Oluusi mu bitundu gye baba bagenze wayinza obutabaayo kibiina kyogera lulimi lwabwe.
Wadde nga magazini eyo ekozesa Olungereza olwangu okusinga eyo ab’oluganda gye babadde bakozesa, zombi zijja kubaamu ebitundu eby’okusoma bye bimu. Zombi zijja kubaamu ebibuuzo, ebifaananyi, n’akasanduuko ak’okwejjukanya. Kino kitegeeza nti buli omu ajja kwesalirawo magazini ki gy’anaakozesa mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu bibiina eby’olulimi Olungereza. Okusobola okulaba enjawulo eri wakati wa Watchtower eya bulijjo (Standard English) n’ey’Olungereza olugonzeddwamu (Simplified English), laba ekyokulabirako wammanga okuva mu katundu ak’okubiri ak’ekitundu eky’okusoma ekisooka mu magazini ez’Olungereza.
Tusuubira nti magazini eyo eri mu Lungereza olugonzeddwamu ejja kuyamba bangi ababadde basaba Yakuwa nti: “Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.” (Zab. 119:73) Tuli bakakafu nti abo abatamanyi bulungi Lungereza awamu n’abaana abato, bajja kusobola bulungi okweteekerateekera olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi olwa buli wiiki. Ettendo lyonna n’ekitiibwa ka bidde eri Yakuwa kubanga, olw’okwagala kw’alina eri abantu be bonna, akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okubawa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi.—1 Peet. 2:17; Mat. 24:45.
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa