LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/12 lup. 2
  • Onooganyulwa mu Watchtower Egonzeddwamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onooganyulwa mu Watchtower Egonzeddwamu?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • Watchtower eri mu Lungereza Olugonzeddwamu Lwaki Yatandika Okukubibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Watchtower eri mu Lungereza Olugonzeddwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Omunnaala gw’Omukuumi Omuli Ebitundu eby’Okusoma mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Enkyukakyuka Ezisanyusa Ezikwata ku Watchtower!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 2/12 lup. 2

Onooganyulwa mu Watchtower Egonzeddwamu?

Kati waliwo magazini ya Watchtower omuli ebitundu eby’okusoma mu kibiina eri mu Lungereza olugonzeddwamu. Magazini eno ya kuyamba (1) ababuulizi aboogera Olungereza, abandyagadde okukozesa olulimi olugonzeddwamu, olw’okuba balina obuyigirize butono; (2) ababuulizi abakozesa Olungereza naye nga si lwe lulimi lwabwe oluzaaliranwa; (3) abaana oba abavubuka, nga mw’otwalidde n’abo abali mu bibiina ebya wansi; ne (4) abayizi ba Bayibuli abeetaaga olulimi olwangu okusobola okutegeera obulungi amazima.

Obutundu obusomebwa, ebibuuzo, n’emitwe bikwatagana n’ebya magazini eya bulijjo. Ebigirimu bifaanaganira ddala n’ebyo ebiri mu magazini eya bulijjo, naye olulimi lwe lugonzeddwamu. Akubiriza n’oyo asoma obutundu ba kukozesanga Watchtower eya bulijjo okuggyako ng’abasinga obungi bakozesa egonzeddwamu. Wadde kiri kityo, Watchtower egonzeddwamu erimu ebyawandiikibwa bye bimu n’ebyokulabirako bye bimu era abagikozesa bajja kuba basobola okugoberera ng’obutundu busomebwa n’okubaako bye baddamu.

Oyo yenna eyandyagadde okufuna magazini eno asaanidde okuwaayo okusaba kwe eri ow’oluganda akola ku magazini.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share