Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 12
WIIKI ETANDIKA MAAKI 12
Oluyimba 83 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 13 ¶7-13 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 5-7 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 5:15-25 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Edda Katonda Yakkiriza Abantu Okuwasa oba Okufumbirwa Bannyinaabwe?—rs-E lup. 252 ¶5–lup. 253 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Yakuwa Akuuma Atya Abantu Be ne Batatuukibwako Kabi mu by’Omwoyo? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza—Ekitundu 2. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 57, akatundu 3, okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lupapula 59.
Ddak. 10: Ka Bulijjo Tuweeyo eri Katonda Ssaddaaka ez’Okutendereza. (Beb. 13:15) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2011, olupapula 59, akatundu 1-2, n’olupapula 70, akatundu 7. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: “Mukolenga Bwe Mutyo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Tegeeza abawuliriza ekiseera n’ekifo awanaabeera omukolo gw’Ekijjukizo.
Oluyimba 109 n’Okusaba