LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 56-lup. 61 kat. 3
  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weesige Yakuwa
  • Wa Yakuwa Ekitiibwa
  • ‘Laga Enjawulo’
  • Yamba Abakuwuliriza Okulowooza
  • Luubirira Okutuuka ku Mutima
  • Balage Omugaso Gwabyo
  • Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • ‘Weerokole Wekka n’Abo Abakuwuliriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ssaayo Omwoyo ku ‘Kuyigiriza’ Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 56-lup. 61 kat. 3

Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza

OBEERA na kiruubirirwa ki ng’oyigiriza? Bw’oba nga wakafuuka omubuulizi ow’Obwakabaka, awatali kubuusabuusa oyagala nnyo okumanya engeri y’okuyigirizaamu omuntu Baibuli, okuva bwe kiri nti Yesu yawa abagoberezi be omulimu gw’okufuula abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Bw’oba olina obumanyirivu mu kuyigiriza Baibuli, oboolyawo kati olina ekiruubirirwa eky’okutuuka ku mitima gy’abo b’oyigiriza mu ngeri esingawo. Bw’oba oli muzadde, mazima ddala wandyagadde okuyigiriza abaana bo basobole okwewaayo eri Katonda. (3 Yok. 4) Bw’oba ng’oli mukadde mu kibiina oba ng’oluubirira okufuuka omukadde, oboolyawo oyagala n’okubeera omwogezi asobola okukubiriza abawuliriza okusiima Yakuwa n’amakubo ge. Oyinza otya okutuuka ku biruubirirwa ebyo?

Yigira ku Muyigiriza Omukugu, Yesu Kristo. (Luk. 6:40) K’abe nga yali ayigiriza kibinja ky’abantu ku lusozi oba bantu abatonotono nga batambula ku luguudo, engeri gye yabayigirizangamu era n’ebyo bye yabayigirizanga byabakwatangako nnyo. Yesu yatuukanga ku mitima gy’abo abaamuwulirizanga, era n’abalaga engeri y’okuteeka mu nkola bye yali abayigiriza. Naawe osobola okuyigiriza bw’otyo?

Weesige Yakuwa

Yesu yayigirizanga bulungi olw’okuba yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe ow’omu ggulu era n’obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda. Osaba Yakuwa mu bwesimbu akuyambe osobole okuyigiriza obulungi abantu Baibuli? Bw’oba oli muzadde, osaba Katonda obutayosa akuwe obulagirizi mu kuyigiriza abaana bo? Osaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwo ng’ogenda okuteekateeka emboozi oba okukubiriza enkuŋŋaana? Okwesiga Yakuwa ng’oyitira mu kusaba kijja kukuyamba okuba omuyigiriza omulungi ddala.

Ate era bwe twesiga Baibuli, kiba kyoleka nti twesiga Yakuwa. Mu kiro ekyasembayo ng’akyali mulamu ng’omuntu atuukiridde, Yesu yasaba bw’ati Kitaawe: “Mbawadde ekigambo kyo.” (Yok. 17:14) Wadde nga Yesu yali amanyi ebintu bingi, yakiraga bulungi nti ebyo bye yabuuliranga abantu tebyali bibye ku bubwe. Yayogeranga ebyo byokka Kitaawe bye yamuyigiriza, mu ngeri eyo n’atuteekerawo ekyokulabirako eky’okugoberera. (Yok. 12:49, 50) Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kirina amaanyi agasobola okukyusa ebikolwa by’abantu, ebirowoozo, n’enneewulira zaabwe. (Beb. 4:12) Bwe weeyongera okumanya ebiri mu Kigambo kya Katonda era n’oyiga n’okubikozesa obulungi mu buweereza bwo, ojja kuyigiriza abantu mu ngeri eneebasobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.​—2 Tim. 3:16, 17.

Wa Yakuwa Ekitiibwa

Okuyigiriza nga Kristo tekitegeeza kuwa buwi mboozi esanyusa. Kyo kituufu nti, abantu baawuniikirira ‘olw’ebigambo bya Yesu ebirungi.’ (Luk. 4:22) Naye Yesu yalina kiruubirirwa ki mu kwogera obulungi bw’atyo? Ekiruubirirwa kye kyali kuwa Yakuwa kitiibwa, so si kwegulumiza. (Yok. 7:16-18) Era yakubiriza bw’ati abagoberezi be: ‘Omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g’abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.’ (Mat. 5:16) Okubuulirira okwo kwandibaddeko kye kukola ku ngeri gye tuyigirizaamu. Twandyewaze ekintu kyonna ekyandituggye ku kigendererwa eky’okugulumiza Katonda. N’olwekyo, bwe tuba tuteekateeka bye tunaayogera oba engeri gye tunaabyogeramu, kyandibadde kirungi twebuuze, ‘Bye ŋŋenda okwogera binaaleetera abalala okugulumiza Yakuwa, oba binaagulumizisa nze?’

Okukozesa ebyokulabirako n’okwogera ku bintu ebyaliwo ddala mu bulamu kiyinza okutuyamba mu kuyigiriza. Kyokka, ekyokulabirako bwe kiba ekiwanvu ennyo oba bw’owa kalonda yenna akwata ku kintu ekyo ekyaliwo ddala, amakulu gayinza obutavaayo. Mu ngeri y’emu, n’okwogera obwogezi ebintu ebisanyusa kiyinza okutuwugula okuva ku kigendererwa ky’obuweereza bwaffe. Mu kukola ekyo, ayigiriza aba yeegulumiza mu kifo ky’okugulumiza Katonda.

‘Laga Enjawulo’

Omuntu okusobola okufuuka omuyigirizwa, ateekwa okutegeera obulungi bye bamuyigiriza. Alina okumanya amazima era n’alaba engeri gye gaawukana ku nzikiriza endala. Bwe tugeraageranya amazima n’enzikiriza endala ayinza okulaba enjawulo eriwo.

Emirundi mingi Yakuwa yakubiriza abantu be ‘okwawulawo’ ekirongoofu n’ekitali kirongoofu. (Leev. 10:9-11) Yagamba nti abo abaali bagenda okuweereza mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo baali ba kuyigiriza abantu ‘enjawulo eriwo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu.’ (Ezk. 44:23) Ekitabo ky’Engero kiraga enjawulo eriwo wakati w’obutuukirivu n’obubi, amagezi n’obusirusiru. N’ebintu ebifaanagana biyinza okwawulibwa. Omutume Pawulo yalaga enjawulo eriwo wakati w’omuntu omutuukirivu n’omuntu omulungi, nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 5:7. Mu kitabo ky’Abaebbulaniya, Pawulo yalaga nti obwakabona bwa Kristo busingira wala obw’Alooni. Omusomesa, John Amos Comenius, ow’omu kyasa 17, yawandiika: “Okuyigiriza kitegeeza okulaga engeri ebintu gye byawukana mu mugaso gwabyo, mu nkula yaabyo n’ensibuko yaabyo. . . . N’olwekyo, oyo alaga enjawulo eriwo wakati w’ebintu, abeera muyigiriza mulungi.”

Ka tugambe nti oyigiriza omuntu ku Bwakabaka bwa Katonda. Singa omuntu oyo aba tategeera Bwakabaka kye buli, oyinza okumulaga engeri ekyo Baibuli ky’eyogera gye kyawukana ku njigiriza egamba nti Obwakabaka eba mbeera bubeera mu mutima gw’omuntu. Oba oyinza okumulaga engeri Obwakabaka gye bwawukana ku gavumenti z’abantu. Kyokka, abo abalina kye babumanyiiko, oyinza okubannyonnyola ekisingako awo. Oyinza okubalaga engeri Obwakabaka bwa Masiya gye bwawukana ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, obwogerwako mu Zabbuli 103:19, oba engeri gye bwawukana ku ‘bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa,’ obwogerwako mu Abakkolosaayi 1:13, oba ku ‘buwanika,’ obwogerwako mu Abeefeso 1:10. Okulaga engeri ebyo gye byawukanamu kiyinza okuyamba abakuwuliriza okutegeerera ddala obulungi enjigiriza eno enkulu ey’omu Baibuli.

Yesu yayigirizanga mu ngeri eyo. Yageraageranya engeri abantu gye baategeeramu Amateeka ga Musa n’ekigendererwa kyennyini ekyagateekesaawo. (Mat. 5:21-48) Yalaga enjawulo eriwo wakati w’okutya Katonda n’ebikolwa by’Abafalisaayo eby’obunnanfuusi. (Mat. 6:1-18) Yageraageranya omwoyo gw’abo ‘abaakajjalanga’ ku balala n’ogw’okwefiiriza abagoberezi be gwe bandiraze. (Mat. 20:25-28) Lumu, nga bwe kiragibwa mu Matayo 21:28-32, Yesu yakubiriza abamuwuliriza okugeraageranya omuntu eyeetwala okuba omutuukirivu n’oyo eyeenenya mu bwesimbu. Kino kitutuusa ku ngeri endala ey’omuganyulo mu kuyigiriza okulungi.

Yamba Abakuwuliriza Okulowooza

Mu Matayo 21:28, Yesu yabuuza nti: “Mulowooza mutya?” Omuyigiriza omulungi tayogera bwogezi oba n’awa obuwi eby’okuddamu. Wabula, ayamba abamuwuliriza okulowooza. (Nge. 3:21; Bar. 12:1) Mu ngeri emu, kino kikolebwa ng’obuuza ebibuuzo. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 17:25, Yesu yabuuza: ‘Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b’ensi bawooza oba basolooza ku bantu ki? Baana baabwe nantiki bannaggwanga?’ Ebibuuzo ng’ebyo Yesu bye yabuuza, ebireetera omuntu okulowooza, byayamba Peetero okufuna eky’okuddamu ekituufu ekikwata ku kusasula omusolo gwa yeekaalu. Mu ngeri y’emu, bwe yali ayanukula omusajja eyali amubuuzizza nti: “Muliraanwa wange ye ani?” Yesu yageraageranya ekyo kabona n’Omuleevi kye baakola n’ekyo Omusamaliya kye yakola. Oluvannyuma yabuuza: “Aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w’oyo eyagwa mu batemu?” (Luk. 10:29-36) Era ne wano, mu kifo ky’okuwa omusajja oyo eky’okuddamu, Yesu yamuyamba okweddamu ekibuuzo kye.​—Luk. 7:41-43.

Luubirira Okutuuka ku Mutima

Abayigiriza abategeera Ekigambo kya Katonda bakimanyi nti okusinza okw’amazima tekukoma ku kujjukira bujjukizi bintu n’okukwata amateeka. Kwesigamiziddwa ku kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era n’okusiima amakubo ge. Okusinza ng’okwo kuva ku mutima. (Ma. 10:12, 13; Luk. 10:25-27) Mu Byawandiikibwa, ekigambo “omutima” emirundi mingi kitegeeza ekyo omuntu ky’ali munda, nga mw’otwalidde ebintu bye yeegomba, enneewulira ze, n’ebiruubirirwa bye.

Yesu yali akimanyi nti wadde abantu batunuulira endabika ey’okungulu, Katonda ye atunuulira mutima. (1 Sam. 16:7) N’olwekyo, twandiweerezza Katonda olw’okuba tumwagala so si lwa kuba nti twagala kusanyusa bantu. (Mat. 6:5-8) Ku ludda olulala, bo, Abafalisaayo baakolanga ebintu bingi olw’okweraga. Baateeka nnyo essira ku kukwata Amateeka obutiribiri n’okugoberera obulombolombo bwabwe. Kyokka baalemererwa okwoleka engeri za Katonda gwe baali beegamba okusinza. (Mat. 9:13; Luk. 11:42) Yesu yayigiriza nti wadde okukwata amateeka ga Katonda kikulu nnyo, ekiri mu mutima gwaffe kye kiragira ddala obanga tugasiima. (Mat. 15:7-9; Mak. 7:20-23; Yok. 3:36) Engeri gye tuyigirizaamu ejja kuvaamu ebirungi bingi singa tukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Kikulu nnyo ffe okuyigiriza abantu Katonda ky’abeetaagisa. Ate era kikulu nnyo okubayamba okumanya Yakuwa ng’omuntu owa ddala era n’okumwagala, ne kiba nti engeri gye beeyisaamu eraga nti enkolagana ennungi ne Katonda ow’amazima bagitwala ng’ekintu ekikulu.

Kya lwatu nti, abantu okusobola okuganyulwa mu ebyo bye bayiga, beetaaga okukebera emitima gyabwe mu bwesimbu. Yesu yakubiriza abantu okwekenneenya ebiruubirirwa n’enneewulira zaabwe. Bwe yabanga atereeza endowooza enkyamu, Yesu yabuuzanga abamuwuliriza ensonga eyabalowoozesa, eyaboogeza oba eyabakozesa ebintu ebimu. Yesu teyakomanga ku kubabuuza nsonga lwaki, wabula yawanga n’ekyokulabirako, oba n’abaako ky’akola okubayamba okutereeza endowooza yaabwe. (Mak. 2:8; 4:40; 8:17; Luk. 6:41, 46) Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okuyamba abawuliriza nga tubakubiriza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Lwaki nsikirizibwa ekikolwa kino? Lwaki nneeyisa bwe nti mu mbeera ng’eno?’ Oluvannyuma, tubakubirize okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira.

Balage Omugaso Gwabyo

Omuyigiriza omulungi amanyi nti ‘amagezi kintu kikulu nnyo.’ (Nge. 4:7) Amagezi bwe busobozi bw’okukozesa okutegeera okusobola okugonjoola ebizibu, okwewala akabi, okutuuka ku biruubirirwa by’otaddewo, n’okuyamba abalala. Buvunaanyizibwa bw’oyo ayigiriza okuyamba b’ayigiriza okuyiga okukozesa amagezi okwesalirawo so si ye kubasalirawo. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku misingi gya Baibuli, yamba gw’oyigiriza okugifumiitirizaako. Oyinza okwogera ku mbeera etera okubaawo mu bulamu obwa bulijjo era oluvannyuma n’omubuuza engeri omusingi gwa Baibuli gw’ayize gye gusobola okumuyambamu singa yeesanga mu mbeera ng’eyo.​—Beb. 5:14.

Ng’ayogera eri abantu ku Pentekoote 33 C.E., omutume Peetero yayogera mu ngeri eyakwata ku bulamu bw’abantu. (Bik. 2:14-36) Oluvannyuma lw’okwogera ku byawandiikibwa abantu bye baali bamanyi bulungi, Peetero yabalaga engeri gye byali bibakwatako ng’asinziira ku bye baali balabye. N’ekyavaamu, abamuwuliriza baalaba obwetaavu bw’okukolera ku ebyo bye baali bawulidde. Engeri gy’oyigirizaamu ekwata ku bantu mu ngeri y’emu? Abantu tobategeeza butegeeza nsonga naye obayamba n’okuzinnyonnyoka? Obakubiriza okulaba engeri bye bayiga gye bikwata ku bulamu bwabwe? Bayinza obutakubuuza nti “tukole ki?” ng’abantu abaaliwo ku Pentekoote bwe baakola, naye singa obeera onnyonnyodde bulungi ebyawandiikibwa, bajja kukubirizibwa okubaako kye bakolawo.​—Bik. 2:37.

Nga musoma Baibuli n’abaana bammwe, mmwe abazadde muba n’omukisa okubayamba okulaba omugaso gw’emisingi gya Baibuli. (Bef. 6:4) Ng’ekyokulabirako, oyinza okulondayo ennyiriri entonotono mu kusoma kwa Baibuli okwa wiiki eyo, ne mukubaganya ebirowoozo ku makulu gaazo, n’oluvannyuma n’obuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ennyiriri zino zituwa bulagirizi ki? Tuyinza tutya okuzikozesa nga tuli mu buweereza? Zooleka ki ku Yakuwa n’engeri gy’akolamu ebintu, era ekyo kituleetera kitya okumusiima?’ Kubiriza ab’omu maka go okwogera ku nsonga ezo mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu kitundu eky’okukubaganya ebirowoozo ku bikulu ebibadde mu kusoma kwa Baibuli okwa wiiki eyo. Ennyiriri ze banaayogerako zeezo ze bajja okujjukira.

Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi

Osobola okuyigiriza abantu ng’oyitira mu by’oyogera ate era ne mu by’okola. Ebikolwa byo bisobola okubayamba okulaba engeri gye bayinza okussa mu nkola ebyo by’oyigiriza. Eno ye ngeri abaana gye bayigamu. Bwe bakoppa bazadde baabwe, balaga nti baagala okubafaanana. Baagala okumanya ekivaamu singa bakola nga bazadde baabwe. Mu ngeri y’emu, abo be tuyigiriza ‘bwe batukoppa nga naffe bwe tukoppa Kristo,’ batandika okufuna emikisa egiva mu kutambulira mu makubo ga Yakuwa. (1 Kol. 11:1) Nabo batandika okulaba engeri Katonda gy’akolaganamu n’abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

Kino kitulaga bulungi obukulu bw’okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe ‘tweyisa obulungi era ne twoleka ebikolwa eby’okutya Katonda’ tuba tuteekerawo be tuyigiriza ekyokulabirako ku ngeri y’okussa mu nkola emisingi gya Baibuli. (2 Peet. 3:11) Bw’okubiriza omuyizi wa Baibuli okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa, naawe fuba okukisoma obutayosa. Bw’oba oyagala abaana bo okuyiga okukolera ku misingi gya Baibuli, kakasa nti ebikolwa byo bituukana ne Katonda by’ayagala. Bw’okubiriza abali mu kibiina okuba abanyiikivu mu buweereza, laba nti naawe weenyigira mu mulimu ogwo. Bw’ossa mu nkola by’oyigiriza, oba osobola okukubiriza abalala okukola kye kimu.​—Bar. 2:21-23.

Ng’olina ekiruubirirwa eky’okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu, weebuuze: ‘Njigiriza mu ngeri ereetera abampuliriza okukola enkyukakyuka mu ndowooza yaabwe, mu njogera yaabwe ne mu bikolwa byabwe? Okusobola okubayamba okutegeera obulungi bye njogera, ndaga enjawulo eriwo wakati w’ekirowoozo ekimu n’ekirala oba ekikolwa ekimu n’ekirala? Nkola ki okusobola okuyamba abayizi bange, abaana bange, oba abampuliriza mu nkuŋŋaana okujjukira bye mbabuulira? Ndaga bulungi abampuliriza engeri gye bayinza okussa mu nkola ebyo bye bayiga? Mbateekerawo ekyokulabirako? Bakitegeera nti engeri gye batwalamu bye bayigiriziddwa erina ky’ekola ku nkolagana yaabwe ne Yakuwa?’ (Nge. 9:10) Yongera okussa essira ku bintu bino ng’ofuba okubeera omuyigiriza omulungi. “Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.”​—1 Tim. 4:16.

OKUSOBOLA OKUYIGIRIZA OBULUNGI

  • Weesige Yakuwa, so si busobozi bwo

  • Tegeera amaanyi g’Ekigambo kya Katonda, era kikozese bulungi

  • Luubirira okugulumiza Yakuwa, so si okwegulumiza

  • Geraageranya ebintu osobole okuyamba abantu okutegeera obulungi by’oyogera

  • Yamba abakuwuliriza okulowooza

  • Yamba abalala okwekenneenya ebiruubirirwa byabwe n’enneewulira zaabwe

  • Kubiriza abakuwuliriza okulaba engeri ebiri mu Baibuli gye bikwata ku bulamu bwabwe

  • Ssaawo ekyokulabirako ekirungi kye bayinza okukoppa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share