LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 6/1 lup. 26-31
  • ‘Weerokole Wekka n’Abo Abakuwuliriza’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Weerokole Wekka n’Abo Abakuwuliriza’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Ssaayo Omwoyo ku Bikukwatako Ggwe”
  • ‘Ssaayo Omwoyo ku Kuyigiriza Kwo’
  • Yamba Omuyizi Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa
  • Okufuba Okuwonyawo Abaana Bo
  • Ssaayo Omwoyo ku ‘Kuyigiriza’ Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yamba Abalala Okugondera Ekyo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu Ekisooka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 6/1 lup. 26-31

‘Weerokole Wekka n’Abo Abakuwuliriza’

“Ssaayo omwoyo buli kiseera ku bikukwatako ggwe n’okuyigiriza kwo. . . . Bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwuliriza.”​—1 TIMOSEEWO 4:16, NW.

1, 2. Kiki ekikubiriza Abakristaayo ab’amazima okweyongera okukola omulimu oguwonya obulamu?

MU KYALO ekyesudde mu bukiika kkono bwa Thailand, omugogo gw’abafumbo Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa olulimi oluppya lwe baakayiga okwogera n’abantu ab’ekika ekimu ababeera mu nsozi. Abafumbo abo bayiga olulimu Olulahu okusobola okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda abantu b’omu kitundu ekyo.

2 “Kizibu okunnyonnyola essanyu n’okumatira bye tufuna nga tukola mu bantu bano abasanyusa,” bw’atyo omwami bw’annyonnyola. “Mazima ddala, tuwulira nga twenyigidde mu kutuukirizibwa kwa Okubikkulirwa 14:6, 7, nga tulangirira amawulire ag’essanyu eri “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.” Waliyo ebifo bitono amawulire amalungi gye gatannatuuka, era kino kye kimu ku byo. Tulina ab’okuyigiriza Baibuli bangi nnyo okusinga be tuyinza.” Kya lwatu omugogo gw’abafumbo bano basuubira okulokola obulamu bwabwe n’obw’abo ababawuliriza. Ng’Abakristaayo, ffenna tetwagala kukola kye kimu?

“Ssaayo Omwoyo ku Bikukwatako Ggwe”

3. Okusobola okuwonyawo abalala, kiki kye tuteekwa okusooka okukola?

3 Omutume Pawulo yabuulirira Timoseewo nti, “Ssaayo omwoyo ku bikukwatako ggwe n’okuyigiriza kwo,” era kino kikwata ku Bakristaayo bonna. (1 Timoseewo 4:16, NW) Mazima ddala, okusobola okuyamba abalala okufuna obulokozi, tuteekwa okusooka okussaayo omwoyo ku bitukwatako ffe. Kino tuyinza tutya okukikola? Tuteekwa okubeera obulindaala ku bikwata ku biseera bye tulimu. Yesu yawa abagoberezi be akabonero basobole okumanya ddi ‘amafundikira g’embeera y’ebintu’ lwe ganditandise. Kyokka, Yesu yagamba nti tetwanditegedde kiseera kyennyini enkomerero bwe yandibaddewo. (Matayo 24:3, 36, NW) Ekyo twandikitutte tutya?

4. (a) Twandibadde na ndowooza ki ku biseera embeera eno by’esigazzaayo? (b) Twandyewaze ndowooza ki?

4 Buli omu ku ffe ayinza okubuuza, ‘Nkozesa ekiseera embeera zino kye zisigazzaayo okwerokola awamu n’abo abampuliriza? Oba ndowooza nti “Okuva bwe tutamanyi kiseera kyennyini enkomerero lw’erijja, sijja kugiteekako mwoyo”?’ Endowooza eyo ey’okubiri ya kabi. Ekontanira ddala n’okubuulirira kwa Yesu: “Mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.” (Matayo 24:44) Mazima ddala, kino si kye kiseera okuddirira mu buweereza bwaffe eri Yakuwa oba okutunuulira ensi okufuna obukuumi n’okumatira.​—Lukka 21:34-36.

5. Byakulabirako ki abajulirwa ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo bye baateekawo?

5 Engeri endala mwe tuyinza okulagira nti tussaayo omwoyo ku bitukwatako kwe kugumiikiriza n’obwesigwa ng’Abakristaayo. Abaweereza ba Katonda mu biseera ebyayita beeyongera okugumiikiriza, ka babe nga baasuubira okununulibwa amangu oba nedda. Oluvannyuma lw’okuwa ebyokulabirako by’abajulirwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo gamba nga Abeeri, Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, ne Saala, Pawulo yagamba: “Tebaalaba kutuukirizibwa kw’ebyasuubizibwa, naye baabirengerera wala, ne babisanyukira era ne balangirira mu lwatu nti baali bagenyi era abayise mu nsi.” Tebaatwalirizibwa bulamu obw’okwejjalabya, wadde empisa ez’obugwenyufu ezaali zibeetoolodde, naye beesunganga “okutuukirizibwa kw’ebyasuubizibwa.”​—Abaebbulaniya 11:13, NW; 12:1.

6. Endowooza Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baalina ku bulokozi yakola ki ku ngeri gye beeyisaamu?

6 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo beeraba ‘ng’abagenyi’ mu nsi eno. (1 Peetero 2:11) Wadde oluvannyuma lw’okuwonyezebwawo mu kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 70 C.E., Abakristaayo ab’amazima tebaalekera awo kubuulira oba ne baddamu okugoberera obulamu obwa bulijjo. Baali bamanyi nti obulokozi obw’amaanyi bwali bulindiridde bonna abandisigadde nga beesigwa. Mu butuufu, 98 C.E., we gwatuukira, omutume Yokaana yawandiika: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”​—1 Yokaana 2:17, 28.

7. Abajulirwa ba Yakuwa balaze batya obugumiikiriza mu biseera byaffe?

7 Mu biseera bino, Abajulirwa ba Yakuwa nabo banyweredde mu mulimu gw’Ekikristaayo, wadde nga bayigganyiziddwa nnyo. Obugumiikiriza bwabwe bubadde bwa bwereere? Nedda, kubanga Yesu yatukakasa: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa,” k’ebe nga ye nkomerero y’embeera zino enkadde oba enkomerero y’obulamu bw’omuntu kinnoomu. Mu kuzuukira, Yakuwa ajja kujjukira era asasule abaweereza be bonna abeesigwa abaafa.​—Matayo 24:13; Abaebbulaniya 6:10.

8. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obugumiikiriza bw’Abakristaayo mu biseera ebyayita?

8 Ate era, tuli basanyufu nti Abakristaayo abeesigwa mu biseera ebyayita tebaafaayo ku bulokozi bwabwe bwokka. Mazima ddala, ffe abayize ku Bwakabaka bwa Katonda okuyitira mu kufuba kwabwe tuli basanyufu nti baagumiikiriza mu kutuukiriza omulimu Yesu gwe yabawa: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Kasita tuba nga tukyalina omukisa, tuyinza okwoleka okusiima kwaffe nga tubuulira abalala abatannawulira ku mawulire malungi. Kyokka, okubuulira lye ddala erisooka mu kufuula abayigirizwa.

‘Ssaayo Omwoyo ku Kuyigiriza Kwo’

9. Endowooza ennuŋŋamu eyinza etya okutuyamba okufuna be tuyigiriza Baibuli?

9 Omulimu gwaffe gutwaliramu si kubuulira kwokka naye era n’okuyigiriza. Yesu yatulagira okuyigiriza abantu okukwata byonna bye yabalagira. Kyo kituufu nti mu bifo ebimu, abantu batono abalabika nga baagala okuyiga ku Yakuwa. Naye okubeera n’endowooza etali nnuŋŋamu ku kitundu kye tubuuliramu kiyinza okutulemesa okufuna be tuyigiriza Baibuli. Payoniya ayitibwa Yvette, eyali mu kitundu abamu kye baagambanga nti tekivaamu bibala, yeetegereza nti abagenyi abajjanga mu kitundu ekyo nga tebalina ndowooza ng’eyo, baafunanga be bayigiriza Baibuli. Bwe yakulaakulanya endowooza ennuŋŋamu, Yvette naye yazuula abantu abaali baagala okuyiga Baibuli.

10. Ffe ng’abayigiriza ba Baibuli tulina mulimu ki?

10 Abakristaayo abamu bayinza okulonzalonza okutandika okuyigiriza Baibuli abantu abasiimye obubaka kubanga balowooza nti tebasobola kuyigiriza. Kyo kituufu nti tulina obusobozi bwa njawulo. Naye tekitwetaagisa kubeera bakugu nnyo okusobola okuyigiriza Ekigambo kya Katonda. Obubaka bwa Baibuli bwa maanyi, era Yesu yagamba nti abalinga endiga bamanya eddoboozi ly’Omusumba ow’amazima bwe baliwulira. N’olwekyo, omulimu gwaffe kwe kubuulira obubaka bw’Omusumba Omulungi, Yesu, obulungi ennyo nga bwe tusobola.​—Yokaana 10:4, 14.

11. Oyinza otya okuyamba omuyizi wa Baibuli mu ngeri esingawo?

11 Oyinza otya okubuulira obubaka bwa Yesu mu ngeri esingawo okumatiza? Okusooka manya bulungi Baibuli ky’eyogera ku mutwe gw’ogenda okwogerako. Ggwe kennyini olina okuba ng’otegeera bulungi ky’ogenda okwogerako nga tonnakiyigiriza balala. Era gezaako okussaawo embeera ey’ekitiibwa era ey’omukwano mu kuyiga. Abayizi, nga mw’otwalidde n’abato ennyo, bayiga bulungi ng’emitima tegibeewanise era ng’omuyigiriza abawa ekitiibwa awamu n’okubalaga ekisa.​—Engero 16:21.

12. Oyinza otya okukakasa nti omuyizi ategeera ky’omuyigiriza?

12 Ng’omuyigiriza, oba toyagala muyizi wo akwate bukwasi bukusu by’omuyigiriza. Muyambe okutegeera ky’ayiga. Obuyigirize bw’omuyizi, by’ayiseemu mu bulamu, ne by’amanyi ku Baibuli bijja kubaako kye bikola ku ngeri gy’ategeeramu by’ogamba. N’olwekyo oyinza okwebuuza, ‘Ategeera amakulu g’ebyawandiikibwa ebiweereddwa?’ Oyinza okumubuuza ebibuuzo ebitamwetaaza kuddamu buzzi nti yee oba nedda wabula ebimwetaagisa okunnyonnyola. (Lukka 9:18-20) Ku luuyi olulala, abayizi abamu balonzalonza okubuuza omusomesa waabwe ebibuuzo. Bwe kityo, bayinza obutategeera mu bujjuvu bye bayigirizibwa. Kubiriza omuyizi okubuuza ebibuuzo n’okukutegeeza nga tategedde mu bujjuvu ensonga emu.​—Makko 4:10; 9:32, 33.

13. Oyinza otya okuyamba omuyizi okufuuka omuyigiriza?

13 Ekigendererwa ekikulu eky’okuyigiriza omuntu Baibuli kwe kumuyamba okufuuka omuyigiriza. (Abaggalatiya 6:6) Okusobola okutuukiriza ekyo, bw’oba wejjukanya naye bye muyize, oyinza okumusaba okunnyonnyola ensonga emu mu ngeri ennyangu, nga bwe yandinnyonnyodde omuntu omulundi ogusooka. Oluvannyuma, bw’aba atuukirizza ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza, oyinza okumusaba okukwegattako mu nnimiro. Ajja kubeera mugumu ng’akola naawe, era kijja kumuyamba okweyongera okwekakasa okutuusa lw’anaasobola okugenda mu buweereza ku lulwe.

Yamba Omuyizi Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

14. Ekiruubirirwa kyo ekikulu ng’omuyigiriza kye kiruwa, era kiki ekijja okukusobozesa okukituukako?

14 Ekiruubirirwa ekikulu ekya buli muyigiriza Omukristaayo kwe kuyamba omuyizi okufuna omukwano ne Yakuwa. Kino tojja kukituukiriza ng’oyitira mu bigambo byokka naye era ne mu kyokulabirako kyo. Okuyigiriza ng’oyitira mu kyokulabirako kirina kinene nnyo kye kikola ku mitima gy’abayizi. Ebikolwa bya mugaso nnyo okusinga ebigambo obugambo, naddala bwe kituuka ku kuyigiriza empisa ennungi n’okukubiriza omuyizi okubeera omunyiikivu. Singa alaba nti ebigambo byo n’ebikolwa bisibuka ku nkolagana ennungi ne Yakuwa, ayinza okukubirizibwa okukulaakulanya enkolagana ng’eyo ye kennyini.

15. (a) Lwaki kikulu nti omuyizi akulaakulanya ekiruubirirwa ekirungi eky’okuweereza Yakuwa? (b) Oyinza otya okuyamba omuyizi okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo?

15 Oyagala omuyizi wo okuweereza Yakuwa si lwa kuba tayagala kuzikirizibwa ku Kalumagedoni, naye olw’okuba amwagala. Ng’omuyamba okukulaakulanya ekiruubirirwa ng’ekyo ekirungi, ojja kuba ozimbisa ebintu ebitakwata muliro ebijja okugumira ebigezo by’okukkiriza. (1 Abakkolinso 3:10-15) Ekiruubirirwa ekibi, gamba ng’okwagala okukukoppa oba omuntu omulala yenna tekijja kumuwa maanyi kuziyiza ngeri zitali za Kikristaayo wadde obuvumu okukola ekituufu. Jjukira nti tojja kubeera muyigiriza we mirembe gyonna. Ng’okyalina omukisa, oyinza okumukubiriza okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okukifumiitirizaako. Mu ngeri eno ajja kweyongera okufuna ‘ebigambo by’obulamu’ okuva mu Baibuli n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli wadde nga wayiseewo ekiseera kiwanvu kasookedde omala okuyiga naye.​—2 Timoseewo 1:13.

16. Oyinza otya okuyigiriza omuyizi okusaba okuva mu mutima?

16 Era oyinza okuyamba omuyizi okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’omuyigiriza okusaba okuva mu mutima. Kino oyinza kukikola otya? Oboolyawo oyinza okumutegeeza ku ssaala ey’okulabirako Yesu gye yawa, awamu n’essaala endala zonna eziri mu Baibuli, ng’ezo eziri mu zabbuli. (Zabbuli 17, 86, 143; Matayo 6:9, 10) Ate era, omuyizi wo bw’akuwulira ng’osaba nga mutandika era nga mumaze okuyiga, ajja kutegeera enneewulira gy’olina eri Yakuwa. Bwe kityo, okusaba kwo bulijjo kusaanidde okwoleka obwesimbu n’obutagwa lubege mu by’omwoyo n’enneewulira.

Okufuba Okuwonyawo Abaana Bo

17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okusigala ku kkubo ly’obulokozi?

17 Kya lwatu nti mu abo be twagala okuwonyawo, mulimu ab’omu maka gaffe. Abaana bangi ab’abazadde Abakristaayo beesimbu era ‘banywevu mu kukkiriza.’ Kyokka abalala amazima gayinza okuba tegasimbanga makanda mu mitima gyabwe. (1 Peetero 5:9; Abaefeso 3:17; Abakkolosaayi 2:7) Bangi ku bavubuka bano baleka ekkubo ly’Ekikristaayo bwe bakula. Bw’oba oli muzadde, kiki ky’oyinza okukola okuziyiza ekyo okubaawo? Okusooka, oyinza okufuba okuteekawo embeera ezimba mu maka. Obulamu obulungi mu maka buteekawo omusingi omulungi ogusobozesa okuba n’endowooza ennungi ku buyinza, okusiima emitindo egisaanira, n’enkolagana ennungi n’abalala. (Abaebbulaniya 12:9) Bwe kityo, enkolagana ennungi mu maka eyinza okusobozesa omwana omuto okufuna omukwano ne Yakuwa. (Zabbuli 22:10) Amaka amanywevu gakolera wamu kitole​—wadde nga kyetaagisa abazadde okwefiiriza ebiseera bye bandikozesezza okunoonya ebyabwe ku bwabwe. Mu ngeri eno, okuyitira mu kyokulabirako kyo oyinza okuyigiriza abaana okukola okusalawo okutuufu mu bulamu. Abazadde, abaana bammwe kye basinga okwetaaga okuva gye muli, si bya bugagga wabula mmwe bennyini​—ebiseera byammwe, amaanyi gammwe n’okwagala. Abaana bammwe mubawa ebintu bino?

18. Bibuuzo bya ngeri ki abazadde bye bateekwa okuyamba abaana baabwe okufuna eby’okuddamu?

18 Abazadde Abakristaayo tebasaanidde kukitwala nti abaana baabwe nabo bajja kufuuka Bakristaayo. Danyeri, omukadde era taata w’abaana bataano agamba: “Abazadde bateekwa okuwaayo ebiseera okuyamba abaana baabwe okuvvuunuka okubuusabuusa kwe bafuna ku ssomero oba mu bifo ebirala. Bateekwa okuyamba abaana baabwe okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: ‘Ddala tuli mu kiseera eky’enkomerero? Ddala waliwo eddiini emu yokka entuufu? Lwaki si kirungi kukola mukwano ne muyizi munno alabika ng’omuntu omulungi? Kiba kikyamu okwetaba n’omuntu nga temunnayingira bufumbo?’” Abazadde, mwesigenga Yakuwa okuwa okufuba kwammwe emikisa, kubanga naye afaayo ku mbeera y’abaana bammwe.

19. Lwaki kisingako obulungi abazadde bennyini okuyiga n’abaana baabwe?

19 Abazadde abamu bayinza okuwulira nga tebeekakasa bwe kituuka ku kuyigiriza abaana baabwe. Kyokka, tosaanidde kuwulira bw’otyo, kubanga tewali n’omu ali mu kifo ekirungi eky’okuyigiriza abaana bo okusinga ggwe. (Abaefeso 6:4) Okuyiga n’abaana bo kijja kukusobozesa okumanya ekiri mu mitima n’ebirowoozo byabwe. Bye boogera biva mu mutima oba nedda? Ddala bakkiriza bye bayiga? Yakuwa wa ddala gye bali? Oyinza okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino n’ebibuuzo ebirala ebikulu singa gwe kennyini oyiga n’abaana bo.​—2 Timoseewo 1:5.

20. Abazadde bayinza batya okufuula okuyiga kw’amaka okunyuvu era okw’omuganyulo?

20 Oyinza otya okunywerera ku nteekateeka yo ey’okuyiga n’ab’omu maka go ng’ogitandise? Yusufu, omukadde era taata w’omwana omulenzi n’omuwala, agamba: “Okufaananako okuyiga kwa Baibuli kwonna, okuyiga kw’amaka kusaanidde okuba okunyuvu, ekintu buli omu kye yeesunga. Okusobola okutuukiriza ekyo mu maka gaffe, tetubeera bakakanyavu ku bikwata ku biseera. Okuyiga kwaffe kuyinza okumala essaawa emu, naye ne bwe kiba nti emirundi egimu tulina eddakiika kkumi zokka, era tuyiga. Ekintu ekireetera abaana okwesunga ennyo okuyiga kwaffe okwa buli wiiki kwe kuzannya ebitundu ebimu okuva mu My Book of Bible Stories.a Mu ngeri eyo bakwatibwako nnyo era bategeera bingi nnyo okusinga lwe tusoma obutundu.”

21. Abazadde bandiyigirizza ddi abaana baabwe?

21 Kya lwatu, okuyigiriza abaana bo tekikoma ku biseera ebyo ebitegeke. (Ekyamateeka 6:5-7) Omujulirwa mu Thailand eyayogeddwako ku ntandikwa agamba: “Nzijukira bulungi nnyo bwe nnagendanga ne Taata okubuulira, nga tuli ku bugaali, ne twolekera ebifo ebyesudde ekibiina kyaffe gye kyabuuliranga. Awatali kubuusabuusa, kyali kyakulabirako ekirungi eky’abazadde baffe era n’okuyigiriza kwabwe okulungi mu mbeera zonna ebyatuyamba okusalawo okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Era bye baatuyigiriza twabikwatira ddala. Nkyakola mu bifo ebyesudde ennyo eby’omu nnimiro!”

22. Kiki ekijja okuva mu ‘kussaayo omwoyo ku bikukwatako ggwe n’okuyigiriza kwo’?

22 Ku lunaku olutali lw’ewala, mu kiseera ekituufu, Yesu ajja kujja okutuukiriza omusango Katonda gw’asalidde embeera zino. Ekikolwa ekyo ekikulu kijja kuyita kifuuke byafaayo, naye abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bajja kweyongera okumuweereza nga balina obulokozi obw’olubeerera mu birowoozo byabwe. Osuubira okubeera omu ku bo, awamu n’abaana bo ne b’oyigiriza Baibuli? Kale nno jjukira: “Ssaayo omwoyo buli kiseera ku bikukwatako ggwe n’okuyigiriza kwo. Nywerera ku bintu bino, kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwuliriza.”​—1 Timoseewo 4:16, NW.

[Obugambo obuli wansi]

a Kyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

Osobola Okunnyonnyola?

• Twandibadde na ndowooza ki okuva bwe tutamanyi kiseera kyennyini eky’okutuukiririzaako omusango Katonda gw’asaze?

• Mu ngeri ki mwe tuyinza ‘okussaayo omwoyo ku kuyigiriza kwaffe’?

• Oyinza otya okuyamba omuyizi okufuuka mukwano gwa Yakuwa?

• Lwaki kikulu nti abazadde bawaayo ebiseera okuyigiriza abaana baabwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Embeera ey’ekitiibwa naye nga ya mukwano esobozesa okuyiga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okuzannya engero z’omu Baibuli, gamba ng’olwo nga Sulemaani alamula abenzi ababiri, kifuula okuyiga kw’amaka okunyuvu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share