Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Agusito
“Abantu balina amadiini ag’enjawulo era basinza Katonda mu ngeri nnyingi ez’enjawulo. Ggwe olowooza ekyo Katonda akitwala atya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Yesu kye yayigiriza ku nsonga eno.” Oluvannyuma muwe Watchtower eya Agusito 1, musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era fuba okulaba nti waakiri musomayo Ekyawandiikibwa kimu. Mulekere magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.
The Watchtower Agusito 1
“Abaana basaanidde okuyigirizibwa ebikwata ku Katonda nga bakyali bato, oba kiba kirungi okubaleka bakule era beesalirewo eddiini gye baagala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Bayibuli ky’ekubiriza bataata okukola. [Soma Abeefeso 6:4.] Magazini eno erimu amagezi agasobola okuyamba abazadde okumanya engeri gye bayinza okuyigirizaamu abaana baabwe ebikwata ku Katonda.”
Awake! Agusito
“Nandyagadde okumanya endowooza yo ku lunyiriri luno. [Soma 1 Samwiri 16:23.] Okusinziira ku lunyiriri luno ennyimba zirina amaanyi. Olowooza ennyimba ezimu zisobola okwonoona endowooza zaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okulondamu ennyimba ezisaana n’engeri gye tuyinza okuyambamu abaana baffe okukola kye kimu.”