Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32. A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, The Divine Name That Will Endure Forever, ne Was Life Created? Ssebutemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Okitobba: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima mubawe tulakiti, Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli.