Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 1
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 1
Oluyimba 31 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 6 ¶8-14 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 87-91 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 89:26-52 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Abaweereza ba Yakuwa Abeesigwa Basanyufu (Ddak. 5)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kumalawo Entalo n’Okunyigirizibwa—rs-E lup. 228 ¶3–lup. 229 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula luno laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Agusito. Kubiriza bonna okwenyigira mu nteekateeka eno.
Ddak. 15: Kozesa Ebyokulabirako Ebiyigiriza. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 240-243. Saba abawuliriza boogere mu bufunze ku byokulabirako bye bakozesezza okuyamba nnyinimu oba omuyizi wa Bayibuli okutegeera obulungi ensonga.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Oluyimba 129 n’Okusaba