LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 45 lup. 240-lup. 243 kat. 1
  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • “Awatali Lugero Teyabagamba Kigambo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Koppa Omuyigiriza Omukulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Engero Ezikwata ku Bwakabaka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 45 lup. 240-lup. 243 kat. 1

ESSOMO 45

Ebyokulabirako Ebiyigiriza

Kiki ky’osaanidde okukola?

Kozesa olulimi olw’akabonero, engero, oba yogera ku bintu ebibaawo mu bulamu, mu ngeri eneekuyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyo ng’oyigiriza.

Lwaki Kikulu?

Bw’okozesa obulungi ebintu ng’ebyo, emboozi yo eba nnyuvu, kikusobozesa okutuuka ku mitima gy’abantu, era kibayamba okujjukira by’oyigiriza. Bw’otabikozesa bulungi, kiyinza okuleetera abantu obutassaayo mwoyo ku by’oyigiriza.

EBYOKULABIRAKO biyamba nnyo mu kuyigiriza. Bisikiriza abawuliriza era bibaleetera okussaayo omwoyo ku biba byogerwa. Biyamba omuntu okufumiitiriza. Bituuka ku mutima gwe era ne bibaako kye bikola ku muntu we ow’omunda. Emirundi egimu, ebyokulabirako biyinza okuyamba abantu okuvvuunuka endowooza z’obusosoze. Era biyamba omuntu okujjukira. Obikozesa ng’oyigiriza?

Olulimi olw’akabonero kika kimu ekyokulabirako, ekyeyambisa ebigambo ebitono; kyokka nga bisobozesa omuntu okukuba ekifaananyi ku biba byogerwa. Bwe lukozesebwa obulungi, lusobozesa amakulu okweyoleka bulungi. Oyo ayigiriza ayinza okwongera okulunnyonnyola okusobola okuggyayo obulungi amakulu. Baibuli erimu olulimi olw’akabonero lw’oyinza okuyigirako.

Tandika na Kugeraageranya. Okugeraageranya kika kya lulimi olw’akabonero era si kizibu okulukozesa. Bw’oba otandika butandisi okukozesa ebyokulabirako, tandikira ku kugeraageranya. Ebigambo “okufaananako” oba “nga” bitera okukozesebwa ng’omuntu alina by’ageraageranya. Singa oba ogeraageranya ebintu eby’enjawulo, oyinza okunokalayo ekintu kye bifaanaganya. Baibuli erimu ebyokulabirako, ebikwata ku kugeraageranya ebintu n’ebitonde, gamba nga, ebimera, ensolo n’ebyo ebiri mu bwengula, awamu n’ebyo ebyatuuka ku bantu. Mu Zabbuli 1:3, tugambibwa nti omuntu asoma Ekigambo kya Katonda bulijjo ‘afaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi,’ ogubala ebibala era ogutawotoka. Omubi agambibwa nti alinga ‘empologoma’ eswamye ng’erinda okukwata ky’eneerya. (Zab. 10:9) Yakuwa yasuubiza Ibulayimu nti ezzadde lye lyali lya kuba “ng’emmunyeenye ez’omu ggulu” era “ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja.” (Lub. 22:17) Bwe yali ayogera ku nkolagana ennungi gye yassaawo wakati we n’eggwanga lya Isiraeri, Yakuwa yagamba: “Olukoba nga bwe lwegatta n’ekiwato ky’omuntu,” bw’atyo naye bwe yali aleetedde ennyumba ya Isiraeri n’eya Yuda okumwegattako.​—Yer. 13:11.

Ennimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa zaakozesa engeri endala ey’olulimi olw’akabonero okulaga okufaanagana okuliwo wakati w’ebintu bibiri eby’enjawulo. Mu ngeri eno, ekintu ekimu kyogerwako ng’ekirala. Yesu yagamba abayigirizwa be: ‘Muli kitangaala kya nsi.’ (Mat. 5:14) Ng’ayogera ku kabi akava mu butafuga lulimi, omuyigirizwa Yakobo yagamba: “Olulimi muliro.” (Yak. 3:6) Dawudi yayimbira Yakuwa: “Ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.” (Zab. 31:3) Engeri eno bw’ekozesebwa obulungi kiba tekyetaagisa kunnyonnyola kiwanvu. Omuntu aba asobola okufuna mangu amakulu olw’okuba okozesa ebigambo bitono. Okugeraageranya mu ngeri eno, kiyamba abakuwuliriza okujjukira obulungi ensonga enkulu, n’okusinga ng’obannyonnyodde bunnyonnyozi.

Okusavuwaza mu bugenderevu ng’eri ndala ey’olulimi olw’akabonero. Kyokka, engeri eno erina okukozesebwa n’amagezi kubanga bw’etakozesebwa n’amagezi eyinza okutegeerwa obubi. Yesu yakozesa engeri eno ng’ayagala abantu baleme okwerabira bye yayogera, bwe yabuuza: “Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?” (Mat. 7:3) Nga tonnatandika kukozesa ngeri eno oba endala efaananako bw’eti, sooka ofune obumanyirivu mu kugeraageranya ekintu ekimu n’ekirala.

Ebyokulabirako eby’Engeri Endala. Ng’oggyeko okukozesa olulimi olw’akabonero, oyinza okukozesa ebyokulabirako ebikwata ku bintu ebyaliwo ddala, oba ebitaliiwo wazira ebiyiiye obuyiiya. Kyokka, byetaaga okukozesebwa n’obwegendereza. Ebyokulabirako nga bino birina kukozesebwa kunnyonnyola bunnyonnyozi nsonga nkulu, ate era birina okuweebwa mu ngeri esobozesa abawuliriza okujjukira ensonga ezo enkulu, so si ekyokulabirako ky’obawadde.

Wadde ng’ebyokulabirako byonna tebirina kuba bintu ebyaliwo ddala, birina okwoleka embeera yennyini ebaawo mu bulamu. Bwe kityo, Yesu bwe yali ayigiriza engeri aboonoonyi ababa beenenyezza gye balina okutwalibwamu, yawa ekyokulabirako ky’omusajja eyajaganya ng’azudde endiga ye eyali ebuze. (Luk. 15:1-7) Bwe yali addamu omusajja eyali alemereddwa okutegeera amakulu g’etteeka ery’okwagala muliraanwa we, Yesu yagera olugero olukwata ku Musamaliya eyayamba omusajja eyagwa mu batemu ng’ate kabona n’Omuleevi baamuyitako buyisi. (Luk. 10:30-37) Bw’ofuba okwetegereza abantu bye bakola era n’okutegeera endowooza yaabwe, osobola okufuna ebyokulabirako eby’ekika kino eby’okukozesa ng’oyigiriza.

Nnabbi Nasani yagerera Kabaka Dawudi olugero olukwata ku kintu ekitaaliwo ddala bwe yali amunenya. Olugero olwo lwali lulungi nnyo, kubanga lwasobozesa Dawudi okuwuliriza obulungi ate n’atabaako nsonga yonna gye yeekwasa. Lwali lukwata ku musajja omugagga eyalina endiga ennyingi n’omusajja omwavu eyalina akaliga akamu kokka ke yali ayagala ennyo. Dawudi kennyini yaliko omusumba, n’olwekyo yali ategeera bulungi enneewulira y’omusajja oyo eyalina akaliga akamu. Dawudi yanyiigira nnyo omusajja omugagga eyatwala akaliga k’omusajja omwavu. Oluvannyuma Nasani n’agamba Dawudi butereevu nti: ‘Ggwe musajja oyo!’ Dawudi yakwatibwako nnyo era ne yeenenya mu bwesimbu. (2 Sam. 12:1-14) Naawe oyinza okukozesa ebyokulabirako ng’ebyo mu mbeera ezifaananako.

Ebyokulabirako bingi ebirungi bisobola okuggibwa mu bintu ebyogerwako mu Byawandiikibwa. Yesu yakozesa ekimu ku ebyo ekiri mu Byawandiikibwa bwe yagamba: “Mujjukire mukazi wa Lutti.” (Luk. 17:32) Ng’awa akabonero akaliraga okubeerawo kwe, Yesu yayogera ku ‘nnaku za Nuuwa.’ (Mat. 24:37-39) Mu Abebbulaniya essuula 11, omutume Pawulo yayogera amannya g’abasajja n’abakazi 16 abassaawo eky’okulabirako ekirungi eky’okukkiriza. Bw’oneeyongera okumanya ebiri mu Baibuli, ojja kufuna ebyokulabirako ebirungi ebikwata ku bantu n’ebintu ebyaliwo.​—Bar. 15:4; 1 Kol. 10:11.

Emirundi egimu, oyinza n’okukozesa ebyokulabirako eby’ebintu ebibaddewo mu kiseera kyaffe okuggumiza ensonga. Kozesa ebyo byokka by’okakasizza nti bituufu, era weewale ebyo ebiyinza okwesittaza abakuwuliriza oba ebiyinza okussa essira ku nsonga etakwatagana na ky’oyogerako. Ate era kijjukire nti, ekyokulabirako ky’okozesa, kirina okutuukiriza ekigendererwa ekikikureesezza. Mu byokulabirako toteekamu bintu biteetaagisa ebiyinza okuwugula ebirowoozo by’abakuwuliriza okuva ku nsonga enkulu gy’onnyonnyola.

Kinaategeerekeka? Ekyokulabirako kyonna ky’okozesa, kirina okutuukiriza ekigendererwa ekikikureesezza. Kinaatuukiriza ekigendererwa ekyo singa tekikwatagana n’ekyo ky’oyogerako?

Oluvannyuma lw’okugamba nti abayigirizwa be baali ‘kitangaala kya nsi,’ Yesu yayogera ku ngeri ettabaza gy’ekozesebwamu era bw’atyo n’abalaga obuvunaanyizibwa bwe baalina. (Mat. 5:15, 16) Oluvannyuma lw’okwogera ku ndiga eyabula, yayogera ku ssanyu eribaawo mu ggulu ng’omwonoonyi yeenenyezza. (Luk. 15:7) Ate era oluvannyuma lw’okugera olugero olukwata ku Musamaliya omulungi, Yesu yabuuza amuwuliriza ekibuuzo, oluvannyuma n’abaako by’amubuulirira. (Luk. 10:36, 37) Kyokka, lwo olugero olukwata ku bika by’ettaka eby’enjawulo, n’olwo olukwata ku ŋŋaano ey’omu nsiko Yesu teyazinnyonnyola bantu bonna wabula yazinnyonnyola abo bokka abaali abawombeefu abaamubuuza kye zitegeeza. (Mat. 13:1-30, 36-43) Ng’ebulayo ennaku ssatu attibwe, Yesu yawa ekyokulabirako ekikwata ku bakozi b’omu nnimiro y’emizabbibu abaali abatemu. Teyannyonnyola makulu gaalwo kuba kyali tekyetaagisa. ‘Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baategeera nti yali ayogera ku bo.’ (Mat. 21:33-45) N’olwekyo, ekinaakuyamba okumanya obanga weetaaga okunnyonnyola ekyokulabirako kyo, kye kika kyakyo, endowooza y’abakuwuliriza, n’ekigendererwa kyo.

Kyetaagisa ekiseera n’okufuba okusobola okuyiga okukozesa obulungi ebyokulabirako. Ebyokulabirako ebikozeseddwa obulungi bisobola okutuuka ku mutima gw’omuntu. Era obubaka butegeerekeka bulungi era mangu nnyo okusinga lwe wandibannyonnyodde obunnyonnyozi ensonga.

ENGERI GY’OYINZA OKUFUNAMU EBYOKULABIRAKO EBISAANIRA

  • Soma Baibuli obutayosa; weetegereze ebyokulabirako ebirimu; fumiitiriza ku mugaso gwabyo.

  • Abantu bye bakola n’endowooza yaabwe bikwataganye ne by’oyogerako.

  • Baako w’owandiika ebirungi by’ofunye. Oyinza okubiggya mu ebyo by’osoma, emboozi z’owuliriza, n’ebyo by’olaba. Bitereke osobole okubikozesa mu biseera eby’omu maaso.

EKY’OKUKOLA: Weekenneenye ebyokulabirako ebiri mu byawandiikibwa bino: Isaaya 44:9-20; Matayo 13:44; Matayo 18:21-35. Buli kimu kiyigiriza ki? Lwaki birungi?

Ebyokulabirako bye njagala okukozesa nga njigiriza

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․.

Ebyaliwo ddala mu bulamu bye njagala okujjukira awamu n’okukozesa

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share