Koppa Omuyigiriza Omukulu
“Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . , nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”—MATAYO 28:19, 20.
1, 2. (a) Mu ngeri ki ffenna gye tuli abayigiriza? (b) Ku bikwata ku kuyigiriza, nkizo ki ey’enjawulo Abakristaayo ab’amazima gye balina?
OLI muyigiriza? Mu ngeri emu oba endala, ffenna tuli bayigiriza. Buli lw’olagirira omutambuze abadde abuze ekkubo, bw’olaga mukozi munno engeri y’okukolamu omulimu, oba bw’olagirira omwana engeri y’okusibamu obuguwa bw’engato ze, oba oyigiriza. Okuyamba abantu abalala mu ngeri ng’ezo, kireeta essanyu ppitirivu, si bwe kiri?
2 Ku bikwata ku kuyigiriza, Abakristaayo ab’amazima balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo nnyo. Twalagirwa ‘okufuula abantu abayigirizwa nga tubayigiriza.’ (Matayo 28:19, 20) Ne mu kibiina, tufuna omukisa okuyigiriza. Abasajja abatuukiriza ebisaanyizo balondebwa okuweereza nga ‘abasumba era abayigiriza,’ basobole okuzimba ekibiina. (Abaefeso 4:11-13) Mu mirimu gy’Ekikristaayo gye bakola buli lunaku, abakazi abakulu mu by’omwoyo bagwanidde ‘okuyigiriza abakazi abato ebintu ebirungi.’ (Tito 2:3-5) Ffenna tukubirizibwa okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, era tusobola okugoberera okubuulirira okwo nga tukozesa Baibuli okuzimba abalala. (1 Abassesaloniika 5:11) Nga nkizo ya maanyi nnyo okuyigiriza abantu Ekigambo kya Katonda era n’okubategeeza ebintu eby’omwoyo ebiyinza okubaganyula emirembe gyonna!
3. Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu?
3 Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu? Okusingira ddala, nga tukoppa Omuyigiriza Omukulu, Yesu. Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Yali atuukiridde.’ Kyo kituufu nti, tetusobola kubeera bayigiriza abatuukiridde. Wadde kiri bwe kityo, ka tube nga tulina obusobozi bwa ngeri ki, tuyinza okukola kyonna ekisoboka, okukoppa engeri Yesu gye yayigirizaamu. Ka tulabe bwe tuyinza okukozesaamu engeri nnya ku ezo ze yakozesa okuyigiriza—okuyigiriza mu ngeri ennyangu, okukozesa obulungi ebibuuzo, okunnyonnyola mu ngeri ematiza n’okukozesa ebyokulabirako ebituukirawo.
Yigiriza mu Ngeri Ennyangu
4, 5. (a) Lwaki okuyigiriza mu ngeri ennyangu kintu kikulu nnyo mu kuyigiriza amazima agali mu Baibuli? (b) Okusobola okuyigiriza mu ngeri ennyangu, lwaki kikulu okwegendereza ebigambo bye tukozesa?
4 Amazima agasookerwako ag’Ekigambo kya Katonda, si mazibu. Mu kusaba, Yesu yagamba: “Nkwebaza, Kitange, . . . kubanga wakisa ebigambo bino ab’amagezi n’abakabakaba n’obibikkulira abaana abato.” (Matayo 11:25) Yakuwa abikkulidde abeesigwa era abalina emitima emiwombeefu ebigendererwa bye. (1 Abakkolinso 1:26-28) N’olwekyo, okuyigiriza mu ngeri ennyangu, nsonga nkulu mu kuyigiriza amazima agali mu Baibuli.
5 Bw’oba ng’oyigiriza omuntu Baibuli oba nga ozzeeyo eri abantu abaagala okumanya ebisingawo, oyinza otya okuyigiriza mu ngeri ennyangu? Kiki kye twayiga ku Muyigiriza Omukulu? Okusobola okukakasa nti by’ayogera bitegeerekeka eri abo abaali bamuwuliriza ate nga abasinga obungi ku bo baali bantu ba ‘bulijjo era abataali bayigirize,’ Yesu yakozesa ebigambo bye baali basobola okutegeera. (Ebikolwa 4:13) N’olwekyo, ekintu ekisooka mu kuyigiriza mu ngeri ennyangu, kwe kwegendereza ebigambo bye tukozesa. Tetwetaaga kukozesa bigambo biwuniikiriza okusobola okuyigiriza abalala amazima agali mu Kigambo kya Katonda. ‘Ebigambo ebizibu okutegeera’ bwe bityo, bisobola okutiisa, naddala abo abalina obuyigirize obutonotono. (1 Abakkolinso 2:1, 2) Ekyokulabirako kya Yesu kiraga nti ebigambo ebyangu okutegeera era nga birondeddwa bulungi, bisobola okutuusa amazima ku bantu mu ngeri ennungi.
6. Tuyinza tutya okwewala okuyigiriza omuyizi wa Baibuli ebintu ebingi omulundi ogumu?
6 Era okusobola okuyigiriza mu ngeri ennyangu, tuteekwa okwewala okuyigiriza omuyizi wa Baibuli ebintu ebingi ennyo omulundi gumu. Yesu yali amanyi wa obusobozi bw’abayigirizwa be we bukoma. (Yokaana 16:12) Naffe, tuteekwa okumanya wa, obusobozi bw’abayizi baffe we bukoma. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tuyigiriza omuntu Baibuli nga tukozesa akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, tekitwetaagisa kunnyonnyola buli kimu.a Era tekyetaagisa kwanguyiriza ng’oyigiriza, nga gy’obeera okuyigiriza ebintu bingi omulundi gumu kye kisinga obukulu. Mu kifo ky’ekyo, kyandibadde kya magezi okuyigiriza ng’osinziira ku byetaago n’obusobozi bw’omuyizi wo. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyamba omuyizi okufuuka omuyigirizwa wa Kristo era omusinza wa Yakuwa. Twetaaga okuwaayo ebiseera ebimala okuyamba omuyizi ayagala amazima okutegeera obulungi by’ayiga. Mu ngeri eyo, amazima gayinza okutuuka ku mutima gwe, era ne gamuleetera okubaako ne ky’akolawo.—Abaruumi 12:2.
7. Birowoozo ki ebiyinza okutuyamba okuyigiriza mu ngeri ennyangu nga tuwa emboozi mu kibiina?
7 Bwe tuba tuwa emboozi mu Kizimbe ky’Obwakabaka, naddala singa mu abo abawuliriza mubaamu abappya, tusobola tutya okwogera ebigambo ‘ebitegeerekeka’? (1 Abakkolinso 14:9) Lowooza ku birowoozo bisatu ebiyinza okukuyamba. Ekisooka, nnyonnyola ebigambo ebizibu by’okozesa. Okutegeera Ekigambo kya Katonda kutusobozesezza okumanya ebigambo eby’enjawulo. Singa tukozesa ebigambo nga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” “endiga endala,” ne “Babulooni Ekinene,” kyandibadde kirungi singa tubinnyonnyola mu bigambo ebyangu okutegeera. Ekyokubiri, weewale okukozesa ebigambo ebingi. Ebigambo ebingi, biyinza okuleetera abawuliriza okwetamwa. By’oyogera okusobola okuba nga bitegeerekeka, kikwetaagisa okuggyamu ebigambo ebiteetaagisa. Ekyokusatu, togezaako kuyigiriza bintu bingi nnyo. Bwe tukola okunoonyereza, tuyinza okufuna ebintu bingi ebisanyusa. Naye kiba kirungi by’ogenda okwogera obisengekemu ensonga ntonotono ezisinga obukulu, ng’okozesa ebigambo ebyo byokka ebinaakuyamba okukulaakulanya ensonga zo mu budde obukuweereddwa.
Okukozesa Obulungi Ebibuuzo
8, 9. Tuyinza tutya okufuna ebibuuzo ebikwata ku bannyinimu? Waayo ebyokulabirako.
8 Kijjukire nti Yesu yali mukugu mu kukozesa ebibuuzo okusobola okuleetera abayigirizwa be okwogera ebyabali mu birowoozo, era n’okubatendeka mu ngeri gye baalina okulowoozaamu. Ng’akozesa ebibuuzo, Yesu yatuuka ku mitima gyabwe. (Matayo 16:13, 15; Yokaana 11:26) Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okukozesa ebibuuzo mu ngeri ennungi?
9 Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tusobola okukozesa ebibuuzo okwagazisa abantu bye twogera, ne kitutemera oluwenda olw’okwogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Tuyinza tutya okufuna ebibuuzo ebikwata ku mbeera za bannyinimu? Beera omuntu eyeetegereza. Bw’oba ng’onootera okutuuka mu maka g’omuntu, tunuulira ebintu ebiriwo. Mu luggya waliwo ebintu abaana bye bazannyisa, ebiraga nti mu maka omwo mulimu abaana? Bwe kiba bwe kityo, tusobola okubabuuza, ‘Wali weebuuzizzaako, ensi bw’eribeera ng’abaana bo bakuze?’ (Zabbuli 37:10, 11) Ku luggi kuliko ekkufulu nnyingi, oba waliwo ebyuma ebikozesebwa okukuuma amaka ago? Tuyinza okubabuuza: ‘Olowooza ekiseera kirituuka abantu abalinga gwe nange lwe tuliba nga tetulina kye tutya kyonna era nga tuli mu butebenkevu mu maka gaffe oba mu nguudo?’ (Mikka 4:3, 4) Waliwo ekiraga nti mu maka omwo mulimu omulema? Tuyinza okubuuza: ‘Walibaawo ekiseera ng’abantu bonna balina obulamu obulungi?’ (Isaaya 33:24) Ebirowoozo bingi biyinza okusangibwa mu katabo Reasoning From the Scriptures.b
10. Tusobola tutya okukozesa ebibuuzo ‘okumanya’ omuyizi wa Baibuli ky’alowooza era n’enneewulira ye, naye kiki kye tulina okujjukira?
10 Tuyinza tutya okukozesa ebibuuzo mu ngeri ennungi nga tuyigiriza Baibuli? Ffe tetuyinza kusoma mitima gy’abantu nga Yesu. Wadde nga kiri bwe kityo, singa tukozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi, biyinza okutuyamba ‘okumanya’ omuyizi wa Baibuli ky’alowooza era ne tutegeera enneewulira ye. (Engero 20:5, NW) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti tusoma essuula erina omutwe “Lwaki Okutambulira mu Bulamu obw’Okutya Katonda Kuleeta Essanyu” mu katabo Okumanya. Essuula eyo eyogera ku ngeri Katonda gy’atunuuliramu obutali bwesigwa, obukaba, awamu n’ensonga endala. Omuyizi ayinza okukuddamu bulungi ekibuuzo ekiri mu katundu ako, naye akkiriziganya n’ebyo by’ayiga? Tuyinza okumubuuza: ‘Engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ensonga ezo, naawe olaba nga ya magezi?’ ‘Oyinza otya okukozesa emisingi gya Baibuli gino mu bulamu bwo?’ Naye, teweerabira kuwa muyizi kitiibwa. Tetwandibuuzizza bibuuzo ebikwasa ensonyi oba ebifeebya omuyizi wa Baibuli.—Engero 12:18.
11. Mu ngeri ki abo abawa okwogera bonna gye bayinza okukozesaamu ebibuuzo obulungi?
11 Abo abawa okwogera bonna, nabo basobola okukozesa ebibuuzo mu ngeri ennungi. Ebibuuzo ebitasuubirwa kuddibwamu, biyinza okuyamba abawuliriza okulowooza. Emirundi mingi, Yesu yakozesanga ebibuuzo ng’ebyo. (Matayo 11:7-9) Okugatta ku ekyo, oluvannyuma lw’okubaako ne by’ayogera mu nnyanjula, omwogezi asobola okukozesa ebibuuzo okulaga ensonga enkulu z’agenda okwogerako. Ayinza okugamba: “Mu kwogera kwaffe okwa leero, tugenda kulaba engeri ebibuuzo bino gye biyinza okuddibwamu . . . ” Ate ku nkomerero, ayinza okujuliza ebibuuzo ebyo okusobola okwejjukanya ensonga enkulu.
12. Waayo ekyokulabirako okulaga engeri abakadde Abakristaayo gye bayinza okukozesaamu ebibuuzo okusobola okuyamba bakkiriza bannaabwe okufuna okubudaabudibwa mu Kigambo kya Katonda.
12 Mu mulimu gwabwe ogw’okulunda ekisibo, abakadde basobola okukozesa ebibuuzo okuyamba ‘abenyamivu’ okufuna okubudaabudibwa mu Kigambo kya Yakuwa. (1 Abasessaloniika 5:14, NW) Ng’ekyokulabirako, okusobola okuyamba omuntu aweddemu amaanyi, omukadde asobola okukozesa Zabbuli 34:18. Wagamba: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” Okusobola okukakasa nti oyo aweddemu amaanyi alaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kimukwatako, omukadde ayinza okumubuuza: ‘Yakuwa ali kumpi n’ani? Ebiseera ebimu owulira nga “omenyese mu mutima” era nga “oboneredde mu mwoyo”? Baibuli bw’egamba nti, Yakuwa ali kumpi n’abantu abalinga abo, ekyo tekitegeeza nti ali kumpi naawe?’ Okubudaabuda ng’okwo kuyinza okuzzaamu amaanyi oyo aba awaddemu amaanyi.—Isaaya 57:15.
Okunnyonnyola mu Ngeri Ematiza
13, 14. (a) Tuyinza tutya okunnyonnyola omuntu agamba nti tayinza kukkiririza mu Katonda gw’atalaba? (b) Lwaki tetwandisuubidde buli muntu kumatira?
13 Mu buweereza bwaffe, twagala okutuuka ku mitima gy’abantu nga tubannyonnyola mu ngeri ematiza era esikiriza. (Ebikolwa 19:8; 28:23, 24) Ekyo kitegeeza nti tulina okuyiga okunnyonnyola mu ngeri ewuniikiriza okusobola okumatiza abalala ebikwata ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda? Si bwe kiri. Okunnyonnyola mu ngeri ematiza tekyetaagisa kukozesa bigambo bizibu. Okunnyonnyola mu ngeri ennyangu kwe kusinga okumatiza. Lowooza ku kyokulabirako kino.
14 Kiki kye tusobola okwogera singa omuntu agamba nti tayinza kukkiririza mu Katonda gw’atasobola kulaba? Tusobola okwogera ku tteeka ery’obutonde eriraga nti ekintu kyonna ekibaawo oba ekikolebwa kirina okubaako akikoze. Bwe tulaba ekintu kyonna, tukkiriza nti waliwo eyakikola oba eyakiteekawo. Tuyinza okugamba: ‘Singa ogenda mu nsokolosokolo, n’osangayo ennyumba eyazimbibwa obulungi ennyo era nga mulimu emmere nnyingi, okikkiriza mangu nti waliwo omuntu eyagizimba era n’ateeka n’emmere nnyingi mu kabada zaayo. Mu ngeri y’emu, bwe tulaba engeri ebintu gye byatondebwamu obulungi era n’emmere ennyingi eri mu nsi, tekiba kya magezi okugamba nti waliwo Omuntu eyabitonda?’ Baibuli eraga bulungi ensonga eno: “Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.” (Abaebbulaniya 3:4) Kyo kituufu nti, ka tube nga tunnyonnyodde bulungi tutya, si buli muntu nti ajja kumatira. Baibuli etutegeeza nti abo bokka ‘abaagala okuyiga’ be bajja okufuuka abakkiriza.—Ebikolwa 13:48; 2 Abassesaloniika 3:2.
15. Ngeri ki gye tuyinza okukozesa okunnyonnyola engeri za Yakuwa n’amakubo ge, era byakulabirako ki ebibiri ebiraga engeri gye tusobola okukozesaamu engeri eyo?
15 Mu kuyigiriza kwaffe, ka kube mu buweereza obw’omu nnimiro oba mu kibiina, tusobola okunnyonnyola mu ngeri ematiza okulaga engeri za Yakuwa n’amakubo ge. Engeri ennungi ddala, yeeyo Yesu gye yakozesa nga yeeyambisa ebigambo ‘talisingawo nnyo’ okulaga nti ekintu ekimu kikulu nnyo okusinga ku kirala. (Lukka 11:13; 12:24) Engeri eno ey’okunnyonnyola, eyamba okutuukira ddala ku mutima gw’omuntu. Okusobola okulaga nti enjigiriza ey’omuliro ogutazikira si ya magezi, tusobola okugamba: ‘Tewali taata omwagazi eyandibadde abonereza omwana we ng’ateeka omukono gw’omwana oyo mu muliro. Nga tekyandibadde kya magezi n’okusingawo, okugamba nti Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala ayokya abantu mu muliro ogutazikira!’ (Yeremiya 7:31) Okusobola okuyigiriza nti Yakuwa alabirira abaweereza be kinnoomu, tusobola okugamba: ‘Bwe kiba nti Yakuwa amanyi buli linnya ly’emmunyeenye ezibalirwa mu buwumbi n’obuwumbi, teyandisinzeewo nnyo okufaayo ku bantu abamwagala era abaagulibwa n’omusaayi gw’Omwana we ogw’omuwendo!’ (Isaaya 40:26; Ebikolwa 20:28) Bwe tunnyonnyola mu ngeri ng’eyo ematiza, tusobola okutuuka ku mitima gy’abalala.
Okukozesa Ebyokulabirako Ebituukirawo
16. Lwaki ebyokulabirako biba birungi mu kuyigiriza?
16 Ebyokulabirako ebirungi biyinza okuleetera okuyigiriza kwaffe okusikiriza abalala. Lwaki ebyokulabirako bikulu mu kuyigiriza? Omusomesa omu yagamba: “Kiba kizibu omuntu okulowooza nga talina kifaananyi ky’akuba mu birowoozo.” Ebyokulabirako bituleetera okukuba ebifaananyi eby’amakulu mu birowoozo byaffe, ne tusobola okutegeera obulungi ebintu ebippya. Yesu yakozesa nnyo ebyokulabirako. (Makko 4:33, 34) Ka tulabe engeri gye tuyinza okukozesaamu engeri eno ey’okuyigiriza.
17. Nsonga ki ennya ezifuula ekyokulabirako okubeera ekirungi?
17 Kiki ekireetera ekyokulabirako okubeera ekirungi? Okusooka, kirina okutuukagana n’embeera abawuliriza ze basobola okutegeera amangu. Ebyokulabirako Yesu bye yakozesa yabyesigamya nnyo ku mbeera ezitali zimu ez’abo abaali bamuwuliriza. Ekyokubiri, ekyokulabirako kiteekwa okuba nga kituukagana n’ensonga gy’oyogerako. By’oyogerako bwe biba nga tebikwatagana bulungi n’ekyokulabirako, kiyinza okubuzaabuza obubuzaabuza abawuliriza. Ekyokusatu, ekyokulabirako tekisaanidde kubeeramu bigambo bingi ebiteetaagisa. Jjukira nti Yesu yakozesa ensonga ezo zokka ezaali zeetaagisa n’alekayo ezaali ziteetaagisa. Ekyokuna, bwe tukozesa ebyokulabirako, tusaanidde okulaga engeri gye kiyambamu omuntu okukozesa mu bulamu bwe ensonga z’oyogerako. Bwe kitaba bwe kityo, abamu bayinza obutategeera nsonga nkulu gye twogerako.
18. Tusobola tutya okufuna ekyokulabirako ekituukirawo?
18 Tuyinza tutya okufuna ekyokulabirako ekituukirawo? Tekitwetaagisa kukozesa byakulabirako biwanvu. Ebyokulabirako ebimpimpi bisobola okubeera ebirungi ennyo. Gezaako okulowooza ku byokulabirako ebiggyayo ensonga gy’oyogerako. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti tukubaganya ebirowoozo ku mutwe ogukwata ku ngeri Katonda gy’asonyiwamu, era nga twagala okuwa ekyokulabirako ku nsonga eri mu Ebikolwa 3:19, awagamba nti Yakuwa ‘asangula ebibi,’ oba okwonoona kwaffe. Kyakulabirako ki kye tuyinza okukozesa okuggyayo ensonga enkulu? Tuyinza okukozesa ekisiimuula? Tuyinza okugamba: ‘Yakuwa bw’asonyiwa ebibi byaffe, aba ng’akutte ekisiimuula, n’abisangulirawo ddala.’ Kiba kizibu obutategeera nsonga nkulu bw’okozesa ekyokulabirako ng’ekyo ekyangu.
19, 20. (a) Ludda wa gye tuyinza okufuna ebyokulabirako ebirungi? (b) Byakulabirako ki ebimu ebirungi ebiri mu bitabo byaffe? (Laba n’akasanduuko.)
19 Ludda wa gy’oyinza okufuna ebyokulabirako ebituukirawo, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwatira ddala ku bulamu bw’abantu? Oyinza okubiggya mu bulamu bwo bwennyini oba mu mbeera ezitali zimu ne mu ebyo ebyatuuka ku bakkiriza bannaffe. Tuyinza okufuna ebyokulabirako okuva ku bintu ebirala bingi, nga mw’otwalidde ebintu ebitalina bulamu n’ebyo ebirina obulamu, ebintu ebikozesebwa awaka oba ekintu ekibadde kya kabaawo ekimanyiddwa obulungi mu kitundu. Ekinaakusobozesa okufuna ebyokulabirako ebirungi, kwe kubeera obulindaala, ‘nga weetegereza ebintu’ ebibaawo bulijjo. (Ebikolwa 17:22, 23) Ekitabo ekimu ekyogera ku kwogerera mu lujjudde kinnyonnyola: “Omwogezi eyeetegereza obulamu bw’abantu awamu n’ebintu bye bakola, ayogera n’abantu aba buli kika, eyeetegereza obulungi ebintu era n’abuuza ebibuuzo okutuusa lw’abitegeera obulungi, asobola okufuna ebyokulabirako bingi nnyo ebiyinza okumuyamba mu kiseera ng’abyetaaga.”
20 Waliwo ebintu ebirala ebiyinza okukuyamba okufuna ebyokulabirako ebirungi—The Watchtower, Awake!, awamu n’ebitabo ebirala ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa. Oyinza okuyiga bingi nnyo bwe weetegereza engeri ebitabo ebyo gye bikozesaamu ebyokulabirako.c Okugeza, lowooza ku kyokulabirako ekyakozesebwa mu katundu 11 mu ssuula eya 17 mu katabo Okumanya. Kigeraageranya engeri ez’enjawulo abantu ze baba nazo mu kibiina ku mmotoka ez’enjawulo ezitambula okumpi naawe ku luguudo. Kiki ekireetera ekyokulabirako ekyo okubeera ekirungi? Weetegereze nti kyesigamiziddwa ku mbeera eya bulijjo, kituukagana bulungi nnyo n’ensonga eyogerwako, era kyangu okutegeera. Tuyinza okukozesa ebyokulabirako ebiri mu bitabo nga tuyigiriza, oboolyawo nga tubituukanya n’embeera y’omuyizi wa Baibuli oba nga tubikozesa mu mboozi zaffe.
21. Miganyulo ki egiva mu kubeera omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda omulungi?
21 Emiganyulo gy’okubeera omuyigiriza omulungi mingi nnyo. Bwe tuyigiriza, tuba tugabana ebintu ebyo n’abalala; tuba tukozesa ebimu ku bintu byaffe okubayamba. Okugaba ng’okwo kuleeta essanyu, kubanga Baibuli egamba: ‘Okugaba kuleeta essanyu okusinga okuweebwa.’ (Ebikolwa 20:35) Eri abo abayigiriza abalala Ekigambo kya Katonda, essanyu eryo liva mu kumanya nti tuwa abalala ekintu eky’omuwendo ennyo era eky’olubeerera—amazima agakwata ku Yakuwa. Era tusobola okufuna essanyu eriva mu kumanya nti tukoppa Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo.
[Obugambo obuli wansi]
a Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Laba akatundu “Ennyanjula ez’Okukozesa mu Buweereza bw’Ennimiro,” ku mpapula 9-15.—Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
c Okusobola okufuna ebyokulabirako, laba Watch Tower Publications Index 1986-2000, wansi w’omutwe Illustrations (Ebyokulabirako.)—Kikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi nnyingi.
Ojjukira?
• Tusobola tutya okuyigiriza mu ngeri ennyangu nga tuyigiriza abantu Baibuli oba nga tuwa emboozi mu kibiina?
• Tusobola tutya okukozesa ebibuuzo mu ngeri ennungi nga tubuulira nnyumba ku nnyumba?
• Tusobola tutya okunnyonnyola mu ngeri ematiza nga tulaga engeri za Yakuwa n’amakubo ge?
• Wa gye tuyinza okufuna ebyokulabirako ebituukirawo?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ojjukira Ebyokulabirako Bino?
Ebiddirira wammanga bye bimu ku byokulabirako ebirungi. Lwaki tokebera mu bitabo ebijuliziddwa olabe engeri ebyokulabirako ebyo gye byayambamu okuggyayo ensonga eyali eyogerwako?
• Okufaananako abagoma abatandika okukuba eŋŋoma zaabwe, omuyimbi n’abeegattako n’eddoboozi lye eddungi, n’ekivaamu oluyimba olunyuma okuwuliriza, n’abo abaagala okubeera n’obufumbo obulungi beesigama nnyo ku muntu omulungi ow’okufumbiriganwa naye n’okukolaganira awamu.—Omunaala gw’Omukuumi, Jjuuni 1, 2001, olupapula 12.
• Okwogera ekyo ekikuli mu birowoozo kiba ng’okukasuka omupiira. Oyinza okugukasuka empola oba n’amaanyi mangi ne gulumya omuntu omulala.—Awake!, Jjanwali 8, 2001, olupapula 10.
• Okuyiga okulaga okwagala kufaananyirizibwa n’okuyiga olulimi oluppya.—Omunaala gw’Omukuumi, Maaki 1, 1999, empapula 11-16.
• Ekibi ekisikire kiyinza okugeraageranyizibwa ku ekyo ekibaawo nga progamu za kompyuta zitaataaganyiziddwa.—Is There a Creator Who Cares About You?, olupapula 156.
• Balubaale bakozesa nnyo obusamize ng’abayizzi bwe bakozesa eby’okulya ebisikiriza. Bisikiriza ensolo.—Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, olupapula 111.
• Engeri Yesu gy’anunulamu bazzukulu ba Adamu eyinza okugeraageranyizibwa ku musajja omugagga asasula amabanja ga kampuni gonna (agaaleetebwawo maneja ataali mwesigwa) era n’aggulawo ekkolero eryo, mu ngeri eyo, abakozi ba kampuni eyo ne baganyulwa.—The Watchtower, Febwali 15, 1991, olupapula 13.
• Ng’abantu abaagala ebifaananyi ebisiige bwe bayinza okufuba ennyo okuddaabiriza ekifaananyi ekiba kyonooneddwa, Yakuwa asobola okusonyiwa ebibi byaffe, n’alaba ebirungi bye tukola era ku nkomerero n’atufuula abatuukiridde nga Adamu bwe yali.—The Watchtower, Febwali 15, 1990, empapula 22.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Abakristaayo ab’amazima bayigiriza Ekigambo kya Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Abakadde basobola okukozesa ebibuuzo okuyamba bakkiriza bannaabwe okufuna okubudaabudibwa mu Kigambo kya Katonda