LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 8 lup. 11
  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • “Awatali Lugero Teyabagamba Kigambo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Koppa Omuyigiriza Omukulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Kozesa Ebyokulabirako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Engero Ezikwata ku Bwakabaka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 8 lup. 11

ESSOMO 8

Ebyokulabirako Ebiyigiriza

Ekyawandiikibwa

Matayo 13:34, 35

MU BUFUNZE: Longoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu ng’okozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera, ebisikiriza, era ebiyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. Kozesa ebintu ebyangu okunnyonnyola ebintu ebizibu okutegeera, nga Yesu bwe yakola. Ekyokulabirako tokikalubya ng’okyongeramu ebintu ebiteetaagisa. Kakasa nti ekyokulabirako ky’okozesa kikwatagana n’ekyo ky’oyogerako, abakuwuliriza baleme kubuzaabuzibwa.

    Eky’okukola

    Weetegereze ebikwetoolodde, soma ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, era wuliriza ab’oluganda abayigiriza obulungi. Bw’oba okola ebintu ebyo, fuba okufuna ebyokulabirako by’oyinza okukozesa ng’oyigiriza, obeeko w’obiwandiika.

  • Lowooza ku biyinza okuganyula abakuwuliriza. Kozesa ebyokulabirako ebikwata ku bintu abakuwuliriza bye bakola oba bye banyumirwa. Weegendereze oleme kukozesa byakulabirako ebiyinza okubayisa obubi.

  • Essira lisse ku nsonga enkulu. Kozesa ebyokulabirako ebinaakuyamba okuggyayo ensonga enkulu, so si ezo ezitali nkulu. Kakasa nti abakuwuliriza tebakoma ku kujjukira kyakulabirako ky’owadde, wabula n’ensonga lwaki owadde ekyokulabirako ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share