LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Maayi lup. 5
  • Kozesa Ebyokulabirako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Ebyokulabirako
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa Okuyitira mu Kusaba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza​—Kozesa Ekigambo kya Katonda
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Kozesa Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Maayi lup. 5
Maama ne muwala we batunuulira ebinyonyi n’ebimuli nga bwe bawuliriza Yesu ng’ayigiriza ku lusozi.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Kozesa Ebyokulabirako

Bwe tuba tukola okuddiŋŋana oba nga tuyigiriza abantu Bayibuli, twetaaga okuyamba abo be tuyigiriza okutegeera ensonga enkulu. Bwe tukozesa ebyokulabirako okunnyonnyola ensonga enkulu, tusobola okukwata ku mitima gyabwe era n’okubayamba okujjukira ensonga enkulu.

Bw’oba weeteekateeka okukola okuddiŋŋana oba okuyigiriza omuyizi, londa ensonga enkulu z’oyagala okunnyonnyola ng’okozesa ebyokulabirako, so si buli nsonga eri mu katundu. Oluvannyuma londa ebyokulabirako ebyangu okutegeera ebikwata ku bintu ebya bulijjo. (Mat 5:14-16; Mak 2:21; Luk 14:7-11) Kakasa nti olowooza ku mbeera omuntu gw’ogenda okuyigiriza gye yakuliramu era n’ebyo by’akola. (Luk 5:2-11; Yok 4:7-15) Bw’onoolaba essanyu ly’afunye olw’okutegeera ensonga emu, naawe ojja kufuna essanyu.

MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU​—KOZESA EBYOKULABIRAKO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Kozesa Ebyokulabirako.’ Shanita ng’abuuza Anita ekibuuzo.

    Lwaki abayizi ba Bayibuli beetaaga obuyambi okusobola okutegeera Ebyawandiikibwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Kozesa Ebyokulabirako.’ Anita ng’awa Shanita ekyokulabirako.

    Anita akozesezza atya ekyokulabirako okunnyonnyola amazima agali mu Abaruumi 5:12?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Kozesa Ebyokulabirako.’ Anita ng’alaga Shanita vidiyo.

    Ebyokulabirako ebirungi bikwata ku mutima

    Ebyokulabirako ebirungi biyinza bitya okukwata ku bantu be tubuulira?

  • Bwe tuba tuli mu buweereza, lwaki tusaanidde okukozesa vidiyo n’ebintu ebirala ekibiina kya Yakuwa bye kituwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share