BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Kozesa Ebibuuzo
Yakuwa, “Katonda omusanyufu,” ayagala tunyumirwe obuweereza bwaffe. (1Ti 1:11) Bwe tufuba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu, kijja kutuyamba okweyongera okufuna essanyu mu buweereza. Okukozesa ebibuuzo kisobola okuyamba omuntu okwagala okumanya ebisingawo era y’emu ku ngeri etuyamba okutandika okunyumya n’abantu. Ebibuuzo bireetera omuntu okulowooza era n’okuwa endowooza ye. (Mat 22:41-45) Bwe tubuuza omuntu ebibuuzo era ne tumuwuliriza ng’awa endowooza ye, tuba tulaga nti tumufaako. (Yak 1:19) Omuntu by’aba azzeemu bisobola okutuyamba okumanya engeri ennungi ey’okumuddamu.
MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU—KOZESA EBIBUUZO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ngeri ki ennungi Shanita z’ayolese?
Anita akozesezza atya ebibuuzo okulaga nti afaayo ku Shanita?
Anita akozesezza atya ebibuuzo okuleetera Shanita okweyongera okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku mawulire amalungi?
Anita akozesezza atya ebibuuzo okuyamba Shanita okulowooza n’okuwa endowooza ye?