LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb22 Maaki lup. 15
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Similar Material
  • Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Kozesa Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Fuba Okutuuka ku Mutima
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maaki lup. 15

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa

Yakuwa ayagala abantu bamuweereze olw’okuba bamwagala. (Mat 22:37, 38) Okwagala Katonda kwe kuleetera omuyizi wa Bayibuli okukola enkyukakyuka n’okusigala nga mwesigwa ng’agezesebwa. (1Yo 5:3) Era okwagala Katonda kwe kukubiriza omuyizi okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa.

Yamba abayizi bo okukiraba nti Yakuwa abaagala. Babuuze ebibuuzo nga bino: “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” oba “Kino kiraga kitya nti Yakuwa akwagala?” Bayambe okulaba engeri Yakuwa gy’abayambyemu ng’abantu kinnoomu. (2By 16:9) Babuulire ku ngeri Yakuwa gy’azzeemu essaala zo, era bakubirize okwetegereza engeri Yakuwa gy’addamu essaala zaabwe. Abayizi baffe bwe batandika okukiraba nti Yakuwa abaagala era nabo ne bakiraga nti bamwagala era nti baagala okuba mikwano gye, kituleetera essanyu lingi nnyo.

MULABE VIDIYO, YAMBA OMUYIZI WO OWA BAYIBULI OKUBA N’ENKOLAGANA ENNUNGI NE YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Yamba Omuyizi Wo owa Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.” Shanita ng’ali ku ssimu era nga si musanyufu.

    Kizibu ki Shanita kye yalina?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Yamba Omuyizi Wo owa Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.”Anita ng’ayogera ne Shanita.

    Anita yamuyamba atya?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Yamba Omuyizi Wo owa Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.” Shanita ng’afumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’amuyambyemu.

    Kiki ekyayamba Shanita okuvvuunuka ekizibu kye yalina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share