BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuvvuunuka Emize Emibi
Abo bokka abayonjo mu mpisa be basobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (1Pe 1:14-16) Abayizi ba Bayibuli bwe bavvuunuka emize emibi, baba n’obulamu bw’amaka obulungi, baba balamu bulungi, era bakozesa bulungi ssente zaabwe.
Bannyonnyole bulungi emitindo gya Yakuwa egy’empisa, ensonga lwaki Yakuwa yatuteerawo emitindo egyo, era n’emiganyulo egiri mu kugigoberera. Bayambe okukyusa endowooza yaabwe. Ekyo kijja kubayamba okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. (Bef 4:22-24) Bakakase nti Yakuwa asobola okubayamba okwekutula mu muze ogwasimba amakanda. (Baf 4:13) Bayigirize okusaba ennyo Yakuwa nga bafunye ekirowoozo eky’okwenyigira mu muze omubi. Bayigirize okumanya embeera eziyinza okubaviirako okwenyigira mu muze omubi, era n’engeri gye bayinza okuzeewalamu. Bakubirize okukola ebintu eby’omuganyulo, mu kifo ky’okwenyigira mu muze omubi. Tufuna essanyu lingi bwe tulaba nga Yakuwa ayambye abayizi baffe okukola enkyukakyuka.
MULABE VIDIYO, YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUVVUUNUKA EMIZE EMIBI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Abakadde ne Anita baalaga batya nti baalina essuubi mu Shanita?
Anita yeeyongera atya okuyamba Shanita?
Shanita yanoonya atya obuyambi bwa Yakuwa?