BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa Okuyitira mu Kusaba
Yakuwa y’akuza ensigo ey’amazima eba esigiddwa mu mutima gw’omuntu. (1Ko 3:6-9) N’olwekyo, okusobola okufuna ebibala mu buweereza bwaffe, tusaanidde okwesiga Yakuwa okutuyamba era n’okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli.
Saba Yakuwa ayambe omuyizi wo asobole okwaŋŋanga okupikirizibwa n’ebizibu ebirala. (Baf 1:9, 10) Bw’oba omusaba, koonera ddala ku nsonga. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuwe obulagirizi. (Luk 11:13) Yigiriza abayizi bo engeri y’okusabamu era obakubirize okusaba. Sabira omuyizi wo era osabire wamu naye ng’okozesa erinnya lye.
MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OKKIRIZA OBUYAMBI YAKUWA BW’ATUWA—OKUSABA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Kusoomooza ki Anita kwe yayolekagana nakwo ng’ayigiriza Shanita?
Ebiri mu 1 Abakkolinso 3:6 byayamba bitya Anita?
Anita yavvuunuka atya okusoomooza kwe yalina?