LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Noovemba lup. 15
  • Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Kozesa Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Fuba Okutuuka ku Mutima
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Noovemba lup. 15

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa

Okusobola okukola ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, n’okukula mu by’omwoyo, abayizi ba Bayibuli tebalina kukoma ku kuyiga mazima ge tubayigiriza. (Mat 5:3; Beb 5:12–6:2) Balina n’okuyiga okwesomesa.

Okuviira ddala ku ntandikwa, laga omuyizi wo engeri y’okutegekamu ebyo bye muba mugenda okusoma, era omukubirize okutegekanga. (mwb18.03 lup. 6) Mukubirize okusooka okusabanga buli lw’aba agenda okwesomesa. Muyambe okukozesa ebyo ebiri ku tabbuleeti oba ku masimu okwesomesa. Muyambe okumanya engeri gy’asobola okufunangamu ebipya ebiba biteekeddwa ku jw.org ne ku JW Broadcasting®. Genda ng’omuyigiriza okusoma Bayibuli buli lunaku, okutegeka enkuŋŋaana, n’okunoonyereza ku bibuuzo by’aba alina. Muyambe okufumiitiriza ku ebyo by’ayiga.

MULABE VIDIYO YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUYIGA OKWESOMESA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa.” Shanita ayogera ku bintu bye yayiga ebyamukwatako.

    Anita yayamba atya Shanita okukitegeera nti okuyiga Bayibuli kisingawo ku kumanya obumanya eby’okuddamu?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa.” Anita ayamba Shanita okufuna eky’okuddamu okuva mu Bayibuli.

    Kiki ekyayamba Shanita okukitegeera nti amateeka Yakuwa ge yatuwa agakwata ku kwewala ebikolwa eby’obugwenyufu ga muganyulo gye tuli?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa.” Shanita afumiitiriza ku kyawandiikibwa ng’atudde kumpi n’omulenzi we.

    Yigiriza abayizi bo engeri y’okwesomesaamu ebintu ebikulu n’okubikolerako

    Kiki Shanita kye yategeera ku bikwata ku kufumiitiriza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share