Magazini Zaffe—Zitegekebwa Okusikiriza Abantu Aba Buli Ngeri
1. Ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi kikoppa kitya omutume Pawulo?
1 Ng’omutume Pawulo bwe yakyusakyusanga mu ngeri gye yabuulirangamu amawulire amalungi okusobola okuyamba “abantu aba buli ngeri,” ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi kikozesa magazini zaffe okutuusa amawulire amalungi ku bantu ab’amawanga ag’enjawulo era abalina enzikiriza ez’enjawulo. (1 Kol. 9:22, 23) Okusobola okukozesa obulungi Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, kitwetaagisa okulowooza ku bantu magazini zino be zitegekerwa.
2. Awake! etegekebwa kusikiriza bantu ba ngeri ki?
2 Awake!: Magazini eno etegekebwa n’ekigendererwa eky’okutuusa amawulire amalungi ku bantu abalinga “abasajja b’omu Asene,” omutume Pawulo be yali ayogera nabo. (Bik. 17:22) Abasajja abo bayinza okuba nga baali tebalina kye bamanyi ku bikwata ku njigiriza za Kikristaayo era nga bamanyi kitono nnyo ku Byawandiikibwa. Mu ngeri y’emu, Awake! etegekebwa okuyamba abantu abamanyi ekitono oba abatamanyi Bayibuli ky’eyigiriza. Bayinza okuba nga tebamanyi njigiriza za Kikristaayo, nga tebeesiga madiini, oba nga tebamanyi nti Bayibuli erimu amagezi ag’omuganyulo. Ekigendererwa ekikulu ekya Awake! kwe kuyamba abo abagisoma okutegeera nti Katonda ow’amazima gyali. Ate era, ekigendererwa kya magazini eno kwe kuyamba abagisoma okukkiririza mu Bayibuli n’okutegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa ba njawulo ku madiini amalala.
3. Magazini zombi eza Omunaala gw’Omukuumi zitegekebwa na kigendererwa kya kuyamba bantu ba ngeri ki?
3 Omunaala gw’Omukuumi: Magazini ya Omunaala gw’Omukuumi eya bonna etegekebwa n’ekigendererwa eky’okuyamba abo abakkiririza mu Katonda ne mu Byawandiikibwa. Bamanyi kitono ku Bayibuli era tebategeera bulungi njigiriza zaayo. Bafaananako abo omutume Pawulo be yayogerako ‘ng’abatya Katonda.’ (Bik. 13:14-16) Omunaala gw’Omukuumi ogusomebwa mu kibiina gutegekebwa, okusingira ddala okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa. Pawulo yali akitwala nti abo abaali basoma amabaluwa ge, baali bamanyi Ebyawandiikibwa era nga bategeera bulungi amazima. (1 Kol. 1:1, 2) Mu ngeri y’emu, ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogw’okusoma mu kibiina bitegekebwa okuyamba abo ababaawo mu nkuŋŋaana zaffe era abamanyi ebigambo ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa n’enjigiriza zaabwe.
4. Lwaki tusaanidde okumanya ebyo ebiba bifulumidde mu magazini ze tukozesa mu nnimiro?
4 Wadde ng’ebiseera ebisinga obungi tugabira wamu magazini ya Awake! ne Omunaala gw’Omukuumi, tutera kwogera ku emu mu nnyanjula zaffe. N’olwekyo, kifuule kiruubirirwa kyo okusoma ebyo ebiba bifulumidde mu buli emu ku magazini ezo. Ekyo kijja kukusobozesa okwogera ku ekyo ekinaasikiriza oyo gw’onooba osisinkanye.