Gaba Magazini Eziwa Obujulirwa ku Mazima
1. Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zikozesebwa mu mulimu ki?
1 Magazini Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa ne Awake! zikyakozesebwa nnyo mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Kitusanyusa nnyo okugaba magazini zino ebbiri nga tuli mu ngeri ezitali zimu ez’obuweereza bw’Obwakabaka.
2. Nkyukakyuka ki ezikoleddwa mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, era lwaki?
2 Emyaka bwe gizze giyitawo tulabye enkyukakyuka mu bunene bwa magazini zino, mu ebyo ebizibaamu, ne mu ngeri ze tukozesa nga tuzigabira abantu. Ekiruubirirwa eky’okukola enkyukakyuka mu magazini zino kwe kuzifuula okuba ezisikiriza ennyo, kisobozese obubaka bw’Obwakabaka okutuuka ku mitima ‘gy’abantu bonna basobole okulokoka, era n’okutegeerera ddala amazima.’—Tim. 2:4.
3. Magazini eno eneekozesebwa etya mu buweereza bw’ennimiro?
3 Okuva mu Jjanwali 2006, tufunye obumanyirivu mu kukozesa ennyanjula ez’enjawulo nga tugaba magazini ya Awake! efuluma buli mwezi. Era tujja kugoberera enkola y’emu nga tugaba emu ku magazini ebbiri eza Watchtower Announcing Jehovah’s Kingdom ezinaafulumanga buli mwezi. Ennyanjula ze tuyinza okukozesa nga tugaba magazini eyo zisangibwa ku lupapula olusembayo olw’Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Emirundi egisinga obungi, ennyanjula zino ziba zikwata ku bitundu ebisooka mu magazini, naye ate ebiseera ebimu zikwata ne ku bitundu ebirala ebisikiriza ennyo abantu. Okusobola okukozesa obulungi ennyanjula eziba zituweereddwa, kitwetaagisa okuba nga tumanyi bulungi ebitundu ebiba byogeddwako mu nnyanjula ezo era ne tuzissa mu bigambo byaffe okusobola okuzituukanya n’ekitundu kyaffe.
4. Lwaki kiyinza okuba ekirungi okukozesa ennyanjula endala ng’oggyeko ezo eziba mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka?
4 Wadde nga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka mubaamu ennyanjula bbiri ez’enjawulo eziyinza okukozesebwa nga tugaba buli emu ku magazini ezo eziba zifulumiziddwa, tusobola okukozesa ennyanjula endala etali emu ku ezo. Emu ku nsonga eziyinza okutuleetera okukola kino kwe kuba nti wayinza okubaawo ekitundu mu magazini zino ekiyinza okusikiriza ennyo abantu ab’omu kitundu, kyokka nga tekyogeddwako mu nnyanjula eziweereddwa. Oba kiyinza okuba nga kikwanguyira okugaba magazini zino ng’okozesa ekitundu ekyasinze okukunyumira.
5. Kiki ky’oteekwa okukola nga tonnategeka nnyanjula gy’onookozesa ng’ogaba magazini?
5 Engeri y’Okutegekamu Ennyanjula Yo: Ekisookera ddala, oteekwa okuba ng’omanyi bulungi ebyo ebiri mu kitundu ky’ogenda okukozesa ng’ogaba magazini. Oyinza okutandika okugaba magazini mu buweereza bw’ennimiro ne bwe kiba nti tonnagisoma yonna. Kyokka, bw’oba ogaba magazini ng’okozesa ekitundu ky’oba osazeewo okwogerako, oteekwa okwoleka ebbugumu era n’okulaga nti by’oyogera biviira ddala ku mutima. Kino okusobola okukikola obulungi, oteekwa okuba ng’omanyi bulungi ebyo ebiri mu kitundu ekyo ky’oyogerako.
6. Tuyinza tutya okutegeka ennyanjula zaffe?
6 Ekiddako, bw’oba otegeka ennyanjula yo, lowooza ku bigambo eby’enjawulo by’oyinza okukozesa mu mbeera ezitali zimu. Bw’oba otandika okunyumya n’omuntu, oyinza okukozesa ekibuuzo ekisobola okumusikiriza nga kituukana n’ekitundu ky’oyogerako. Bulijjo kozesa Ekigambo kya Katonda okusobola okutuuka ku mutima gw’omuntu. (Beb. 4:12) Londa ekyawandiikibwa ekituukirawo, naddala ekyo ekijuliziddwa oba ekiragiddwa mu kitundu ekyo ky’oyogerako. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukwataganya ekyawandiikibwa ekyo n’ekitundu ky’oyogerako.
7. Tuyinza tutya okweyongera okulongoosa mu nnyanjula zaffe?
7 Kozesa Buli Kakisa: Ennyanjula yo okusobola okuba ennungi, oteekwa okugikozesa. Kolera wamu n’ekibiina nga mugaba magazini ku Lwomukaaga. Magazini zino oyinza okuziwa abo abaatwala ebitabo byaffe. Bulijjo magazini ziwe abo b’osoma nabo Baibuli n’abantu abalala b’oyinza okusanga ng’ozzeeyo eri abo abaalaga okusiima. Magazini zino oyinza okuziwa abantu b’oyogera nabo ng’ogenze okugula ebintu, ng’oliko gy’olaga, oba ng’olinda omusawo. Genda ng’olongoosa mu nnyanjula zo okumala omwezi gwonna.
8. Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! za njawulo mu ngeri ki?
8 Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! za njawulo nnyo. Zigulumiza Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. (Bik. 4:24) Zirimu amawulire amalungi ag’Obwakabaka agabudaabuda abantu, era zibakubiriza okukkiririza mu Yesu Kristo. (Mat. 24:14; Bik. 10:43) Okugatta ku ekyo, zeetegereza engeri ebibaawo mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Baibuli. (Mat. 25:13) Yamba abantu abali mu kitundu ky’obuuliramu okuganyulwa mu magazini zino ng’oba mwetegefu okuzigaba buli lw’oba ofunye akakisa.
9. Tuyinza tutya okussaawo omusingi kwe tunaasinziira okuddayo eri omuntu?
9 Bw’oba ng’owadde omuntu magazini, oba ng’onyumizza naye ebikwata ku Katonda, mubuuze ekibuuzo ekiyinza okukusobozesa okumuddira omulundi omulala. Bwe tuba abanyiikivu mu kusiga ensigo ez’amazima, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kusobozesa abantu abeesimbu okumumanya n’okumuweereza.—1 Kol. 3:6.