Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini
1. Lwaki kirungi okutegeka ennyanjula ezaffe ku bwaffe mu kifo ky’okukwata obukusu emu ku ezo eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka?
1 Oyinza okwebuuza, ‘Lwaki tulina okuteekateeka bye tunaayogera nga tugaba magazini ng’ate tubirina mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka?’ Wadde ng’abasinga obungi ennyanjula zino zibayamba, kiba kyetaagisa buli muntu okutegeka. Ennyanjula etuukana n’ekitundu ekimu eyinza obutaba nnungi mu kitundu ekirala. N’olwekyo, tetulina kukozesa bigambo nga bwe biri mu nnyanjula ez’omu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ne bwe tusalawo okukozesa emu ku zo, kiba kirungi okugiteeka mu bigambo byaffe.
2. Osalawo otya ekitundu ky’onooyogerako?
2 Londa Ekitundu: Ng’omaze okusoma magazini, londamu ekitundu ekisinze okukunyumira era ekituukana n’ekitundu kye mubuuliramu. Bw’oyogera n’ebbugumu era nga weekakasa ng’oyanjula magazini, kijja kuleetera gw’oyogera naye okwagala okusoma ekitundu ekyo. Wadde ng’oyinza okwogera ku kitundu ekisikiriza abantu abangi mu kitundu kyo, naye beera ng’omanyi bulungi n’ebitundu ebirala ebiri mu magazini. Kino kijja kukusobozesa okukyusaamu singa oba osanze omuntu anyumirwa ekintu ekirala.
3. Bw’oba ogaba magazini, ngeri ki ekusingira obulungi okutandikamu?
3 Buuza Ekibuuzo: Teekateeka ebigambo by’onootandisa n’obwegendereza. Engeri gy’otandikamu nkulu nnyo. Kiyinza okuba ekirungi okutandika n’ekibuuzo ekinaaleetera gw’oyogera naye okwagala okusoma ekitundu ky’oyagala okumulaga. Ebibuuzo ebireetera omuntu okuwa endowooza ye bye bisinga okuba ebirungi. Weewale ebibuuzo ebiyinza okukwasa omuntu ensonyi oba okumunyiiza.
4. Lwaki kirungi okusomera omuntu ekyawandiikibwa bw’aba alina ebiseera?
4 Soma Ekyawandiikibwa: N’ekisembayo, londa ekyawandiikibwa mu kitundu ekyo oba okuva awalala, ky’onoosomera omuntu anaaba alina ebiseera. Okumusomera ekyawandiikibwa kijja kumuyamba okulaba nti obubaka bwaffe buva mu Kigambo kya Katonda. (1 Bas. 2:13) Ate era, Ekyawandiikibwa kijja kumuwa obujulirwa ne bw’aba tatutte magazini. Abamu bakisanze ng’okusooka okusoma ekyawandiikibwa nga tebannabaako kye babuuza, kireetera omuntu okuwuliriza. Oyinza okwanjula ekyawandiikibwa ng’ogamba nti, “Nandyagadde okumanya endowooza yo ku lunyiriri luno okuva mu Baibuli.” Oluvannyuma mulage ensonga mu magazini ekwatagana n’ekyawandiikibwa, era obeeko by’oyogera mu bufunze nga tonnagimuwa.
5. Biki by’olina okujjukira ng’otegeka by’onooyogera ng’ogaba magazini?
5 Tewali mateeka g’alina kugobererwa ku bye twogera nga tugaba magazini. Okutwalira awamu kiba kirungi okukozesa ennyanjula ennyangu ate nga nnyimpi. Kozesa ennyanjula mu ngeri ekwanguyira era gy’osanze ng’evaamu ebibala. Essira lisse ku ngeri magazini gy’eyinza okuganyula gw’ogiwa era yogera n’ebuggumu. Singa oba weteeseteese bulungi, kijja kukubeerera kyangu okugabira abo ‘abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo’ Watchtower ne Awake!—Bik. 13:48, NW.