LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/01 lup. 1
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Gaba Magazini Eziwa Obujulirwa ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 9/01 lup. 1

Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?

1 Mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, tugambibwa nti abayigirizwa ba Yesu baatuukiriza obuweereza bwabwe nga ‘bategeeza abantu obujulirwa mu bujjuvu.’ (Bik. 2:40; 8:25; 28:23, NW) Mazima ddala, ekyo kye kyali ekiruubirirwa ky’omutume Pawulo. (Bik. 20:24, NW) Naawe ekyo si kye kiruubirirwa kyo ng’omubuulizi w’amawulire amalungi? Oyinza otya okukituukiriza?

2 Teekateeka Ennyanjula Yo: Okukakasa nti owa obujulirwa obulungi mu buweereza, kikulu nnyo okwetegeka. Ekyo nnaddala kikulu ng’ogaba magazini, okuva ensonga ezoogerwako bwe zikyukakyuka buli kiseera. Okusobola okutuyamba okwetegeka obulungi, akatabo kaffe kano aka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kalimu enteekateeka empya. Oludda olwa kkono luliko ebyokulabirako eby’ennyanjula ezikwata ku kugaba magazini empya ez’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Ensonga etuukirawo mu kiseera ekituufu era eyinza okusikiriza abantu bangi, ejja kwogerwangako mu buli lufulumya lw’Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Oyinza otya okukozesa ennyanjula ezo eziri mu bufunze?

3 Londa ennyanjula gy’olowooza nti y’eyinza okukola obulungi mu kitundu kyammwe. Soma n’obwegendereza ekitundu ekirina okulagibwa abantu, era weetegereze ensonga enkulu eziyinza okubasikiriza. Kozesa ekyawandiikibwa ekiri mu magazini ekituukagana obulungi n’ensonga eyogerwako era ky’oyinza okusomera nnyinimu. Era baako by’oyogera mu bufunze ng’ofundikira ebiyinza okukubiriza omuntu akuwuliriza okusoma magazini. Era, bwe kiba kisaana mutegeeze ku nteekateeka y’okubaako ky’awaayo kyeyagalire okuwagira omulimu ogw’ensi yonna ogw’Abajulirwa ba Yakuwa. Bw’omala ebyo, weegezeemu mu nnyanjula yo.

4 Teekateeka Okukozesa Baibuli: Bw’okola enteekateeka ennungi, oyinza okusobola okusomayo ekyawandiikibwa buli lw’oba ogaba magazini. Ng’ekyokulabirako, mu bitundu bingi ababuulizi abalina obumanyirivu ekyo bayinza okukikola bwe bagenda mu maka g’abantu nga bakutte Baibuli mu mikono gyabwe. Oluvannyuma lw’okubuuza nnyinimu, bamugamba nti:

◼ “Tubuuza abantu oba nga kino bakikkiriza . . . ” soma Olubereberye 1:1, bw’omala buuza: “Ebigambo ebyo obikkiriza?” Omuntu oyo bw’aba akkiriza, mugambe nti: “Nange mbikkiriza. Naye, olw’okuba Katonda ye yatonda ebintu byonna, olowooza nti y’avunaanyizibwa olw’obubi obuliwo?” Ng’omaze okuwuliriza omuntu ky’addamu, soma Omubuulizi 7:29. Bikkula akatabo Okumanya ku lupapula 71, osome akatundu 2. Kubiriza omuntu oyo okusoma akatabo ako.

5 Ddayo Eri Bonna Abaagala Okumanya Ebisingawo: Toyinza kutuukiriza buweereza bwo mu bujjuvu bw’otoddiŋŋana bonna abaasiima obubaka bwaffe. Bwe mukubaganya ebirowoozo n’omuntu mu ngeri ezimba, k’obe nga wamulekera magazini oba kitabo, wandiika erinnya n’endagiriro eby’omuntu oyo. Fuba okuddayo amangu okusobola okuyamba omuntu oyo okukulaakulana. Mu buli ngeri, mutegeeze ku nteekateeka ey’Okumuyigiriza Baibuli.

6 Abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka baakitegeera nti Yesu yali abalagidde ‘okuwa obujulirwa mu bujjuvu.’ (Bik. 10:42, NW) Ekiragiro kye kimu ekyo naffe kitukwatako, kubanga y’engeri yokka mwe tuyitira okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Ka tukole kyonna kye tusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu.​—2 Tim. 4:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share