LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/05 lup. 8
  • Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Gaba Magazini Eziwa Obujulirwa ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Faayo ku Bantu—Ng’Otegeka Bulungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 1/05 lup. 8

Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa

1. Twandikozesezza tutya ennyanjula ezituweereddwa?

1 Ennyanjula ezikwata ku ngeri y’okugabamu magazini zaffe n’ebitabo ebirala, bulijjo zifulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro, tekitwetaagisa kwogerera ddala nnyanjula ezo nga bwe zirambikiddwa. Zituweereddwa okutulaga ekyo kye tuyinza okwogera. Kijja kuba kirungi singa tuteeka ennyanjula ezo mu bigambo byaffe. Bwe tukozesa ebigambo byaffe kiyamba nnyinimu okutuwuliriza obulungi era ne kiraga nti tuli beesimbu era nti twekakasa bye twogera.​—2 Kol. 2:17; 1 Bas. 1:5.

2. Lwaki tusaanidde okufaayo ku mpisa y’omu kitundu nga tutegeka ennyanjula zaffe?

2 Ennyanjula Yo Gituukanye n’Empisa y’Omu Kitundu: Engeri gye twanjulamu amawulire amalungi eri abantu esinziira nnyo ku mpisa y’omu kitundu. Kyetaagisa kusooka kubuuza nnyinimu oluvannyuma n’olyoka omwanjulira obubaka, oba abantu b’omu kitundu kyo bakusuubira okutuukira ku nsonga? Ekyo kisinziira ku kitundu oba ku muntu gw’oyogera naye. Ate era kyetaagisa okukozesa amagezi ng’obuuza ebibuuzo. Ebibuuzo by’oyinza okubuuza abantu ab’omu kitundu ekimu biyinza okwesisiwaza ab’omu kitundu ekirala. N’olwekyo, tusaanidde okukozesa amagezi era ne tutuukanya ennyanjula zaffe n’empisa y’omu kitundu.

3. Lwaki tusaanidde okufaayo ku ndowooza y’abo be twogera nabo?

3 Ate era, tusaanidde okufaayo ku ndowooza y’abo abali mu kitundu kyaffe bwe tuba tweteekateeka okugenda mu nnimiro. Ng’ekyokulabirako, engeri gy’onooyogeramu n’Omukatuliki omukuukuutivu ku Matayo 6:9, 10 si y’emu n’eyo gy’onooyogeramu n’omuntu atamanyi ssaala ya “Mukama Waffe.” Singa tusooka okulowooza ku nnyanjula zaffe, tujja kusobola okuzituukaganya n’abantu be tusanga mu nnimiro.​—1 Kol. 9:20-23.

4. Lwaki kikulu okutegeka obulungi?

4 Ne bwe tuba nga tugenda kukozesa nnyanjula ezituweereddwa, kyetaagisa okutegeka obulungi. Tulina okusoma n’obwegendereza ekitundu oba essuula gye tugenda okukozesa era tunoonyemu ensonga ezisobola okusikiriza abantu. Oluvannyuma bye tusomye tusaanidde okubikozesa mu nnyanjula yaffe. Singa tumanya ebiri mu bitabo byaffe kijja kutusobozesa okwogera n’ebbugumu nga tubigaba.

5. Lwaki tuyinza okukozesa ennyanjula endala, era tuyinza kuzitegeka tutya?

5 Ennyanjula Endala: Tusaanidde kukozesa nnyanjula ezo zokka ezituweereddwa? Nedda. Bw’oba ng’olina ennyanjula endala ekwanguyira okukozesa oba ekyawandiikibwa, bikozese. Naddala bw’oba ogaba magazini, fuba okukozesa ebitundu ebijja okusikiriza abantu b’omu kitundu kyo. Bwe kiba nti mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza wanaabaawo okulaga engeri y’okwanjulamu obubaka, enteekateeka ziyinza okukolebwa ne mulaga ennyanjula ezituukirawo mu kitundu kyammwe. Mu ngeri eno, ababuulizi bajja kuyambibwa okubuulira obulungi amawulire amalungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share