LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/06 lup. 1
  • Faayo ku Bantu—Ng’Otegeka Bulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Faayo ku Bantu—Ng’Otegeka Bulungi
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • ‘Weeteeketeeke Okukola Buli Mulimu Omulungi’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Faayo ku Bantu—Nga by’Oyogera Obituukanya n’Embeera Zaabwe
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 2/06 lup. 1

Faayo ku Bantu​—Ng’Otegeka Bulungi

1 Bwe tutegeka obulungi nga tugenda mu buweereza bw’ennimiro, kituyamba okufaayo ku balala. Mu ngeri ki? Bwe tuba tutegese bulungi, kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku ebyo bye tugenda kwogera, mu ngeri eyo tusobola okufaayo ku oyo atuwuliriza. Ate era kituyamba okuba abavumu n’okwogera nga twekakasa. Naye tuyinza tutya okutegeka ennyanjula ennungi?

2 Kozesa Ennyanjula Etuukirawo: Londayo ennyanjula emu etuukirawo mu kitundu ky’obuuliramu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006, era ogiteeke mu bigambo byo. Gituukanye n’ekitundu ky’obuuliramu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’osuubira okusanga abantu ab’eddiini emu, oba ab’eggwanga erimu, lowooza ku ngeri ennyanjula yo gy’eyinza okubasikirizaamu. Bw’otukanya ennyanjula yo n’abantu b’oyogera nabo kiraga nti obafaako.​—1 Kol. 9:22.

3 Bw’oba ng’otandise okukozesa ennyanjula gy’oba olonze, weeyongere okugirongoosaamu. Okuva bwe kiri nti ebigambo by’osooka okwogera bikulu nnyo, weetegereze engeri abantu gye batwalamu ennyanjula yo. Weebuuze, ensonga gye njogerako ebasikiriza? Ebibuuzo bye mbabuuza bibaleetera okubaako kye baddamu? Bwe kitaba bwe kityo, gikyusekyuseemu okutuusa lw’eneefuuka ennyanjula ennungi.

4 Ebisobola Okukuyamba Okujjukira: Bangi kibazibuwalira okujjukira eby’okwogera bwe batuuka ku muntu gwe bagenda okwogera naye. Ekyo bwe kiba nga kye kizibu kyo, wali olowoozezza ku kusooka okwegezaamu ennyanjula yo n’omuntu omulala? Kino kisobola okukuyamba okutegeera obulungi ensonga, n’osobola okuzoogera mu ngeri ensengeke era etegeerekeka obulungi. Era kiyinza okukuyamba okumanya engeri y’okukwatamu buli mbeera gy’osanga ng’obuulira.

5 Ekintu ekirala ekiyinza okukuyamba okujjukira, kwe kubaako ensonga entonotono z’owandiika ku kapapula z’oyinza okusoma ng’onootera okutuuka ku muntu gw’ogenda okwogera naye. Abamu bakizudde nti bwe bakola bwe batyo, bakkakkana era ne baba nga basobola okukubaganya obulungi ebirowoozo n’abantu. Bwe tukola bwe tutyo, tusobola okulongoosa mu ngeri gye twanjulamu amawulire amalungi era n’okufaayo ku abo be tubuulira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share