Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Agusito
“Leero abantu bangi balowooza nti Yesu akyali nga bwe yali emyaka nkumi bbiri emabega, ng’omwana omuwere azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira, oba ng’omusajja akomereddwa ku muti. Naye ggwe olowooza Yesu akola ki kati? [Muleka abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Agusito 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekyawandiikibwa kimu. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Agusito 1
Abantu bangi bakkiririza mu byamagero. Abamu babibuusabuusa. Olowooza ddala ebyamagero bikolebwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyamagero kino Katonda ky’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso kiwadde abantu bangi essuubi. [Soma ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa ku lupapula 9-10.] Magazini eno eraga amazima agakwata ku bintu bisatu ebitera okwogerwa abantu abatakkiririza mu byamagero.”
Awake! Agusito
“Ennaku zino abantu bangi batya okutambula bokka, nnaddala ekiro. Olowooza waliwo ekintu kyonna ekiyinza okukolebwa okukendeeza ebikolwa eby’obukambwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ebimu ku bintu ffenna bye tusobola okukola okweyongera okuba abantu ab’emirembe. Ate era ennyonnyola engeri obunnabbi buno obuzzaamu amaanyi gye bunaatuukirizibwamu.” Soma Zabbuli 72:7.