Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Nga Tugaba Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo
“Tukuyita ku mukolo omukulu ennyo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu ogujja okubaawo nga Apuli 3. Abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna bajja kubaawo ku mukolo ogwo era tujja kunnyonnyolwa engeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu. Kano ke kapapula akakuyita era kaliko essaawa n’ekifo omukolo guno we gunaabeera.”
Omunaala gw’Omukuumi Maaki 1
“Nga Apuli 3, tujja kuba tujjukira okufa kwa Yesu. Abantu abamu bajja kubeerawo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwe, kyokka abalala balowooza nti okufa kwa Yesu tekutugasa. Ggwe olowooza okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe bituganyula? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka tulabe Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo. [Soma 1 Abakkolinso 15:22, 26.] Akatabo kano kannyonnyola omuganyulo gwe tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso olw’okuba Yesu yatufiirira.”
Awake! Maaki
“Tubakyaliddeko okubalaga akatabo akayitibwa Awake! ak’omwezi guno [Mulage omutwe oguli kungulu.] Abantu balina endowooza ez’enjawulo ku kibuuzo kino: ‘Ddala Katonda Gyali?’ Olowooza ku bantu abakkiririza mu Katonda n’abo abatamukkiririzaamu, baluwa abalina essuubi ku biseera eby’omu maaso? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka tulabe Katonda ky’atusuubiza. [Soma Zabbuli 37:10, 11.] Akatabo kano koogera ku nsonga nnya eziraga nti Katonda gyali.”