“Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?
1 Ekibuuzo ekyo kibadde mu birowoozo by’abantu okwetooloola ensi yonna. Wadde ng’abantu balina bingi bye batuuseeko mu byasa ebiyise, abantu baweddemu amaanyi kubanga ebizibu ebya bulijjo ebyeraliikirizza abantu okumala enkumi n’enkumi z’emyaka bikyaliwo. (Yobu 14:1; Zab. 90:10) Abantu bayinza kufuna wa obuyambi?
2 Mu mwezi gwa Okitobba ne Noovemba, tujja kuba n’omukisa ogw’enjawulo okuwa baliraanwa baffe eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Mu ngeri ki? Nga tugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36. Eyitibwa “Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?” Mu kitundu ekisooka ekya Okitobba, tujja kugaba magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Awo ate okuva ku Bbalaza, Okitobba 16, okutuuka ku Lw’Okutano, Noovemba 17, tujja kwenyigira mu kugaba Amawulire g’Obwakaba Na. 36. Mu kiseera kya kaweefube oyo, essira tujja kuliteeka ku kugaba Amawulire g’Obwakaba Na. 36 mu nnaku za wiiki. Ku wiikendi, tujja kugigabira wamu ne magazini ezaakafuluma.
3 Oneenyigiramu mu Bujjuvu? Abakadde, abaweereza, ne bapayoniya bajja kwagala okuwoma omutwe mu kaweefube ono, okuva bwe bali mu kifo ekisooka mu mulimu guno. Ababuulizi bakoze enkyukakyuka mu mbeera zaabwe basobole okukola nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogumu oba gyombi egy’okwenyigira mu kaweefube oyo. Abalala bateeseteese okumala ebiseera ebisinga ku bya bulijjo mu buweereza.
4 Abakubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina bayinza okukola ekinene ennyo okukubiriza buli omu mu kibinja kye okwenyigiramu mu bujjuvu mu kugaba Amawulire g’Obwakaba Na. 36. Wayinza okubeerawo ababuulizi abamu abatakyabuulira. Abakadde bateekwa okubakyalira balabe kiki ekiyinza okukolebwa okubayamba. Oboolyawo enteekateeka ziyinza okukolebwa omubuulizi alina obumanyirivu okuwerekerako oyo atakyabuulira mu nnimiro mu mwezi egyo. Ennyanjula ennyangu eya Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 eyinza okuba nga ye yeetaagisa okuyamba ababuulizi abo okuddamu okubuulira.
5 Era guno gujja kuba mukisa mulungi nnyo eri abayizi ba Baibuli abali okumpi okumaliriza akatabo Okumanya era abatuukiriza ebisanyizo eby’okubeera ababuulizi abatali babatize okutandika okwenyigira mu buweereza. Wadde n’abato bayinza okwenyigira mu mulimu guno omulungi.
6 Ennyanjula ennyangu ye yokka eyeetaagisa. Oyinza okugamba:
◼ “Mpaddeyo ebiseera byange okumanyisa obubaka buno obukulu ennyo eri buli maka mu [erinnya ly’ekibuga oba esazza]. Eno ye kopi yo. Nkusaba ogisome.” Kiyinza okuba eky’omuganyulo obutatwala nsawo ng’ogaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36.
7 Enkuŋŋaana ez’Obuweereza bw’Ennimiro Ezitegekeddwa Obulungi: Abakadde bateekwa okukakasa nti enteekateeka ez’okuwa obujulirwa nnungi era zisoboka. Omulabirizi w’obuweereza okusingira ddala alina okukakasa nti ebifo eby’okukolamu nnyumba ku nnyumba n’omukolerwa bizinesi bimala buli omu asobole okwenyigira mu mulimu mu bujjuvu. We kiba kisobose, enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro zirina okutegekebwa buli lunaku lwa wiiki, ku wiikendi, era n’akawungeezi. Enteekateeka ziyinza okukolebwa okusisinkana akawungeezi okusobola okuganyula abasomi, abakozi n’abalala.
8 Eky’Okukolera Abo Be Tutasanze Waka: Ekiruubirirwa kyaffe kwe kwogera n’abantu bangi nga bwe kiba kisobose. Bw’otasanga muntu waka, wandiika endagiriro era oddeyo mu kiseera ekirala eky’olunaku. Bwe kiba nti mu wiiki esembayo eya kaweefube oyo tonnasobola kusanga bannyinimu abo, oyinza okubalekera kopi ya Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 mu kifo abantu abayitawo we batasobola kukalaba. Abakadde bayinza okutegeeza ekibiina okulekera be batasanzeewo awaka kopi ya Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 ku mulundi ogusooka nga bakola mu byalo ne mu bifo omuli ebitundu ebinene eby’okukolamu ebitayinza kumalirizibwa mu kiseera kya kaweefube oyo.
9 Ka Tubeere Banyiikivu! Ebibiina birina okufuba okumaliriza ekitundu kyabwe kyonna eky’okubuuliramu nga kaweefube oyo tannaba kukoma nga Noovemba 17. Ekitundu kyammwe kye mubuuliramu bwe kiba nga kinene nnyo, ababuulizi abamu bayinza okukola omu omu we kiba kisoboka era bwe kiba nga tekiyinza kuvaamu mutawaana. Enteekateeka eno egya kusobozesa okutuukirira bangi abagwanidde nga bwe kinaaba kisobose. Kakasa nti owandiika bonna abaagala okuyiga b’onoosanga.
10 Abakadde balina okulowooza ku magazini meka endala ekibiina ze kijja okwetaaga era baziragirize. Tekyetaagisa kulagiriza Amawulire g’Obwakabaka Na. 36, okuva bwe bujja okuweerezebwa eri buli kibiina. Bapayoniya ab’enjawulo, aba bulijjo, n’abawagizi bajja kufuna kopi 250 buli omu ez’okugaba, ng’ate bo ababuulizi mu kibiina buli omu ajja kuweebwa kopi 50 . N’olwekyo, oli mweteefuteefu era weesunga okwenyigira mu mulimu guno ogw’enjawulo? Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okuyamba baliraanwa baffe bonna okumanya Katonda ky’asuubiza mu biseera eby’omu maaso awo!