Okuyamba Abaasiima Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 Okukulaakulana
1 Mummalirizza okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 obwabaweebwa? Kabuuza ekibuuzo ekituukirawo abantu bonna kye basobola okufumiitirizaako: “Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?” Omwaka 2000 bwe gwali gusembera, waaliwo ebyali bisuubirwa ebitaali bimu ku ekyo olwasa oluppya kye lwandireese. Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 k’ogera ku bimu ku ebyo ebyali bisuubirwa era katujjukiza nti embeera eziri mu nsi teziyinza kutuleetera kusuubira birungi. Olwasa lwokka olunaaleeta emirembe n’obutebenkevu abantu abasinga obungi bye banoonya bwe Bufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi. Obwesige bwe tulina mu Bwakabaka bwe butuleetedde okugabira buli omu gwe tusobodde okutuukirira Amawulire g’Obwakabaka Na. 36.
2 Engeri Gye Baanukuddemu Amawulire g’Obwakabaka: Okugaba Amawulire g’Obwakabaka mu biseera eby’emabega kwatuzzaamu nnyo amaanyi mu mulimu gwaffe. Ku bikwata ku Amawulire g’Obwakabaka Na. 35, ettabi ly’omu Canada lyawandiika: “Kaweefube ono ow’enjawulo yawagirwa n’ebbugumu lingi nnyo ababuulizi ne bapayoniya mu nnimiro, era baafuna ebyokulabirako bingi ebizzaamu amaanyi.” Awatali kubuusabuusa naawe olaze ebbugumu lye limu mu kugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36.
3 Kaweefube ono ow’okugaba Amawulire g’Obwakabaka ategekeddwa okukoma nga Noovemba 17, 2000. Ekitundu kyonna ekyaweebwa ekibiina kyammwe kimaze okukolebwamu? Bwe kitaba bwe kityo, abakadde bayinza okubasaba okwongera mu maaso kaweefube ono okutuukira ddala ku nkomerero ya Noovemba.
4 Abantu baanukudde batya okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 mu kitundu kyammwe? Abantu abamu bajja kujjuzaamu awali endagiriro nga basaba kopi ya brocuwa Atwetaagisa oba okuyigirizibwa Baibuli awaka. Kyokka, abasinga obungi ku abo abaagala okumanya ebisingawo ebikwata ku lwasa omulundi ogusooka, bayinza obutabaako kye bakolawo okutuusa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa azzeeyo. Bonna abaagala okumanya ebisingawo balina okukyalirwa nate. Kiseera ki ekyandibadde ekirungi okukola kino? Okudiŋŋana kulina okukolebwa amangu ddala nga bwe kisoboka.
5 Weetegereze ebyokulabirako bino ebyava mu kuddayo awaalekebwa Amawulire g’Obwakabaka Na. 35. Payoniya omu mu Ireland yalekera nnannyini wooteeri Amawulire g’Obwakabaka. Omukyala oyo yasanyukira nnyo obubaka obwo era n’asaba mwannyinaffe akomewo. Mwannyinaffe yaddayo oluvannyuma lw’enaku bbiri, era n’atandika okumuyigiriza Baibuli. Mu Denmark, kopi ya Amawulire g’Obwakabaka yalekebwa ku nnyumba awatali muntu n’omu. Olunaku olwo lwennyini omukyala eyali abeerawo yaweereza endagiriro gy’ajjuzaamu ku ofiisi y’ettabi, ofiisi nayo n’egiweereza mu kibiina ekiri mu kitundu omukyala gy’abeera. Wiiki bwe yali nga tennaggwaako, bannyinaffe babiri baagendayo, baateekateeka okutandika okumuyigiriza, era omukyala oyo yagenda mu lukuŋŋaana lwe olwasookera ddala mu Kingdom Hall!
6 Ky’Onooyogera ng’Ozzeeyo: Kyangu okuddiŋŋana abo be walekera Amawulire g’Obwakabaka era kitundu ky’obuweereza bwaffe ekisanyusa ennyo. Bw’oba ng’oddayo, kyandibadde kirungi okutwala kopi ya Amawulire g’Obwakabaka Na. 36, kubanga oyinza okusanga nga nnyinimu talina kopi ye. Oyinza okugezaako engeri zino.
7 Oluvannyuma lw’okujjukiza nnyinimu ky’oli, oyinza okugamba:
◼ “Nnakulekera akapapula akaliko omutwe ogugamba nti ‘Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?’ Kyali tekizzaamu maanyi okusoma nti mu kiseera ekitali ky’ewala Obufuzi bwa Kristo Yesu obw’Emyaka Olukumi bujja kutandika, era buleetewo olusuku lwa Katonda ku nsi? [Laga ekifaananyi ky’Olusuku lwa Katonda ekiri ku Amawulire g’Obwakabaka Na. 36.] Ku lupapula olw’emabega, osabibwa okusaba kopi ya brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?” Mulage brocuwa, genda mu ssomo 5, soma ekibuuzo ekisooka n’akatundu 1 ne 2, era osabe nnyinimu abeeko ky’ayogera. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba bibiri. Bwe kiba kisoboka mugende ku kibuuzo ekirala n’akatundu akalala, oluvannyuma teekateeka okuddayo mweyongere okukubaganya ebirowoozo.
8 Okuva eby’okugaba mu Noovemba bwe biri brocuwa “Atwetaagisa” oba ekitabo “Okumanya,” oyinza okugamba:
◼ “Bwe nnakukyalira gye buvuddeko awo, nnakulekera kopi ya ‘Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?’ Erimu enteekateeka y’okuyigirizibwa Baibuli awaka awatali kusasula. Nkomyewo okukulaga ekitabo kye tukozesa mu kusoma. [Mulage brocuwa Atwetaagisa, era genda ku lupapula olw’emabega; oba mulage akatabo Okumanya, era ogende ku mpapula 188-9.] Emyaka Olukumi egyogerwako mu Baibuli gijja kuleeta embeera nga zino z’olaba mu kifaananyi kino. Okusobola okufuna ebisaanyizo okubeera mu Lusuku lwa Katonda, twetaaga okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda. Nkusaba onzikirize nkulage mu bufunze engeri gye tuyigamu Baibuli.”
9 Okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 kutukubiriza okunyiikira mu buweereza, ne kivaamu obujulirwa obw’amaanyi. Kirabika kino kireetedde abantu bangi mu kitundu kyaffe okwagala okumanya ebisingawo. Bwe tukolera awamu okuyamba abasigaza Amawulire g’Obwakabaka okukulaakulana, awamu n’obuyambi bwa Yakuwa, kijja kutuviiramu okufuna abalala abalinga endiga.—Mat. 10:11; Bik. 13:48, 49, 52.