Kwaweefube ow’Okugaba Tulakiti Okuva nga Okitobba 20 Okutuuka nga Noovemba 16!
1 Okuva ku Bbalaza nga Okitobba 20, okumalira ddala wiiki nnya, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okugaba tulakiti empya erina omutwe Wandyagadde Okumanya Amazima? Tusuubira nti kaweefube ono anaabaawo mu nsi yonna ajja kuleetera abantu bangyi okweyongera okwagala Ekigambo kya Katonda, ensibuko yokka ey’amazima.—Yok. 17:17.
2 Tulakiti eno eddamu mu bufunze ebibuuzo ebikulu mukaaga ebikwata ku Baibuli: “Ddala Katonda atufaako?” “Entalo n’okubonaabona biriggwaawo?” “Kiki ekitutuukako bwe tufa?” “Waliwo essuubi lyonna nti abafu baliddamu okuba abalamu?” “Nnyinza kusaba ntya okusobola okuwulirwa Kotonda?” ne “Nnyinza ntya okufuna essanyu mu bulamu?” Amakanisa ga Kristendomu tegawa bya kuddamu bimatiza mu bibuuzo bino. N’abantu abalala bangi abateeyita bagoberezi ba Kristo beebuuza ebibuuzo nga bino. kyokka bayinza okuba nga tebamanyi nti Baibuli ewa eby’okuddamu ebimatiza mu bibuzo ebyo. N’olwekyo, tusuubira nti obubaka obuli mu tulakiti eno bujja kusikirza abantu bangi.
3 Malako Ekitundu Kyo Kyonna: Fuba nga bw’osobola okumalako ekitundu kyonna ky’obuuliramu. Bw’oba ng’olina ekitundu kinene nnyo ky’obuuliramu, abakadde bayinza okukukubiriza okuleka tulakiti eno mu maka g’oba tosanzeemu bantu. Teweerabira kuwa tulakiti eno baliraanwa bo, ab’eŋŋaanda zo, bakozi banno, bayizi banno, awamu n’abantu abalala b’otera okunyumya nabo. Oboolyawo oyinza okukola enteekateeka n’oweeraza nga payoniya omuwagizi mu Okitobba oba mu Noovemba. Olina omwana oba omuyizi wa Baibuli akulaakulana mu by’omwayo era ng’asobola okutuukiriza ebisaanyizo eby’okweereza ng’omubuuliza atali mubatze mu kiseera kya kaweefube ono? Bwe Kiba bwe kityo, tegeeza abakadde.
4 By’Oyinza Okwogera: Okusobola okutuusa obubaka buno eri abantu bangi nga bwe kisoboka, kijja kukwetaagisa okukozesa ennyanjula eri mu bufunze. Oyinza okubuuza nnyinimu ekimu ku bibuuzo omukaaga ebiri ku tulakiti eyo era n’omulaga eby’okuddamu ebigirimu. Kino kijja kusobozesa ababulizi bonna okukyusakyusa mu nnyanjula zaabwe zisobole okutuukana n’ekitundu kye baabuuliramu. Omuntu bw’aba ng’ayagala okumanya ebisingawo, wandiika erinnya lye era ofube okumuddira. Ku Wiikendi, oyinza okugaba tulakiti eno awamu ne magazini ezaakafuluma. Oluvannyuma lwa Noovemba 16, nga ka weefube ono awedde, tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Tulakiti ezinaaba zisigaddewo zijja kukozesebwa mu ngeri y’emu nga bwe tukozesa tulakiti endala.
5 Funa Gw’Oyigiriza Baibuli: Tulakiti eno etegekeddwa n’ekigendererwa eky’okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Bw’oddayo eri oyo eyalaga okusiima, oyinza okumusaba akubuulire amazima ga Baibuli agaamuzzaamu ennyo amaanyi. Oluvannyuma, oyinza okumulaga olupapula olw’emabega olulaga enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Baibuli era n’omuwa akatabo Bibuli Ky’Eyigiriza. Bwe kiba kisoboka, kubaganya naye ebirowoozo mu bufunze ku katundu kamu oba bubiri obuli mu ssuula ennyonnyola obulungi ensonga gy’aba alonze.
6 Yakuwa anoonya abo ab’okumusinza “mu mwoyo n’amazima.” (Yok. 4:23) Ka ffenna twenyigire mu kaweefube ono tusobole okuyamba abalala okumanya amazima!