LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/00 lup. 4
  • Kozesa Tulakiti Okutandika Emboozi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Tulakiti Okutandika Emboozi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • Kozesa Tulakiti Okubunyisa Amawulire Amalungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Tulakiti Zaffe Empya Zisikiriza!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Gikozese Buli lw’Ofuna Akakisa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 1/00 lup. 4

Kozesa Tulakiti Okutandika Emboozi

1 Tokikkiriza nti okuwa obujulirwa obumatiza kyesigama nnyo ku ggwe okutandika emboozi? Okusoomooza kuli mu kwogera ekintu ekinaasikiriza omuntu n’assaayo omwoyo. Naye kino kiyinza kukolebwa kitya mu ngeri ematiza?

2 Ababuulizi bangi bakizudde nti nga bakozesa ebigambo ebitonotono ebisengekeddwa obulungi, okugaba emu ku tulakiti zaffe ezeesigamiziddwa ku Baibuli kiyinza okutandika emboozi. Emitwe egiriko gisikiriza, era n’ebifaananyi ebirimu bisanyusa. Tulakiti tetiisa muntu, ng’emuwa ekifaananyi nti alina eby’okusoma bingi. Wadde kiri kityo, obubaka obumpimpi obuli mu tulakiti bukwasa omubabiro era busobola okukozesebwa okutandika okuyigiriza Baibuli.

3 Omujulirwa omu yagamba bw’ati: “Mu nsi eno ejjudde okukuluusana, abantu tebatera kuwaayo biseera bingi okusoma, naye tulakiti nnene ekimala okuwa obubaka obukulu naye ate si nnene nnyo okutiisa agiraba. Nnasoma tulakiti nnyingi, era oluvannyuma ne njiga amazima.” Togaya maanyi ga Kigambo kya Katonda ekinnyonnyolwa mu bubaka obwo obutonotono, obukubiddwa mu kyapa.​—Beb. 4:12.

4 Emitendera Ena Emyangu: Bangi bafunye ebibala ebirungi nga bakozesa enkola ennyangu. (1) Laga omuntu butulakiti era omubuuze ke yandyagadde. (2) Omuntu bw’amala okulondako kamu, mubuuze ekibuuzo ekitegekeddwa obulungi ekiggyayo ensonga enkulu mu tulakiti. (3) Ng’oddamu ekibuuzo, soma akatundu oba ekyawandiikibwa ekituukirawo okuva mu tulakiti. (4) Bw’awuliriza obulungi, weeyongere okukubaganya naye ebirowoozo ku biri mu tulakiti oba mutwale mu ssomo erimu mu brocuwa Atwetaagisa oba mu ssuula emu mu katabo Okumanya eyogera ebisingawo ku nsonga eyo. Mu ngeri eno osobola okutandika okuyiga naye Baibuli butereevu. Ebirowoozo ebiddako bijja kukuyamba okuteekateeka eby’okwogera ng’okozesa tulakiti nnya.

5 Omutwe gwa tulakiti “Ddala Ani Afuga Ensi?” guyinza okukozesebwa ng’ekibuuzo:

◼ Singa omuntu gw’oyogera naye addamu nti “Katonda” oba nti “simanyi,” soma sentensi ebbiri ezisooka ku lupapula 2 era n’akatundu akasooka ku lupapula 3. Ggumiza 1 Yokaana 5:19 ne Okubikkulirwa 12:9. Omuntu k’abeere ng’abuusabuusa nti Setaani Omulyolyomi gy’ali oba ng’akkiriza nti alina obuyinza ku nsi, oyinza okukozesa ennyinnyonnyola esangibwa wansi w’omutwe “Ebiriwo mu Nsi Bituyamba Okutegeera” okwongera mu maaso emboozi. Bw’alaga nti ayagala okuyiga, munnyonnyole Omulyolyomi gye yava, ng’okozesa ensonga eziri ku lupapula 3 ne 4 eza tulakiti.

6 Tulakiti “Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?” eyinza okusikiriza omuntu okuwuliriza. Oyinza okutandika emboozi ng’obuuza:

◼ “Olowooza tuliddamu okulaba ku baagalwa baffe abaafa?” Omuntu bw’amala okuddamu ekibuuzo, mulage akatundu ak’okubiri ku lupapula 4 olwa tulakiti era osome Yokaana 5:28, 29. Awo munnyonnyole nti kya mugaso okutegeera obubaka obuli wansi w’omutwe omutono ogusooka mu tulakiti eyo. Mugukubaganyeko ebirowoozo.

7 Tulakiti “Nyumirwa Obulamu bw’Amaka” esikiriza ab’omu maka bonna. Ng’ogikozesa, oyinza okugamba:

◼ “Oyinza okukkiriziganya nange nti amaka gali mu kabi leero. Olowooza kiki ekiyinza okukolebwa okunyweza amaka?” Bw’amala okuddamu ekibuuzo, mulage ensonga eziri mu katundu akasooka ku lupapula 6. Londako kimu ku byawandiikibwa ebijuliziddwa ku lupapula 4 ne 5 olwa tulakiti, omunnyonnyole kye kitegeeza. Awo mutegeeze ku nteekateeka ey’okumuyigiriza Baibuli ku bwereere.

8 Tulakiti “Why You Can Trust the Bible” eyinza okukozesebwa n’ennyanjula eno:

◼ “Abantu abasinga obungi baawulira ku Kayini ne Abeeri, aboogerwako mu kitabo kya Baibuli ekisooka. Ekitabo ky’Olubereberye era kyogera ku mukazi wa Kayini. Wali weebuuzizzaako gye yava?” Kozesa akatundu akasembayo ku lupapula 2 olwa tulakiti okumuddamu. Munnyonnyole nti tulakiti eyo era eraga ebintu ebikulu Baibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso. Ng’otandikira ku katundu ak’okusatu ku lupapula 5, weeyongere okubaganya naye ebirowoozo, ng’okozesa ebyawandiikibwa ebirimu.

9 Okugaba tulakiti ezoogera ku Baibuli ngeri nnungi nnyo ey’okubunyisaamu amawulire amalungi ekozeseddwa okumala ebbanga ddene. Olw’okuba nnyangu za kutambula nazo, osobola okuzikozesa obulungi mu mulimu gw’oku nnyumba ku nnyumba era ng’obuulira embagirawo. Tulakiti za mugaso nnyo mu buweereza bwaffe. Beeranga n’ez’ebika eby’enjawulo, era zikozese nnyo okutandika emboozi.​—Bak. 4:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share