Tulakiti Zaffe Empya Zisikiriza!
1. Biki bye twafuna ku lukuŋŋaana olunene eby’okukozesa mu buweereza?
1 Ku lukuŋŋaana olunene olw’omwaka gwa 2013 olwalina omutwe ogugamba nti “Ekigambo kya Katonda Ge Mazima!” twafuna tulakiti empya ttaano. Ate era, twafuna tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38, erina omutwe ogugamba nti, “Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?” Ka tulabe engeri tulakiti ezo gye zaategekebwamu, n’engeri gye tuyinza okuzikozesa nga tubuulira nnyumba ku nnyumba.
2. Tulakiti zaffe empya zaategekebwa zitya?
2 Engeri Gye Zaategekebwamu: Omubuulizi akozesa ennyanjula ennungi akola ebintu bina: (1) Abuuza omuntu ekibuuzo okusobola okufuna endowooza ye. (2) Amusomerayo waakiri ekyawandiikibwa kimu. (3) Amulekera eky’okusoma. (4) Alekawo ekibuuzo ky’anaddamu ku mulundi omulala, era n’akola enteekateeka ey’okumuddira. Tulakiti zaffe empya zaategekebwa mu ngeri etusobozesa okugoberera emitendera egyo.
3. Tuyinza tutya okugaba tulakiti zaffe empya nga tuli mu buweereza?
3 Engeri y’Okuzikozesaamu: (1) Bw’omala okulamusa omuntu, mulage ekibuuzo ekiri kungulu ku tulakiti awamu n’eby’okuddamu era omusabe akuwe endowooza ye. (2) Bikkula tulakiti omulage ekyawandiikibwa ekiri wansi w’omutwe, “Bayibuli ky’Egamba.” Bwe kiba kisoboka, musomere ekyawandiikibwa ekyo butereevu mu Bayibuli. Bw’aba alina ebiseera, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe, “Omuganyulo Oguli mu Kumanya Ekyo.” (3) Muwe tulakiti, era omukubirize okusoma ebirala ebigiriko ng’afunye akadde. (4) Nga tonnavaawo, mulage ekibuuzo ekiri emabega ku tulakiti eyo wansi w’omutwe, “Ky’Oyinza Okulowoozaako” era okole enteekateeka ey’okuddayo okukiddamu.
4. Tuyinza tutya okukozesa emu ku tulakiti zaffe empya mu kuddiŋŋana?
4 Bw’oba ozzeeyo eri omuntu gwe walekera tulakiti, kozesa ebyawandiikibwa ebiri emabega ku tulakiti okuddamu ekibuuzo kye wamulekera. Nga tonnavaawo, mulage akafaananyi ka brocuwa Amawulire Amalungi akali ku tulakiti, gyayo brocuwa eyo omulage essomo eriragiddwa ku tulakiti erinaamuyamba okumanya ebisingawo, era ogimuwe. Bw’agikkiriza, kola enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku ssomo eryo. Mu ngeri eyo oba ofunye omuyizi wa Bayibuli. Oba mu kifo ky’okumuwa brocuwa, oyinza okumuwa tulakiti endala era n’okola enteekateeka ey’okuddayo mugikubaganyeeko ebirowoozo.
5. Tulakiti zituyambye zitya mu buweereza bwaffe?
5 Abajulirwa ba Yakuwa bamaze emyaka egisukka 130 nga bakozesa tulakiti mu buweereza. Wadde nga zizze zikyusibwakyusibwa, zituyambye nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Ka tufube okukozesa tulakiti zino empya okubunyisa amazima agali mu Bayibuli mu nsi yonna.—Nge. 15:7a.