OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri y’Okutandikamu Okwogera n’Abantu nga Tukozesa Tulakiti
Okuva mu Jjanwali 2018, ku lupapula olusooka mu katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kubaddengako bye tuyinza okwogerako mu buweereza. Tuzze tukubirizibwa okutandika okunyumya n’abantu mu kifo ky’okubawa obuwi eky’okusoma. Okusobola okuyamba ababuulizi okukyusakyusa mu nnyanjula zaabwe, wabaddengawo vidiyo eziraga engeri gye tuyinza okutandika okubabuulira omuntu nga tukozesa Bayibuli yokka. Naye ekyo kitegeeza nti tetulina kugaba bya kusoma nga tubuulira nnyumba ku nnyuma? Nedda! Ng’ekyokulabirako, tulakiti zisobola okutuyamba okutandika okwogera n’abantu. Tusobola okukozesa enkola eno wammanga nga tugaba tulakiti:
Buuza omuntu ekibuuzo ekiri kungulu n’eby’okuddamu by’asobola okulondako.
Mulage eky’okuddamu okuva mu Bayibuli ng’okozesa ekyawandiikibwa oba ebyawandiikibwa ebiri waggulu ku lupapula olw’okubiri. Obudde bwe bubaawo, musome era mukubaganye ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri mu tulakiti.
Muwe tulakiti, era omukubirize okusoma ebirala ebigirimu.
Nga tonnagenda, mulage ekibuuzo ekiri wansi w’omutwe, “Ky’Oyinza Okulowoozaako” era okole enteekateeka okukomawo omulage engeri Bayibuli gy’ekiddamu.
Bw’okomawo, mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiddamu ekibuuzo ekyo, era omulekere ekibuuzo ekirala kye munaayogerako omulundi omulala. Oyinza okulonda ekibuuzo okuva ku mukutu gwaffe oba okuva mu katabo akalagiddwa emabega wa tulakiti. Mu kiseera ekituufu, muwe akatabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba akatabo akalala ke tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.