Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 21
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 21
Oluyimba 38 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 30 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 12-15 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 14:23–15:11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu bw’Akugamba nti, ‘Sooka Onsabire Olyoke Ombuulire Obubaka Bwo’—rs-E lup. 295 ¶4-5 (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki kye Tuyigira ku Isaaka ku Bikwata ku Kukuuma Emirembe?—Lub. 26: 19- 22 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Buulira Amawulire Amalungi Awatali Kuddirira. (Bik. 5:42) Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abanyiikivu. Kiki ekibayamba okukulembeza omulimu gw’okubuulira? Biki bye bakola okweteekerateekera okubuulira? Okubuulira kubayambye kutya okuba abanywevu mu by’omwoyo?
Ddak. 10: Empisa Zaffe Ennungi Ziwa Obujulirwa. (1 Peet. 2:12) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2012, olupapula 106, akatundu 1; olupapula 133, akatundu 2; n’olupapula 146, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: “Emiganyulo Egiri mu Kuba n’Ekitundu Ekikyo ku Bubwo eky’Okubuuliramu” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 96 n’Okusaba