LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/13 lup. 1
  • ‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Ba Mumalirivu Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Ba Munyiikivu mu ‘Kuwa Obujulirwa’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Batendekebwa Okuwa Obujulirwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Buulira era Owe Obujulirwa mu Bujjuvu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 1/13 lup. 1

‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’

1. Kyakulabirako ki ekirungi omutume Pawulo kye yatuteerawo?

1 Nga talina kyonna kimulumiriza, omutume Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.” (2 Tim. 4:5) Mu butuufu, wakati w’omwaka gwa 47 ne 56 E.E., Pawulo yatambula eŋŋendo ssatu ez’obuminsani. Emirundi mingi ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga nti Pawulo ‘yawa obujulirwa mu bujjuvu.’ (Bik. 23:11; 28:23) Tuyinza tutya okukola kye kimu leero?

2. Tuyinza tutya okuwa obujulirwa mu bujjuvu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba?

2 Nnyumba ku Nnyumba: Bwe tuba tufuba okutuuka ku abantu be tutatera kusanga waka, kiyinza okutwetaagisa okukyusaamu ekiseera kye tugenderamu mu maka gaabwe. Nnyinimu ayinza okubeera awaka mu biseera eby’akawungeezi oba ku wiikendi. Tusaanidde okufuba okulaba nti tubaako gwe twogera naye mu buli maka n’okuddayo enfunda n’enfunda we tuba tutasanze bantu. Watya singa ofuba okuddayo naye nga tobasangawo? Oyinza okubawandiikira akabaluwa oba okubakubira essimu.

3. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuwa obujulirwa mu bujjuvu?

3 Mu Bifo Ebya Lukale n’Okubuulira Embagirawo: Abaweereza ba Yakuwa babuulira abantu ebigambo ‘eby’amagezi.’ Oluusi babuulira ku ‘nguudo’ oba mu bifo ebya lukale. (Nge. 1:⁠20, 21) Bulijjo tukozesa buli kakisa okuwa obujulirwa? Tumanyiddwa ng’abantu ‘abeemalidde ku kubuulira ekigambo’? (Bik. 18:5) Bwe kiba bwe kityo, tuba tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe ‘obw’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.’​—Bik. 10:42; 17:17; 20:​20, 21, 24.

4. Okusaba n’okufumiitiriza bisobola bitya okutuyamba okuwa obujulirwa mu bujjuvu?

4 Kyokka oluusi, tuyinza okuba n’obunafu gamba ng’ensonyi, ne tutya okuwa obujulirwa. Mu butuufu, Yakuwa ategeera bulungi obunafu bwaffe. (Zab. 103:⁠14) N’olwekyo bwe tuba n’obunafu bwonna, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe obuvumu tusobole okubuulira. (Bik. 4:​29, 31) Ate era, bwe tuba tusoma era nga tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda, kiba kirungi okulowooza ennyo ku miganyulo egiri mu kubuulira amawulire amalungi. (Baf. 3:8) Kino kijja kutukubiriza okubuulira n’obunyiikivu.

5. Obunnabbi bwa Yoweeri obukwata ku mulimu gw’okubuulira butukwatako butya?

5 Nnabbi Yoweeri yalagula nti ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu olw’entiisa terunnatuuka, abantu ba Katonda ‘bandigenze mu maaso’ n’omulimu gw’okubuulira era tebandikkirizza kintu kyonna kubalemesa. (Yo. 2:​2, 7-9) Ka ffenna twenyigire mu bujjuvu mu mulimu guno ogw’okuwa obujulirwa ogutajja kuddibwamu!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share