Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 14
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 14
Oluyimba 63 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 29 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 7-11 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 10:24-42 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Beera Wa Magezi, Weewale Okugoberera Ebitaliimu Nsa—1 Sam. 12:21; Nge. 23:4, 5 (Ddak. 5)
Na. 3: Bintu Ki bye Tuyinza Okusaba?—rs-E lup. 294 4–lup. 295 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Baako ky’Okolawo Okubayamba. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 188, akatundu 4, okutuuka ku lupapula 189, akatundu 4. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi eyakulaakulana olw’okuba abalala baamufangako.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 4:1-11. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 10: “‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu.’” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 92 n’Okusaba