LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/03 lup. 3-4
  • Ba Munyiikivu mu ‘Kuwa Obujulirwa’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ba Munyiikivu mu ‘Kuwa Obujulirwa’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Oli Mwetegefu Okubuulira Embagirawo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Osobola Okuwa Obujulirwa Embagirawo!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Tendereza Yakuwa ng’Obuulira Embagirawo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • ‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 6/03 lup. 3-4

Ba Munyiikivu mu ‘Kuwa Obujulirwa’

1, 2. Kiki ekikusikiriza ku ngeri Pawulo gye yatwalamu okubuulira amawulire amalungi, era tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye ‘eky’okuwa obujulirwa n’obunyiikivu’?

1 Okufaananako Yesu n’abaweereza abalala bangi ab’edda abeesigwa, omutume Pawulo yali mubuulizi omunyiikivu ow’amawulire amalungi, ‘ng’awa obujulirwa’ mu buli mbeera. Ne bwe yali omusibe nga takkirizibwa kuva mu nnyumba, “[ya]sembezanga bonna abajjanga gy’ali, ng’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng’ayigirizanga n’obugumu bwonna ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, n’ataziyizibwanga.”—Bik. 28:16-31.

2 Naffe tusobola okuba abanyiikivu mu ‘kuwa obujulirwa’ ekiseera kyonna. Ekyo kizingiramu okuwa obujulirwa nga tugenda oba nga tuva mu nkuŋŋaana ennene oba mu kibuga mwe ziri.—Bik. 28:23; Zab. 145:10-13.

3. Tuyinza tutya okufuula okubuulira kwaffe okw’embagirawo okuba n’ekigendererwa?

3 Kitegeeza ki Okubuulira Embagirawo? Okubuulira okw’embagirawo si kintu ekigwawo obugwi oba ekikolebwa awatali kigendererwa. Obuweereza bwaffe bulina ekigendererwa. Nga bwe kyali eri Pawulo, okuwa Katonda ekitiibwa nga tuwa obujulirwa kikulu nnyo gye tuli, era twandibadde n’ekigendererwa eky’okuwa obujulirwa buli we tufunira akakisa mu mwaka guno. Naye, engeri gye tutuukiriramu abalala esobola okuyitibwa ey’embagirawo—kubanga tubatuukirira mu mbeera yonna, kyokka ne tubalaga omukwano. Okubuulira mu ngeri eno kuyinza okuvaamu ebibala ebirungi.

4. Kiki ekyasobozesa Pawulo okuwa obujulirwa ng’ali we yabeeranga?

4 Weeteeketeeke Okuwa Obujulirwa: Pawulo yateekawo emikisa asobole okuwa obujulirwa bwe yali omusibe nga takkirizibwa kuva mu nnyumba mu Rooma. Ng’ali we yabeeranga, yakola enteekateeka n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. (Bik. 28:17) Wadde nga waaliwo ekibiina Ekikristaayo mu Rooma, Pawulo yakitegeera nti Abayudaaya abaabeerangamu baali bamanyi kitono nnyo ku bikwata ku nzikiriza z’Ekikristaayo. (Bik. 28:22; Bar. 1:7) N’olwekyo, ‘yawa obujulirwa’ obukwata ku Yesu Kristo n’Obwakabaka bwa Katonda n’obunyiikivu.

5, 6. Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okubuulira embagirawo, era nteekateeka ki ze tuyinza okukola okusobola okutuukiriza kino obulungi?

5 Lowooza ku bantu ab’enjawulo abamanyi ekitono ennyo ku Bajulirwa ba Yakuwa b’oyinza okusanga ng’oli ku ŋŋendo zo. Bayinza n’okuba nga tebamanyi nti tuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere. Beera mwetegefu okukozesa buli kakisa k’ofuna okuwa obujulirwa ng’oli ku lugendo, mu bifo emmotoka we ziyimirira abantu okuwummulamu, ku masundiro g’amafuta, ng’ogula ebintu, mu wooteeri, ng’oli mu mmotoka eza lukale, n’awalala. Teekateeka nga bukyali by’oyinza okwogera okutandika emboozi era n’okuwa obujulirwa obumpimpi. Oboolyawo mu nnaku ezijja mu maaso oyinza okwegezaamu ng’owa obujulirwa obw’embagirawo eri baliraanwa bo, ab’eŋŋanda, b’okola nabo, n’abamanyi.

6 Kijja kukwetaagisa okuba n’ebitabo eby’okukozesa ng’obuulira embagirawo. Bitabo ki ebyetaagisa? Oyinza okukozesa tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? Laga omuntu oyo obutundu obutaano obusooka, obulaga ensonga ez’enjawulo lwaki omuntu yandisomye Baibuli. Mulage akasanduuko akali emabega k’asobola okujjuzaamu bw’aba nga yandyagadde okuyigirizibwa Baibuli. Bw’osanga omuntu ayagala okuyiga, muwe brocuwa Atwetaagisa. Ng’osuubira okusanga abantu aboogera ennimi ez’enjawulo, twala akatabo Good News for All Nations. Olupapula 2 lunnyonnyola engeri y’okukakozesaamu okuwa obujulirwa. Bw’oba ng’otambulidde mu mmotoka, osobola okutwala ebitabo ebirala ebitonotono eby’okuwa abo abasiima obubaka bw’Obwakabaka.

7, 8. Kubuulirira ki okukwata ku ndabika yaffe era n’empisa nga tutambula oba nga tuli mu biseera byaffe eby’eddembe kwe tusaanidde okussaako omwoyo?

7 Faayo ku Ndabika Yo, n’Enneeyisa: Tulina okukakasa nti enneeyisa yaffe, ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako tebijja kuwa balala kifaananyi kibi oba okubaleetera okwogera obubi ku kibiina kya Yakuwa. (Bik. 28:22) Kino tekitukwatako nga tuli mu nkuŋŋaana ennene zokka naye era ne bwe tuba nga tutambula oba nga tuli mu biseera byaffe eby’eddembe. Omunaala gw’Omukuumi aka Agusito 1, 2002, ku lupapula 30, akatundu 14, kaagamba: “Tetwandyambadde olw’okweraga, oba okwambala engoye ezisiikuula okwegomba okubi, eziraga ebitundu by’omubiri ebitalina kulagibwa, oba eziraga obulazi omusono. Okugatta ku ekyo, twandyambadde mu ngeri eraga nti ‘tutya Katonda.’ Ensonga ezo tezituleetera okwekebera? Tekiri nti twandyambadde bulungi nga tuzze mu nkuŋŋaana z’ekibiina [oba mu nkuŋŋaana ennene] ate mu biseera ebirala ne twambala mu ngeri etasaanira. Endabika yaffe buli kiseera yandiraze nti tutya Katonda era ng’emuweesa ekitiibwa kubanga tuli Bakristaayo ekiseera kyonna.”—1 Tim. 2:9, 10.

8 Twandyambaddenga bulungi era mu ngeri eweesa ekitiibwa. Engoye n’empisa zaffe bwe biba nga byoleka nti tukkiririza mu Katonda buli kiseera, tetujja kutya kubuulira mbagirawo olw’okuba tutya okuswala olw’endabika yaffe.—1 Peet. 3:15.

9. Birungi ki ebyava mu kubuulira kwa Pawulo mu Rooma?

9 Okubuulira Embagirawo Kuvaamu Ebibala: Mu myaka ebiri Pawulo gye yamala nga musibe nga takkirizibwa kuva mu nnyumba e Rooma, yalaba ebibala ebyava mu kufuba kwe okw’okubuulira. Lukka yagamba nti “abamu ne bakkiriza bye yayogera.” (Bik. 28:24) Pawulo kennyini yalaga omugaso ‘gw’okuwa obujulirwa’ n’obunyiikivu bwe yawandiika nti: “Ebyambaako byajja lwa kubunya bubunya enjiri; n’okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri [a]basserikale bonna aba kabaka n’abalala bonna; n’ab’oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw’okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya.”—Baf. 1:12-14.

10. Birungi ki ebyava mu kubuulira omugogo gw’abafumbo bye gwafuna omwaka oguwedde?

10 Omwaka oguwedde, oluvannyuma lw’okubeerawo olunaku lwonna mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, omugogo gw’abafumbo gwafuna ebibala olw’okubuulira embagirawo omukozi wa wooteeri eyababuuza ebikwata ku bu baagi bw’olukuŋŋaana olunene bwe baali beetimbye. Baamutegeeza ebikwata ku lukuŋŋaana era n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso Baibuli ly’ewa olulyo lw’omuntu. Baamuwa tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era ne bamutegeeza n’enteekateeka ey’okusoma Baibuli ku bwereere. Omukyala oyo yabategeeza nti ayagala omuntu amukyalire, n’ajjuzaamu endagiriro ye n’erinnya mu kasanduuko akali ku tulakiti, era n’asaba omugogo gw’abafumbo abo okumukolera enteekateeka eyo. Birungi ki by’oyinza okufuna bw’onoonyiikira ‘okuwa obujulirwa’?

11. Ngeri ki ze tulina okukulaakulanya mu kiseera kino eky’olukuŋŋaana okusobola ‘okuwa obujulirwa’?

11 Buulira Amawulire Amalungi n’Obunyiikivu: Teeberezaamu essanyu Pawulo lye yafuna bwe yawulira nti Bakristaayo banne baali bakoppa ekyokulabirako kye eky’obunyiikivu! Ka tukole kyonna kye tusobola okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu nga tuwa obujulirwa obw’embagirawo obukwata ku nzikiriza zaffe ezeesigamiziddwa ku Baibuli, nga bwe tuganyulwa ne mu nkuŋŋaana ennene.

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Ebitabo Ebyetaagisa Okubuulira Embagirawo

■ Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? (tulakiti)

■ Katonda Atwetaagisa Ki? (brocuwa)

■ Good News for All Nations (katabo)

■ Ebitabo ebirala ebyetaagisa

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Tobeerabira!

Baani be tutalina kwerabira? Abo bonna abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo oba ku mboozi ey’enjawulo. Omaze okubaaniriza okubaawo mu lukuŋŋaana olunene? Singa bakubirizibwa, bayinza okubaawo. Okubeera awamu n’ab’oluganda mu lukuŋŋaana olunene awamu ne programu ey’eby’omwoyo ezimba, bijja kubasobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’ekibiina kye. Lwaki tobaaniriza olabe obanga banajja? Bategeeze kalonda yenna gwe beetaga, nga mw’otwalidde n’ennaku z’omwezi, ekifo awanaabeera olukuŋŋaana olunene era n’essaawa olukuŋŋaana ze lunaatandikirako n’enkomerero yaalwo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share