Osobola Okuwa Obujulirwa Embagirawo!
1 Abantu bameka abali mu kibiina kyammwe abaafuna obujulirwa okuyitira mu kubuulira embagirawo? Kiyinza okukwewuunyisa okulaba nti bangi ku mmwe mwabufuna mu ngeri eyo. Okubuulira embagirawo kuzingiramu okubuulira amawulire amalungi eri abantu be tusanga bulijjo—nga tuli ku lugendo, nga tukyaliddeko ab’eŋŋanda zaffe oba baliraanwa, nga tugenze okugula ebintu, ku ssomero, ku mulimu, n’awalala. Abajulirwa abasukka mu 200, 40 ku buli kikumi baafuna obujulirwa okuyitira mu kubuulira embagirawo! N’olwekyo, okubuulira embagirawo kuvaamu emiganyulo.
2 Ababuulizi b’omu kyasa ekyasooka baawanga obujulirwa embagirawo. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ng’ayita mu Samaliya, yawa omukyala eyali asena amazzi ku luzzi lwa Yakobo obujulirwa. (Yok. 4:6-26) Firipo yatandika emboozi n’omukungu Omwesiyopiya eyali asoma ekitabo kya Isaaya ng’amubuuza nti: “Otegeera by’osoma?” (Bik. 8:26-38) Omutume Pawulo bwe yali mu Firipi ng’asibiddwa mu kkomera, yawa omukuumi w’ekkomera obujulirwa. (Bik. 16:23-34) Oluvannyuma, Pawulo bwe yali omusibe nga takkirizibwa kuva mu nnyumba, ‘yayanirizanga n’essanyu abo abajjanga gy’ali, n’ababuulira ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, era n’abayigiriza ebintu ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.’ (Bik. 28:30, 31) Naawe osobola okuwa obujulirwa embagirawo, wadde nga weetya. Ekyo kisoboka kitya?
3 Ebinaakuyamba: Bangi ku ffe tuzibuwalirwa okutandika okunyumya n’abantu be tutamanyi. Era kiyinza okutubeerera ekizibu okuwa abo abatali bakkiriza be tumanyi obujulirwa. Kyokka, singa tufumiitiriza ku bulungi bwa Yakuwa, eby’obugagga eby’eby’omwoyo by’awadde abaweereza be, n’embeera embi abantu gye balimu mu nsi kijja kutuleetera okuwa obujulirwa. (Yon. 4:11; Zab. 40:5; Mat. 13:52) Okugatta ku ekyo, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe ‘okufuna obuvumu.’ (1 Bas. 2:2) Omuyizi omu mu ssomero lya Giriyadi yagamba nti: “Emirundi mingi okusaba kwe kunnyamba bwe mba nga nzibuwaliddwa okwogera n’abantu.” Singa oba otidde okwogera, saba mu kasirise.—Nek. 2:4.
4 Ng’amakulu g’ekigambo embagirawo bwe gali, okubuulira embagirawo tekyetaagisa kutandika na nnyanjula ntegeke oba ekyawandiikibwa. Kiyinza okuba eky’omuganyulo okuba n’ekiruubirirwa eky’okutandika okunyumya n’abantu nga tetubalagiddewo butereevu nti twagala kubawa bujulirwa. Ababuulizi bangi bagamba nti okukola ekyo kibasobozesezza okufuna obuvumu okuwa obujulirwa. Omuntu bw’aba tayagala kunyumya naawe, tekyetaagisa kumuwaliriza wabula komya emboozi ng’oli mukkakkamu.
5 Mwanyinaffe ow’ensonyi bw’aba agenze mu katale, asooka kutunuulira muntu mu maaso nga bw’amwenya. Omuntu oyo naye bw’amwenya, nga mwannyinaffe abaako ky’amugamba. Omuntu oyo bw’alaga nti afuddeyo, mwannyinaffe afuna obuvumu okweyongera okunyumya naye. Awuliriza bulungi asobole okumanya engeri ennungi gy’ayinza okumuwaamu obujulirwa. Mu kukola bw’atyo, asobodde okugaba ebitabo bingi n’okutandika omuyizi wa Baibuli.
6 Engeri y’Okutandikamu Okunyumya n’Omuntu: Kiki kye tuyinza okwogera nga tutandika okunyumya n’omuntu? Yesu yatandika okunyumya n’omukyala eyali azze okusena amazzi ku luzzi ng’amusaba amazzi ag’okunywa. (Yok. 4:7) Oboolyawo tuyinza okutandika okunyumya n’omuntu nga tumulamusa mu ngeri ey’omukwano oba nga tumubuuza ekibuuzo. Nga munyumya oyinza okufuna akakisa okuwa obujulirwa era oboolyawo n’osiga ensigo ey’amazima. (Mub. 11:6) Abamu bakisanze nga kya muganyulo okwogera ku nsonga eneereetera omuntu okubuuza ebibuuzo n’okwagala okumanya ebisingawo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba olinda okulaba omusawo, oyinza okutandika okunyumya n’omuntu ng’ogamba nti, “Nja kubeera musanyufu nnyo ekiseera bwe kinaatuuka n’emba nga sikyalwala.”
7 Okwetegereza obulungi kijja kutuyamba okutandika okunyumya n’abantu. Bwe twetegereza omuzadde alina abaana ab’empisa ennungi, tuyinza okumusiima era ne tumubuuza nti, “Kiki ekikuyambye okukuza abaana bo obulungi?” Mwannyinaffe omu awuliriza bulungi ebintu bakozi banne bye batera okwogerako era n’asinziira ku ebyo okubawa obujulirwa. Bwe yamanya nti omukyala omu gw’akola naye anaatera okufumbirwa, yamuwa Awake! eyogera ku ngeri y’okutegekamu embaga. Kino kyasobozesa mwannyinaffe okwongera okukubaganya ebirowoozo n’omukyala oyo ku Baibuli.
8 Engeri endala gye tuyinza okutandikamu okunyumya n’abantu, kwe kusomera ebitabo byaffe abalala we basobola okutulabira. Ow’oluganda omu abikkula awali ekitundu ekisikiriza mu Watchtower oba Awake! n’atandika okukisoma mu kasirise. Bw’alaba omuntu amuliraanye ng’atunuulira magazini, amubuuza ekibuuzo oba n’abaako ky’ayogera ku kitundu ky’asoma. Kino kitera okumusobozesa okutandika okunyumya n’abantu n’okubawa obujulirwa. Okuteeka ekimu ku bitabo byaffe abalala w’ebayinza okukirabira kiyinza okuleetera abo be tukola nabo oba be tusoma nabo okwagala okumanya ebisingawo era n’okubuuza ebibuuzo.
9 Weeteekereteekere Okubuulira Embagirawo: Olw’okuba ekiseera eky’okubuulira amawulire amalungi kisigaddeyo kitono, kikulu nnyo okweteekerateekera okubuulira embagirawo. Tusaanidde okulowooza ku ekyo kye tusobola okukola ekiyinza okutusobozesa okubuulira embagirawo buli lunaku. Lowooza ku bantu b’osuubira okusanga n’engeri gy’oyinza okutandikamu okunyumya nabo. Tambula ne Baibuli yo era n’ebitabo by’oyinza okuwa abo ababa balaze okusiima.—1 Peet. 3:15.
10 Olw’okubeera abakalabakalaba, ababuulizi bangi bakoze ebintu ebitali bimu okubasobozesa okuwa obujulirwa embagirawo. Mwannyinaffe abeera mu kizimbe ekikuumibwa obutiribiri, akozesa ekifo ekisanyukirwamu okuzannya akazannyo ak’okupanga ebitundu by’ekifaananyi ekirabika obulungi ekiraga obutonde. Abantu bwe bayimirira ne boogera ku kifaananyi ekyo, akozesa akakisa ako okutandika okunyumya nabo n’okubabuulira ebikwata ku kisuubizo kya Baibuli ‘eky’eggulu eriggya n’ensi empya.’ (Kub. 21:1-4) Oyinza okulowooza ku bintu by’oyinza okukola ebinaakusobozesa okuwa obujulirwa embagirawo?
11 Okuddayo eri Abo Abalaze Okusiima: Bw’osanga omuntu n’akuwuliriza, fuba okumuddira. Oyinza okumugamba nti: “Nnyumiddwa nnyo okunyumyako naawe. Wa we nnyinza okukusanga ne tuddamu okwogera?” Ababuulizi abamu bawa abo ababa balaze okusiima endagiriro zaabwe ne namba zaabwe ez’amasimu era ne babagamba nti: “Nnyumiddwa nnyo okunyumyako naawe. Bw’oba nga wandyagadde okumanya ebisingawo, endagiriro n’ennamba yange biibino.” Bw’oba nga gwe kennyini tosobola kumuddira, kola enteekateeka eneesobozesa ekibiina ekimuli okumpi okumuddira ng’ojjuza foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyammwe.
12 Tusaanidde okuteeka ku lipoota zaffe ebiseera bye tumala nga tubuulira embagirawo. N’olwekyo, kakasa nti obaako ne w’owandiika ebiseera ebyo ne bw’oba ng’obuulidde eddakiika ntono olunaku. Lowooza ku kino: Singa buli mubuulizi awa obujulirwa embagirawo okumala eddakiika ttaano buli lunaku, zonna awamu zijja kuba essaawa eziweerera ddala obukadde 17 buli mwezi!
13 Waliwo ensonga enkulu ezituleetera okubuulira embagirawo—okwagala Katonda ne muliraanwa. (Mat. 22:37-39) Okusiima engeri za Yakuwa n’ebigendererwa bye kituleetera okwogera ebikwata ku “kitiibwa eky’obukulu bw’obwakabaka bwe.” (Zab. 145:7, 10-12) Okufaayo ennyo ku baliraanwa kituleetera okukozesa buli kakisa ke tufuna okubabuulira amawulire amalungi ng’ekiseera kikyaliyo. (Bar. 10:13, 14) Bwe tweteekateeka, ffenna tusobola okuwa obujulirwa embagirawo era oboolyawo ne tufuna essanyu olw’okuyamba ab’emitima emirungi okufuna amazima.
[Ebibuuzo]
1. (a) Okubuulira embagirawo kitegeeza ki? (b) Bameka ku mmwe abaliwo mu lukuŋŋaana luno abaafuna obujulirwa embagirawo?
2. Byakulabirako ki eby’omu Byawandiikibwa ebikwata ku kuwa obujulirwa embagirawo?
3. Kiki ekinaatuyamba obutatya?
4. Kiruubirirwa ki kye tuyinza okweteerawo, era lwaki?
5. Kiki ekiyamba mwannyinaffe ow’ensonyi okuwa obujulirwa embagirawo?
6. Tuyinza tutya okutandika okunyumya n’abantu nga tubuulira embagirawo?
7. Okwetegereza obulungi kinaatuyamba kitya okuwa obujulirwa embagirawo?
8. Tuyinza tutya okukozesa ebitabo byaffe okutandika okunyumya n’abantu?
9, 10. (a) Tuyinza tutya okweteekerateekera okuwa obujulirwa embagirawo? (b) Kino osobodde otya okukikola?
11. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuddira omuntu aba alaze okusiima nga tubuulira embagirawo?
12. (a) Lwaki twandifubye okuwandiika ebiseera byonna bye tuba tumaze nga tubuulira embagirawo era ne tubiteeka ku lipoota zaffe? (b) Birungi ki ebivudde mu kubuulira embagirawo? (laba akasanduuko “Okubuulira Embagirawo Kuvaamu Ebirungi!”)
13. Kiki ekinaatuleetera okuwa obujulirwa embagirawo?
[Obugambo obwogera ku kifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Kiyinza okuba eky’omuganyulo okuba n’ekiruubirirwa eky’okutandika okunyumya n’abantu be tuba tusanze
[Obugambo obwogera ku kifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Olw’okubeera abakalabakalaba, ababuulizi bangi bakoze ebintu ebitali bimu okubasobozesa okuwa obujulirwa embagirawo
[Obugambo obwogera ku kifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Amagezi Aganaakuyamba Okutandika Okunyumya n’Abantu
◼ Saba Yakuwa akuyambe
◼ Yogera n’oyo alabika ng’omwangu era atali mu bwangu
◼ Tunuulira omuntu mu maaso, ssaako akamwenyumwenyu, era yogera ku kintu ekibakwatako mwembi
◼ Beera muwuliriza mulungi
[Obugambo obwogera ku kifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Okubuulira Embagirawo Kuvaamu Ebirungi!
• Ow’oluganda omu bwe yali mu galagi ng’alindirira emmotoka ye okuddaabirizibwa, yawa abo abaaliwo obupapula obubayita okujja okuwuliriza okwogera kwa bonna. Nga wayiseewo omwaka gumu, bwe yali ku lukuŋŋaana olunene, ow’oluganda gw’atateegeererawo yajja n’amulamusa n’essanyu. Ye yali omu ku basajja be yawa obupapula ng’ali ku galagi omwaka ogwayita! Omusajja oyo yagenda okuwuliriza okwogera kwa bonna era n’awaayo erinnya lye okusomesebwa Baibuli, era kati ye ne mukyala we baabatizibwa.
• Mwannyinaffe omu eyayiga amazima okuyitira mu kubuulira embagirawo atwala abantu baba asisinkanye nga bali n’abaana be abasatu okuba ekitundu kye eky’okubuuliramu. Mu abo b’abuulira muzingiramu baliraanwa n’abazadde b’asanga ku ssomero ne mu nkuŋŋaana z’abazadde. Buli lw’amala okweyanjula, ayogera nti Baibuli y’emuyambye okukuza obulungi abaana be, oluvannyuma n’ayogera ku nsonga endala. Olw’okuba aba amaze okutandika emboozi, kimwanguyira okubabuulira ebikwata ku Baibuli. Ng’akozesa enkola eno, ayambye abantu 12 okutuuka ku kubatizibwa.
• Mwannyinaffe omu bwe yakyalirwa omukozi mu kitongole kya yinsuwa, yakozesa akakisa ako okumuwa obujulirwa. Mwannyinaffe yamubuuza oba nga yandyagadde okufuna yinsuwa ey’obulamu obulungi, obw’essanyu era obutaggwaawo. Omusajja yamuddamu nti yee era n’amubuuza yinsuwa ya ngeri ki gye yali ayogerako. Mwannyinaffe yamulaga ebisuubizo ebiri mu Baibuli era n’amuwa ekimu ku bitabo byaffe, n’akisoma n’akimalako ku olwo. Baakola enteekateeka ey’okuyiga Baibuli, yatandika okugenda mu nkuŋŋaana, era oluvannyuma yabatizibwa.
• Mwannyinaffe omu bwe yali mu nnyonyi, yatandika okwogera n’omukyala eyali amuliraanye era n’amuwa obujulirwa. Nga batuuse gye baali balaga, mwannyinaffe yawa omukyala oyo endagiriro ye ne nnamba ye ey’essimu era n’amukubiriza okusaba ayigirizibwe Baibuli ng’Abajulirwa ba Yakuwa bazzeemu okumusisinkana. Ku lunaku olwaddako, bannyinaffe babiri bakonkona ku luggi lwe. Omukyala yatandika okuyiga Baibuli, yakola enkyukakyuka ez’amangu, yabatizibwa era waayita akaseera katono n’afuna abayizi ba Baibuli basatu.
• Ow’oluganda omu muzibe ow’emyaka 100 abeera mu kifo awalabirirwa abateesobola atera okugamba nti, “Twetaaga Obwakabaka.” Kino kireetedde abasawo n’abalwadde okumubuuza ebibuuzo ekimusobozesezza okubannyonnyola ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omu ku bakyala abakola mu kifo ekyo yamubuuza ky’anaakola ng’ali mu Lusuku lwa Katonda. N’amuddamu nti: “Nja kuddamu okulaba, okutambula, era akagaali k’abalema kwe ntambulira nja kukookya.” Olw’okuba talaba, asaba omukyala oyo okumusomera magazini. Muwala w’ow’oluganda oyo bwe yajja okukyalira kitaawe omukyala oyo n’amusaba olukusa atwale magazini ezo ewuwe. Omu ku basawo yagamba muwala w’ow’oluganda nti: “Mu kifo kino tulina eŋŋombo empya egamba nti: ‘Twetaaga Obwakabaka.’”
• Mwannyinaffe eyali asimbye mu lunyiriri mu kifo awatundirwa emmere, yawulira akabinja k’abasajja abakulu abaali batudde okumpi awo nga bakaayana ku nsonga z’eby’obufuzi. Omusajja omu yagamba nti gavumenti tesobola kugonjoola bizibu byaffe. Mwannyinaffe yagamba mu mutima gwe nti, ‘kano ke kakisa ke nfunye.’ Yasaba mu kasirise era n’abatuukirira. Ng’amaze okweyanjula gye bali yababuulira ku gavumenti ejja okugonjoola ebizibu by’abantu bonna, Obwakabaka bwa Katonda, era n’abawa brocuwa gye yalina. Nga yaakamala okwogera nabo maneja yajja we baali. Mwannyinaffe yalowooza nti maneja yali agenda kumugobawo. Mu kifo ky’ekyo, maneja yamugamba nti abadde awuliriza era nti naye yandyagadde brocuwa eyo. Omukyala omu ku bakozi naye eyali awuliriza yatuukirira mwannyinaffe ng’amaziga gamuyitamu. Yali yasomako n’Abajulirwa ba Yakuwa era nga yali ayagala okuddamu okuyiga Baibuli.