Tendereza Yakuwa ng’Obuulira Embagirawo
1 Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa beeyambisa buli kakisa konna okumutendereza buli lunaku. (Zab. 96:2, 3; Beb. 13:15) Engeri emu gye tuyinza okukolamu kino, kwe kubuulira embagirawo. Abasinza ba Yakuwa bangi leero basanyufu nti waliwo eyabatuusaako obubaka bw’Obwakabaka ng’ababuulira embagirawo.
2 Emirundi mingi, okubuulira omuntu embagirawo kisobozesa abalala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka. Ng’ekyokulabirako, Yesu bye yanyumya n’omukazi Omusamaliya ku luzzi lwa Yakobo byaleetera bangi okwagala okuwulira amawulire amalungi. (Yok. 4:6-30, 39-42) Bwe baali basibiddwa mu kkomera e Firipi, Pawulo ne Siira baawa omukuumi w’ekkomera obujulirwa, era ab’omu maka ge bonna bakkiriza amazima.—Bik. 16:25-34.
3 Buli Kakisa: Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okubuulira embagirawo? Abamu bakikola nga bagenze okugula ebintu, oba nga bakozesa entambula eya lukale, oba nga balinda omusawo. Abamu bakozesa ekiseera eky’okuwummulamu ku mulimu, oba ku ssomero. Okuteeka ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli abalala we bayinza okubirabira, kiyinza okubaleetera okubuuza ebikwata ku nzikiriza zaffe.—1 Peet. 3:15.
4 Engeri gy’Oyinza Okutandikamu: Omuwala ow’emyaka omusanvu nga wa nsonyi, yawulira mu lukuŋŋaana nti kikulu nnyo ffenna okubuulira. N’olwekyo, bwe yali agenda ne maama we okugula ebintu, yateeka brocuwa bbiri mu nsawo ye. Maama we bwe yali ng’ali ku mmeeza awasasulirwa ssente, omuwala oyo yawa omukyala omu brocuwa, era n’agikkiriza. Bwe yabuuzibwa gye yajja obuvumu okutuukirira omukyala oyo, omuwala ono ow’ensonyi yaddamu nti: “Nnagamba mu mutima gwange nti, Oli mwetegefu? Genda! Era ne ŋŋenda!”
5 Okusobola okuwa obujulirwa embagirawo, twetaaga obumalirivu ng’obw’omuwala ono omuto. Kiki ekiyinza okutuyamba? Saba ofune obuvumu okusobola okwogera. (1 Bas. 2:2) Tegeka ekibuuzo oba eky’okwogera ku mutwe ogusikiriza gw’osobola okukozesa okutandika okunyumya n’omuntu. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa okufuba kwo omukisa.—Luk. 12:11, 12.
6 Okubuulira embagirawo abantu be tusanga buli lunaku kuleetera Yakuwa ettendo era kutuwa essanyu. Kuyinza okuyamba abamu okudda mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.