Tuli Bajulirwa Ekiseera Kyonna
1. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu eky’okubuulira omukazi ku luzzi?
1 Yesu yali atambudde okumala essaawa eziwerako. Yali akooye era nga n’ennyonta emuluma. Ng’abayigirizwa be bagenze okugula emmere, yatuula ku luzzi olwali ebweru w’ekibuga ky’Abasamaliya asobole okuwummulako. Yesu yali tagenze Samaliya kubuulira; yali ayitawo buyisi ng’agenda e Ggaliraaya asobole okweyongera mu maaso n’obuweereza bwe. Wadde kyali kityo, yakozesa akakisa ako okubuulira omukazi eyali azze okukima amazzi. (Yok. 4:5-14) Lwaki? Kubanga Yesu yali ‘mujulirwa wa Yakuwa omwesigwa era ow’amazima’ ekiseera kyonna. (Kub. 3:14) Bwe tubeera Abajulirwa ba Yakuwa ekiseera kyonna tuba tukoppa Yesu.—1 Peet. 2:21.
2. Tuyinza tutya okweteekerateekera okubuulira embagirawo?
2 Weeteeketeeke: Tusobola okubuulira embagirawo singa tutambula n’ebitabo. Ababuulizi bangi batambula ne tulakiti era ne baziwa abatunda mu madduuka, abakola ku masundiro g’amafuta, n’abalala be basanga. (Mub. 11:6) Mwannyinaffe atera okutambula eŋŋendo empanvu, akakasa nti buli kiseera abeera ne ka Baibuli akatono n’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu kasawo ke, era afuba okutandika okunyumya n’abo ababa batudde okumpi naye.
3. Tuyinza tutya okutandika okunyumya n’omuntu?
3 Tandika Okwogera n’Omuntu: Bwe tuba tubuulira embagirawo, tetulina kutandikirawo nga twogera ku nsonga eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Yesu bwe yali atandika okwogera n’omukazi ku luzzi teyamweyanjulira nti ye Masiya. Yamusaba busabi mazzi ga kunywa, era ekyo kyaleetera omukazi oyo okubaako ky’abuuza Yesu. (Yok. 4:7-9) Mwannyinaffe omu agamba nti enkola efaananako bw’etyo emusobozesa okutandika okunyumya n’abantu bwe bamubuuza obanga akuza ennaku enkulu. Mu kifo ky’okubaddamu nti tazikuza kubanga ye Mujulirwa wa Yakuwa, agamba nti, “Nneesalirawo nze kennyini obutakuza nnaku ezo.” Oyo aba ayagala okumanya ebisingawo amubuuza ensonga lwaki tazikuza, era ekyo kisobozesa mwannyinaffe oyo okuwa obujulirwa.
4. Lwaki ebyo ebiri mu Matayo 28:18-20 bikuzaamu amaanyi?
4 Wadde nga Yesu yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi, akyafaayo nnyo ku mulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero. (Mat. 28:18-20) N’olwekyo, okufaananako Yesu eyatuteerawo ekyokulabirako, tuli Bajulirwa abeetegefu okwatula okukkiriza kwaffe mu lujjudde ekiseera kyonna.—Beb. 10:23.