LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 12/15 lup. 16-20
  • Ba Mumalirivu Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ba Mumalirivu Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yawa Obujulirwa mu Bujjuvu!
  • Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu Leero
  • Ebivaamu Oluusi Tetubimanya
  • ‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Batendekebwa Okuwa Obujulirwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ba Munyiikivu mu ‘Kuwa Obujulirwa’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Sigala ng’Otunula ng’Abatume bwe Baakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 12/15 lup. 16-20

Ba Mumalirivu Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu

“Yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.”​—BIK. 10:42, NW.

1. Mulimu ki ogwalagirwa Peetero gwe yayogerako ng’ali ewa Koluneeriyo?

LUMU omuserikale Omuyitale yayita ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye ne bakuŋŋaanira mu maka ge, era ku olwo wajjawo enkukakyuka mu nkolagana ya Katonda n’abantu. Omusajja oyo eyali atya Katonda yali Koluneeriyo. Omutume Peetero yagamba abo abaali bakuŋŋaanye nti abatume baalagirwa “okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu” ku Yesu. Obujulirwa Peetero bwe yawa bwavaamu ebirungi bingi. Ab’amawanga abatali bakomole baafuna omwoyo gwa Katonda, baabatizibwa, era baafuna essuubi ery’okufuga ne Yesu nga bakabaka mu ggulu. Ebyavaamu nga Peetero awadde obujulirwa mu bujjuvu nga byali birungi!​—Bik. 10:22, 34-48.

2. Tumanya tutya nti abatume 12 si be bokka abaalagirwa okuwa obujulirwa?

2 Ekyo kyaliwo mu 36 E.E. Emyaka ng’ebiri emabegako, waliwo omulabe lukulwe ow’Obukristaayo eyali akoze enkyukakyuka mu bulamu bwe. Sawulo ow’e Taluso bwe yali agenda e Damasiko, Yesu yamulabikira n’amugamba nti: ‘Yingira mu kibuga, era ojja kubuulirwa ky’ogwanidde okukola.’ Yesu yategeeza omuyigirizwa Ananiya nti Sawulo yali agenda kuwa obujulirwa eri “amawanga, ne bakabaka n’abaana ba Isiraeri.” (Soma Ebikolwa 9:3-6, 13-20.) Ananiya yagamba Sawulo nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze kubanga ogenda kuba mujulirwa we eri abantu bonna.’ (Bik. 22:12-16) Omulimu ogwo ogw’okuwa obujulirwa, Sawulo, oluvannyuma eyayitibwa Pawulo, yagutwala atya?

Yawa Obujulirwa mu Bujjuvu!

3. (a) Kiki kye tugenda okwetegereza? (b) Abakadde b’omu Efeso baakola ki nga bafunye obubaka okuva eri Pawulo, era baateekawo kyakulabirako ki ekirungi?

3 Kirungi okwekenneenya ebintu byonna Pawulo bye yakola okuva olwo, naye ka twetegerezeeko ebyo bye yayogera awo nga 56 E.E., ebisangibwa mu Ebikolwa essuula 20. Ebigambo ebyo Pawulo yabyogera anaatera okufundikira olugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu. Yali Mireeto ku mwalo gw’Ennyanja Aegean ng’atumizza abakadde b’ekibiina ky’e Efeso. Efeso kyali kyesudde mayiro nga 30 okuva awo, naye olugendo lwali luwanvuko kubanga okusobola okutuukayo omuntu yabanga alina okwetooloola. Teebereza engeri abakadde b’omu Efeso gye baasanyukamu nga bawulidde nti Pawulo yali abatumizza. (Geraageranya Engero 10:28.) Wadde kyali kityo, baalina okukola enteekateeka basobole okugenda e Mireeto. Oboolyawo abamu baalina okuyimiriza emirimu gyabwe oba okugira nga baggalawo bizineesi zaabwe. Abakristaayo bangi leero bwe batyo bwe bakola okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezibaawo buli mwaka.

4. Pawulo yakolanga ki mu kiseera we yabeerera mu Efeso?

4 Olowooza Pawulo yali akola ki mu Mireeto mu nnaku essatu oba ennya ze yamala ng’alindirira abakadde abo okutuuka? Gwe kiki kye wandikoze? (Geraageranya Ebikolwa 17:16, 17.) Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo bya Pawulo eri abakadde b’omu Efeso. Yannyonnyola engeri gye yali atambuzizzaamu obulamu bwe okumala emyaka mingi, ng’omwo mwe mwali n’ekiseera kye yamala mu Efeso. (Soma Ebikolwa 20:18-21.) Olw’okuba yali amanyi nti ky’ayogera kituufu, yagamba: ‘Mmwe mumanyi nti okuva ku lunaku lwe nnalinnya mu Asiya nnawa obujulirwa mu bujjuvu.’ Yee, yali mumalirivu okukola omulimu Yesu gwe yali amuwadde. Omulimu ogwo yagukola atya bwe yali mu Efeso? Yagendanga mu bifo awali Abayudaaya abangi n’awa obujulirwa. Lukka agamba nti Pawulo bwe yali mu Efeso awo nga mu 52-55 E.E., ‘yayogera n’obuvumu era yasendasenda’ abo abaali mu kkuŋŋaaniro. Abayudaaya bwe ‘baatandika okukakanyala ne batawuliriza,’ Pawulo yabavaako n’agenda mu kifo ekirala mu kibuga ekyo n’abuulira abantu abalala. Bw’atyo yasobola okuwa obujulirwa eri Abayudaaya n’Abayonaani abaali mu kibuga ekyo ekyali ekinene.​—Bik. 19:1, 8, 9.

5, 6. Tumanya tutya nti mu kugenda nnyumba ku nnyumba, Pawulo yali abuulira batali bakkiriza?

5 Abamu ku abo abaafuuka Abakristaayo oluvannyuma baafuuka abakadde, era beebo Pawulo be yayogera nabo e Mireeto. Yabajjukiza engeri ye ey’okubuulira: “Saalekayo kubabuulira bintu bya muganyulo oba okubayigiriza mu lujjudde n’okuva nnyumba ku nnyumba.” Abamu bagamba nti wano Pawulo yali ayogera ku kukyalira abo abaali abakkiriza. Naye ekyo si kituufu. Ebigambo ‘okuyigiriza mu lujjudde n’okuva nnyumba ku nnyumba’ biraga nti okusingira ddala yali ayogera ku kubuulira abo abataali bakkiriza. Ekyo kyeyoleka bulungi mu bigambo bye ebiddako, w’agambira nti yawa obujulirwa eri ‘Abayudaaya n’Abayonaani beenenye badde eri Katonda era bakkiririze mu Mukama waffe Yesu.’ Kyeyoleka bulungi nti obujulirwa Pawulo yabuwa abo abataali bakkiriza, abaalina okwenenya n’okukkiririza mu Yesu.​—Bik. 20:20, 21, NW.

6 Omwekenneenya omu ow’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani yayogera bw’ati ku Ebikolwa 20:20: “Pawulo yali amaze emyaka essatu mu Efeso. Yakyalira buli nnyumba, oba yabuulira abantu bonna (olunyiriri 26). Buno bukakafu obulaga nti okubuulira nnyumba ku nnyumba ne mu nkuŋŋaana kya mu byawandiikibwa.” Ka kibe nti yakyalira buli nnyumba ng’omwekkenneenya oyo bw’agamba, oba nedda, Pawulo yali tayagala bakadde ba mu Efeso kwerabira ngeri gye yali awaddemu obujulirwa n’ebirungi ebyali bivuddemu. Lukka yagamba: “Bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n’Abayonaani.” (Bik. 19:10) Naye abantu b’omu Asiya “bonna” bajja batya okuwulira obubaka, era kino kiraga ki ku mulimu gwaffe ogw’okuwa obujulirwa?

7. Obubaka bwa Pawulo bulabika bwatuuka butya ku bantu be yali tabuulidde?

7 Olw’okuba Pawulo yabuulira mu bifo eby’olukale ne nnyumba ku nnyumba, bangi baawulira obubaka bwe. Naye olowooza abantu bonna be yabuulira baasigala omwo mu Efeso tebaagendako walala wonna kukola bizineesi, kulaba ku baŋŋanda, oba kuwummulako bave mu kayisanyo k’ekibuga? Nedda. Ne leero, bangi bagenda mu bitundu ebitali bimu olw’ensonga ng’ezo; oboolyawo naawe oli omu ku bo. Ate era mu biseera ebyo, abantu baavanga nnyo mu bitundu ebirala ne bagenda mu Efeso okukola bizineesi oba ebintu ebirala. Nga bali eyo, bayinza okuba baasisinkana Pawulo oba baamuwulira ng’awa obujulirwa. Baakolanga ki nga bazzeeyo ewaabwe? Abo abaabanga bakkirizza amazima baawanga obujulirwa. Abalala abataafuuka bakkiriza bayinza okuba nga baayogera ku bye baabanga bawulidde nga bali mu Efeso. Kirabika eyo ye ngeri ab’eŋŋanda, baliraanwa, n’abantu abalala gye baawuliramu obubaka obwo, era osanga abamu baabukkiriza. (Geraageranya Makko 5:14.) Okusinziira ku bye tulabye, kiki ekiyinza okuvaamu bw’owa obujulirwa mu bujjuvu?

8. Abantu b’omu Asiya bandiba nga baafuna batya obujulirwa?

8 Ng’ayogera ku kiseera kye yamala ng’abuulira mu Efeso, Pawulo yagamba nti ‘oluggi olunene era olw’emirimu emingi lwamuggulirwawo.’ (1 Kol. 16:8, 9) Luggi ki olwo olwamuggulirwawo, era lwamuggulirwawo mu ngeri ki? Pawulo yeeyongera okubuulira mu Efeso ne kiviirako amawulire amalungi okusaasaana. Lowooza ku bibuga nga Kkolosaayi, Lawodikiya, ne Kiyerapoli, ebyali mundako okuva e Efeso. Wadde nga Pawulo teyatuukayo, amawulire amalungi gaatuukayo. Epafuloddito yali ava mu kitundu ekyo. (Bak. 2:1; 4:12, 13) Kyandiba nti Epafuloddito okufuuka Omukristaayo yamala kuwulira Pawulo ng’awa obujulirwa mu Efeso? Ekyo Baibuli tekyogerako. Naye Epafuloddito mu kuwa obujulirwa mu kitundu ky’ewaabwe ayinza okuba nga yali akiikirira Pawulo. (Bak. 1:7) Era obubaka bw’Ekikristaayo bwandiba nga bwatuuka mu Firaderufiya, Saadi, ne Suwatira mu kiseera Pawulo we yaweera obujulirwa mu Efeso.

9. (a) Kiki Pawulo kye yali asinga okutwala ng’ekikulu? (b) Ekyawandiikibwa eky’omwaka 2009 kye kiruwa?

9 N’olwekyo, abakadde b’omu Efeso baalina kwe basinziira okukkiriza ebigambo bya Pawulo bino: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita ntuukiriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” Mu lunyiriri olwo mwe muva ekyawandiikibwa ky’omwaka 2009: ‘Buulira Amawulire Amalungi mu Bujjuvu.’​—Bik. 20:24, NW.

Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu Leero

10. Tumanya tutya nti naffe tulina okuwa obujulirwa mu bujjuvu?

10 Ekiragiro ‘ky’okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu’ tekyaweebwa batume bokka. Bwe yazuukizibwa, Yesu yayogera n’abayigirizwa be nga 500 abaali bakuŋŋaanidde e Ggaliraaya n’abalagira nti: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” Ekiragiro ekyo kitwaliramu Abakristaayo bonna ab’amazima leero, ng’ebigambo bya Yesu bino bwe biraga: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”​—Mat. 28:19, 20.

11. Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa lwa kukola mulimu ki omukulu?

11 Abakristaayo abanyiikivu na kati bagondera ekiragiro ekyo nga bafuba “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.” Engeri enkulu gye bakikolamu y’eyo Pawulo gye yayogerako ng’ali n’abakadde b’omu Efeso​—okubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu kitabo ekyafulumizibwa mu 2007 ekyogera mu mulimu gw’obuminsani, David G. Stewart, Jr., yagamba nti: “Enkola y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’okuyamba abantu kinnoomu okuyiga okubuulira esingira wala nnyo eyo ey’okwogera obwogezi [ng’osinziira ku bituuti]. Eky’okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe Abajulirwa ba Yakuwa bangi bakitwala nga kintu kikulu.” Biki ebivuddemu? Agamba nti: “Mu 1999, abantu nga 3 ku buli 100 be nnayogerako nabo mu bibuga bibiri eby’omu Bulaaya ow’Ebuvanjuba be bokka abaali batuukiriddwako ab’enzikiriza y’aba Latter-day Saints oba abaminsani ‘Abamomoni.’ Abantu abasukka mu 70 ku buli kikumi baagamba nti baali batuukiriddwako Abajulirwa ba Yakuwa, oluusi emirundi egiwera.”

12. (a) Lwaki tutuukirira abantu mu maka gaabwe “emirundi egiwera”? (b) Waayo ekyokulabirako eky’omuntu eyakyusa endowooza ye ku bubaka bwaffe?

12 Oyinza okwesanga nga bwe kityo bwe kiri ne mu kitundu gy’obeera. Era oyinza okuba nga naawe kennyini okoze kinene mu mulimu guno. Ebbanga ly’omaze ‘ng’otuukirira’ abantu nnyumba ku nnyumba, oteekwa okuba ng’oyogedde n’abasajja, abakazi n’abavubuka bangi ddala. Oyinza n’okuba ng’abamu wabatuukirira “emirundi egiwera” ne batawuliriza. Oboolyawo abalala baakukkiriza n’obasomerayo Ekyawandiikibwa oba n’obaako ky’obannyonnyola okuva mu Baibuli. Ate abalala wabawa obujulirwa ne babukkiriza. Ebyo bye bimu ku bibaawo nga ‘tuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.’ Bangi twayogera nabo “emirundi egiwera” ne batalaga kusiima, kyokka oluvannyuma ne bakyusa endowooza yaabwe. Oboolyawo waliwo ekyabatuukako, oba ekyatuuka ku baagalwa baabwe, ne kibaleetera okwagala okuyiga amazima. Naye kati we twogerera baafuuka ba luganda. N’olwekyo toggwamu maanyi, k’obe ng’omaze ekiseera nga b’obuulira tebawuliriza. Tetusuubira nti buli gwe tubuulira ajja kujja mu mazima. Naye Katonda atusuubira okweyongera okuwa obujulirwa mu bujjuvu.

Ebivaamu Oluusi Tetubimanya

13. Obujulirwa bwe tuwa buyinza butya okuvaamu ebibala ne tutabimanya?

13 Obujulirwa bwa Pawulo tebwaganyula abo bokka be yayamba okufuuka Abakristaayo era ne leero bwe kityo bwe kiri. Tufuba okubuulira nnyumba ku nnyumba tusobole okutuusa obujulirwa ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Tutuusa amawulire amalungi ku baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, ne ku b’eŋŋanda zaffe. Naye ebimu ku bivaamu tuyinza obutabimanya. Abantu abamu balagirawo nti basiimye obubaka bwaffe. Ate abalala batwala ekiseera ng’ensigo z’amazima tezinnamera mu mitima gyabwe. Kyokka ne bwe ziba nga tezimeze, bayinza okwogerako n’abalala ku bye tubabuulidde, bye tukkiriza, ne ku ngeri gye tweyisaamu. Yee, oluusi baddira ensigo ezo ne bazisimba ku ttaka eddungi nga tebakigenderedde.

14, 15. Biki ebyava mu bujulirwa obwaweebwa ow’oluganda omu?

14 Lowooza ku Ryan ne mukazi we, Mandi, ababeera e Florida, mu Amerika. Ng’ali ku mulimu gy’akola, Ryan yawa mukozi munne obujulirwa. Ennyambala ya Ryan n’engeri gye yannyonnyolangamu ebintu yasanyusa nnyo omusajja oyo eyali ow’enzikiriza y’Abahindu. Bwe baabanga banyumya, Ryan yayogeranga ku bintu ng’okuzuukira n’embeera y’abafu. Lumu akawungeezi mu mwezi gwa Jjanwali, omusajja oyo yabuuza mukazi we, Jodi, obanga yali alina ky’amanyi ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mukazi we oyo eyali Omukatuliki yagamba nti kye yali abamanyiko kyokka kwe kuba nti babuulira “nnyumba ku nnyumba.” Jodi yasalawo okugenda ku Internet anoonyereze ku Bajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma yagwa ku mukutu gwabwe oguyitibwa www.watchtower.org. Okumala emyezi ng’esatu, Jodi yasoma ebintu bingi ku mukutu ogwo, nga mu byo mwe mwali ne Baibuli.

15 Nga wayise ekiseera, Jodi yasisinkana Mandi eyali nnansi munne. Mandi yali musanyufu okuddamu ebibuuzo Jodi bye yamubuuza. Baayogera ku bintu bingi era okusinziira ku Jodi, baaviira ddala ku “Adamu ne batuuka ku Kalumagedoni.” Jodi yakkiriza okuyiga Baibuli era mu bbanga ttono yali atandise okugenda mu nkuŋŋaana. Yafuuka omubuulizi atali mubatize mu Okitobba, era n’abatizibwa mu Febwali. Agamba nti: “Ndi mu musanyufu nnyo era ndi mumativu olw’okuba kati mmanyi amazima.”

16. Ekyokulabirako ky’ow’oluganda ow’omu Florida kituyigiriza ki ku kuwa obujulirwa mu bujjuvu?

16 Ryan teyakirowoozaako nti obujulirwa bwe yawa omuntu omu bwali bujja kuyamba omulala okuyiga amazima. Ekirungi kiri nti ye yamanya ebyava mu kuba nti ‘yawa obujulirwa mu bujjuvu.’ Naye ggwe oyinza obutakimanya nti waliwo abalala abaayiga amazima okuyitira mu bujulirwa bwe wawa omuntu mu maka agamu, ku mulimu, ku ssomero, oba awalala wonna. Nga Pawulo bw’ataamanya buli kirungi ekyava mu bujulirwa bwe yawa mu “Asiya,” naawe oyinza obutamanya buli kirungi ekivudde mu kuba nti owadde obujulirwa mu bujjuvu. (Soma Ebikolwa 23:11; 28:23.) Naye kikulu nnyo okunyiikira okukikola.

17. Oli mumalirivu kukola ki mu 2009?

17 Mu 2009, ka ffenna tufube okulaba nti tuwa obujulirwa nnyumba ku nnyumba ne mu ngeri endala zonna. Bwe tunaakola tutyo, tujja kuba nga Pawulo eyagamba nti: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita ntuukiriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.”

Wandizzeemu Otya?

• Omutume Peetero, Pawulo n’abalala ab’omu kyasa ekyasooka baawa batya obujulirwa mu bujjuvu?

• Lwaki tuyinza obutamanya buli kirungi ekiva mu bujulirwa bwe tuwa?

• Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2009 kye kiruwa, era olowooza lwaki kituukirawo?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 19]

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2009 kigamba: ‘Buulira amawulire amalungi mu bujjuvu.’​—Bik. 20:24, NW.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Abakadde b’omu Efeso baali bakimanyi bulungi nti Pawulo yawanga obujulirwa nnyumba ku nnyumba

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Bw’ofuba okuwa obujulirwa mu bujjuvu kiyinza kuvaamu ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share