Oluyimba 38
Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa
Printed Edition
1. Tega okutu Yakuwa,
Mbeere nze nga nkuzuula.
Wulira essaala yange;
Onnyambe nneme kutya.
(CHORUS)
Omugugu gwo gukwase
Yakuwa, ’kuyambenga.
Tayinza kukwabulira;
Ajja kukuwagira.
2. Singa nze nnali ng’ejjiba,
Nnandibuuse ne ŋŋenda,
Ne nviira abanjiganya,
Era ’batanjagala.
(CHORUS)
Omugugu gwo gukwase
Yakuwa, ’kuyambenga.
Tayinza kukwabulira;
Ajja kukuwagira.
3. Nja kukoowoola Yakuwa,
Nfune obukuumi bwe.
Awa ’bawoombeefu bonna,
Amaanyi n’emirembe.
(CHORUS)
Omugugu gwo gukwase
Yakuwa, ’kuyambenga.
Tayinza kukwabulira;
Ajja kukuwagira.
(Era laba Zab. 22:5; 31:1-24.)