Oluyimba 16
Wettanire Obwakabaka bwa Katonda!
1. Mmwe abateefu, munoonye Yakuwa;
Munoonyenga obutuukirivu.
Olwo, ku lunaku lw’obusungu bwe
Musobole ’kukwekebwa.
(CHORUS)
Wettanire Obwakabaka bwe;
Nywerera ku nfuga ye.
Onooba n’emikisa gya Katonda;
Mugondere mu bwangu.
2. Mujje abayayaanira ’mazima;
Lwaki mwongera kuba mu nnaku?
Kati munoonye ’kkubo lya Katonda,
Nga mugonderanga Yesu.
(CHORUS)
Wettanire Obwakabaka bwe;
Nywerera ku nfuga ye.
Onooba n’emikisa gya Katonda;
Mugondere mu bwangu.
3. Muyimuse ’mitwe gyammwe n’essanyu.
Laba Obwakabaka butuuse!
Mwanirize ’musana gwa Yakuwa,
Era ye ggwe muba mutya!
(CHORUS)
Wettanire Obwakabaka bwe;
Nywerera ku nfuga ye.
Onooba n’emikisa gya Katonda;
Mugondere mu bwangu.
(Era laba Zab. 59:16; Nge. 18:10; 1 Kol. 16:13.)