OLUYIMBA 126
Tunula, Beeranga wa Maanyi
Printed Edition
1. Tunula, beera wa maanyi,
Era gumiikiriza.
Yolekanga obuvumu.
Obuwanguzi bujja.
Yesu ffenna gwe tugondera,
Era ye gwe tugoberera.
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
2. Tunula, ba bulindaala.
Beeranga muwulize.
’Bulagirizi bwa Kristo
Buyita mu muddu we.
Wulirizanga abakadde
Abalabirir’e ndiga ze.
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
3. Tunula, kuuma obumu,
Olwanirire ’njiri.
Wadd’o jja kuziyizibwa,
Ggwe toggwangamu maanyi.
Yongera ’kugirangirira;
’Lunaku lwa Yakuwa lujja.
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
(Laba ne Mat. 24:13; Beb. 13:7, 17; 1 Peet. 5:8.)