Ennimiro Zituuse Okukungula
1. Mulimu ki omukulu ennyo ogukolebwa leero?
1 Ng’amaze okuwa omukyala Omusamaliya obujulirwa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Muyimuse amaaso gammwe mulabe ennimiro; zituuse okukungula.” (Yok. 4:35, 36) Amakungula ag’eby’omwoyo gaali gatandise, era Yesu yali asobola okulagula nti omulimu guno gwali gugenda kukolebwa mu nsi yonna. Ng’asinziira mu kifo ky’alimu mu ggulu, Yesu akyakolera wamu naffe omulimu guno ogw’amakungula. (Mat. 28:19, 20) Biki ebiraga nti omulimu guno gweyongera okukolebwa ng’ekiseera eky’okugumaliriza kigenda kisembera?
2. Biki ebituukiddwako ebiraga nti omulimu gw’amakungula gweyongedde okukolebwa?
2 Amakungula mu Nsi Yonna: Mu mwaka gw’obuweereza 2009, waaliwo okweyongerayongera kwa babuulizi 3.2 ku buli kikumi mu nsi yonna. Mu nsi ezitali zimu omulimu gwaffe gye guwerebwa waaliyo okweyongerayongera kwa bitundu 14 ku buli kikumi. Omuwendo gw’abantu abaayigirizibwa Baibuli buli mwezi gweyongerera ddala ne gutuuka mu 7,619,000—omuwendo guno gusinga ogw’ababuulizi era kumpi abayizi ng’emitwalo ataano be beeyongerako bw’ogeraageranya n’omwaka ogwayita. Ng’omulimu guno gugenda gweyongera okugaziwa mu bitundu bingi, bangi basaba baweebwe abaminsani abatendekeddwa mu Ssomero lya Giriyadi. Mu bitundu omuli abantu aboogera ennimi engwira mu nsi ezitali zimu, muvaamu ebibala bingi. Kyeyoleka kaati nti Yakuwa ayanguyaako omulimu guno ng’amakungula ganaatera okukomekkerezebwa. (Is. 60:22) Olina endowooza ennuŋŋamu ku “nnimiro” yo?
3. Abamu bayinza kuba na ndowooza ki ku mulimu gw’amakungula mu kitundu kyabwe?
3 Amakungula mu Kitundu Kyo: Abamu bayinza okugamba nti, “Ekitundu kyange kye mbuuliramu tekivaamu nnyo bibala.” Kyo kituufu nti ebitundu ebimu birabika ng’ebitavaamu bibala bingi nga bwe byalinga edda oba bw’obigeraageranya n’ebitundu ebirala. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa abamu bayinza okukitwala nti amakungula gatuuse ku ntikko mu bintu ebyo era nti tewali kinene nnyo kye bayinza kukola okuggyako okulonderera abo abatono ennyo abasigaddemu. Ddala bwe kityo bwe kiri?
4. Ndowooza ki ennuŋŋamu gye tusaanidde okuba nayo ku buweereza bwaffe, era lwaki?
4 Okuva ku ntandikwa y’amakungula okutuuka ku nkomerero yaago, kiba kiseera kya kukola na bunyiikivu. Weetegereze nti obunyiikivu bwetaagisa nga bwe kiragibwa mu bigambo bya Yesu bino: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Mat. 9:37, 38) Yakuwa, Nnannyini makungula, y’avunaanyizibwa ku ddi na wa awanaava ebibala. (Yok. 6:44; 1 Kol. 3:6-8) Buvunaanyizibwa ki bwe tulina? Baibuli eddamu: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo.” (Mub. 11:4-6) Yee, ng’amakungula ganaatera okukomekkerezebwa si kye kiseera okuddiriza omukono gwaffe!
5. Lwaki tusaanidde okweyongera okubuulira n’obunyiikivu mu kitundu ekirabika ng’ekitavaamu bibala?
5 Weeyongere Okukungula: Wadde ng’ekitundu kyaffe kikoleddwamu enfunda n’enfunda era ng’abantu be tubuulira balabika ng’abatafaayo, waliwo ensonga ennungi etuleetera okukola n’obunyiikivu era nga tumanyi nti ekiseera ekisigaddeyo kitono. (2 Tim. 4:2) Ebizibu ebigwawo obugwi bireetera abantu okukyusa endowooza yaabwe n’okulowooza ennyo ku biseera byabwe eby’omu maaso. Ng’abavubuka bagenda bakula, bayinza okuwulira nti beetaaga okufuna obukuumi n’emirembe mu mutima. Ate era abalala bayinza okusikirizibwa olw’obunyiikivu bwaffe. Yee, abo abaagaana okutuwuliriza mu biseera eby’emabega bayinza okutuwuliriza nga tuzzeeyo okubakyalira. N’abo abagaana obubaka bwaffe mu bugenderevu beetaaga okulabulwa.—Ez. 2:4, 5; 3:19.
6. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu mu kitundu omuli abantu abatayagala kutuwuliriza?
6 Singa ekitundu kyaffe kibaamu abantu abatayagala kutuwuliriza, kiki ekinaatuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu? Ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba, oboolyawo tuyinza okukozesa engeri endala gamba ng’okubuulira mu bifo awakolerwa bizineesi oba nga tukozesa essimu. Oba tuyinza okukyusakyusa mu nnyanjula zaffe. Tuyinza okukyusa mu nteekateeka yaffe ne twenyigira mu buweereza olw’eggulo oba mu biseera ebirala abantu we babeerera awaka. Oboolyawo tuyinza okusalawo okuyiga olulimi olulala tusobole okubuulira abantu bangi amawulire amalungi. Embeera yaffe eyinza okuba ng’etusobozesa okugaziya obuweereza bwaffe ne tuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Oba tuyinza okugenda mu kifo awali abakunguzi abatono. Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku makungula, tujja kukola n’obunyiikivu omulimu guno omukulu ennyo.
7. Omulimu guno ogw’amakungula gunaakolebwa kutuusa ddi?
7 Abalimi baba n’ekiseera kitono nga bakungula ebirime byabwe, n’olwekyo tebawummula okutuusiza ddala nga bamalirizza. Amakungula ag’eby’omwoyo nago geetaaga obunyiikivu bwe bumu. Omulimu guno ogw’amakungula gunaakolebwa kutuusa ddi? Gulina okukolebwa mu kiseera kino ‘eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu’ n’okutuusiza ddala ku ‘nkomerero.’ (Mat. 24:14; 28:20) Okufaananako Omuweereza wa Yakuwa omukulu, naffe twagala okumaliriza omulimu gwaffe ogwatuweebwa. (Yok. 4:34; 17:4) N’olwekyo, ka tweyongere okukola omulimu guno n’obunyiikivu, n’essanyu, era tube n’endowooza ennuŋŋamu okutuusiza ddala ku nkomerero. (Mat. 24:13) Amakungula tegannaggwa!
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 2]
Okuva ku ntandikwa y’amakungula okutuuka ku nkomerero yaago, kiba kiseera kya kukola na bunyiikivu