Mubeere Abakunguzi Abasanyufu!
“Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w’eby’okukungula, asindike abakozi mu by’okukungula bye.”—MATAYO 9:37, 38.
1. Kiki ekituyamba okweyongera okukola Katonda by’ayagala?
BWE tujjukira olunaku lwe twabatizibwa ng’omu ku baweereza ba Yakuwa, ka kibe nti kyaliwo emyaka mitono oba mingi egiyise, kiyinza okulabika ng’ekyaliwo jjojjo wano. Okutendereza Yakuwa kyafuuka ekintu ekisingirayo ddala obukulu mu bulamu bwaffe bwe twewaayo gyali. Olw’okuba twegulira ebbanga okuyamba abalala okuwulira era oboolyawo n’okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka, okuweereza Yakuwa n’essanyu kye kyali ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. (Abaefeso 5:15, 16) Mu kiseera kino, ebiseera bigenda mangu bwe tuba nga tulina ‘bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 15:58, NW) Wadde nga twolekagana n’ebizibu, essanyu lye tufuna mu kukola Yakuwa by’ayagala lituleetera okweyongera okukola omulimu gwe.—Nekkemiya 8:10.
2. Kiki ekituyamba okufuna essanyu mu mulimu gw’okukungula ogw’akabonero?
2 Ng’Abakristaayo, twenyigidde mu mulimu gw’okukungula ogw’akabonero. Yesu Kristo yageraageranya omulimu gw’okukuŋŋaanya abantu okufuna obulamu obutaggwaawo ku kukungula. (Yokaana 4:35-38) Okuva bwe twenyigidde mu mulimu ogwo ogw’okukungula, kijja kutuzzaamu amaanyi bwe tulowooza ku ssanyu abakunguzi Abakristaayo abaasooka lye baafuna. Tujja kwekenneenya ensonga ssatu ezituyamba okufuna essanyu leero mu mulimu gw’okukungula. Ensonga ezo ze zino (1) Obubaka bwaffe obuwa essuubi, (2) Obuwanguzi bwe tutuseeko mu kunoonya abantu, ne (3) Embeera ey’emirembe gye tulina ng’abakunguzi.
Batumiddwa ng’Abakunguzi
3. Kiki ekyaleetera abagoberezi ba Yesu abasooka essanyu?
3 Obulamu bw’abakunguzi abaasooka nnaddala obw’abatume ba Yesu 11 abeesigwa, bwakyuka nnyo mu mwaka 33 C.E, bwe baagenda ku lusozi e Ggaliraaya okusisinkana Kristo eyali azuukidde! (Matayo 28:16) Mu kiseera ekyo ‘ab’oluganda abasukka mu bitaano,’ bayinza okuba nga baaliwo. (1 Abakkolinso 15:6) Buli kiseera bajjukiranga omulimu Yesu gwe yali abawadde. Yabagamba: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.” (Matayo. 28:19, 20) Wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi, baafuna essanyu lingi nnyo mu mulimu gw’okukungula nnaddala bwe baalaba ng’ebibiina by’abagoberezi ba Kristo bitandikibwawo mu buli kifo. Nga wayiseewo ekiseera, ‘amawulire amalungi gaali gabuulirwa mu buli kifo ekiri wansi w’eggulu.’—Abakkolosaayi 1:23; Ebikolwa 1:8; 16:5.
4. Mbeera ki eyaliwo Yesu we yatumira abayigirizwa be?
4 Mu nnaku ezasooka mu buweereza bwe nga ali e Ggaliraaya, Yesu yayita abayigirizwa be 12 n’abatuma balangirire: “Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Matayo 10:1-7) Ye kennyini yali amaze ‘okugenda mu bibuga byonna ne mu byalo bye Ggaliraaya, ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’awonya endwadde zonna n’obunafu bwonna.’ Yesu yasaasira ebibiina “kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:35, 36) Bwe yakwatibwako ennyo, n’alyoka agamba abayigirizwa be: “Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omukulu w’eby’okukungula [Yakuwa Katonda], asindike abakozi mu by’okukungula bye.” (Matayo 9:37, 38) Obwetaavu bw’abakungunguzi Yesu bwe yalaba, bwali bwe bumu n’obwali mu Buyudaaya bwe waali nga wabulayo emyezi mukaaga gyokka amalirize omulimu gwe ogw’oku nsi. (Lukka 10:2) Ku mirundi gyo gyombi ebyo, Yesu yatuma abagoberezi be okugenda bakole ng’abakunguzi.—Matayo 10:5; Lukka 10:3.
Obubaka Bwaffe Obuwa Essuubi
5. Bubaka bwa ngeri ki bwe tulangirira?
5 Ng’abaweereza ba Yakuwa ab’ekiseera kino, twanukula n’essanyu omulanga ogw’okukola ng’abakunguzi. Ensonga emu enkulu etuyamba okufuna essanyu ery’ekitalo, eri nti tutwalira abantu abanakuwavu n’abenyamivu obubaka obubawa essuubi. Okufaananako abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka, nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okulangirira amawulire amalungi agawa essuubi erya nnamaddala eri abo ‘abakooye ennyo era abasaasaanye ng’endiga ezitalina musumba’!
6. Mulimu ki abatume gwe beenyigiramu mu kyasa ekyasooka?
6 Mu massekati g’ekyasa ekyasooka, omutume Pawulo yali anyiikidde okubuulira amawulire amalungi. Era omulimu gwe ogw’okukungula gwali gugenda bulungi, kubanga bwe yawandiikira Abakristaayo ab’e Kkolinso awo nga mu mwaka gwa 55 C.E., yagamba: ‘Kale mbategeeza, ab’oluganda, amawulire amalungi ge nnababuulira, era ge mwaweebwa, era ge munywereramu.’ (1 Abakkolinso 15:1) Abatume n’Abakristaayo abalala abaasooka baali bakunguzi banyiikivu. Wadde nga Baibuli tetutegeeza batume bameka abaawonawo mu kiseera Yerusaalemi lwe kyazikirizibwa mu mwaka gwe 70 C.E., tukimanyi nti omutume Yokaana yeeyongera okubuulira okumala emyaka emirala 25 oluvannyuma lw’okuzikiriza okwo.—Okubikkulirwa 1:9.
7, 8. Bubaka ki obuwa essuubi abaweereza ba Yakuwa bwe balangirira n’obunyiikivu okusinga bwe kyali kibadde?
7 Awo ate ne wajjawo ebyasa abakulembeze ba Kristendomu, abayitibwa kyewaggula era ‘omuntu omujeemu’ we baabeerera n’obuyinza obungi ennyo. (2 Abasessaloniika 2:3) Kyokka, ku nkomerero y’ekyasa kye 19, abo abaali bafuba ennyo okugoberera enjigiriza z’Ekikristaayo ezaasooka, bakkiriza obubaka obuwa essuubi, era ne balangirira Obwakabaka. Mu butuufu, okuviira ddala ku lufulumya olwasooka olwa magazini eno (Jjulaayi 1879), omutwe gwa magazini eno gubaddemu ebigambo “Alangirira Okubeerawo kwa Kristo,” “Alangirira Obwakabaka bwa Kristo” oba “Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa.”
8 Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bwassibwa wansi w’obuyinza bwa Kristo mu mwaka 1914, era kati tulangirira n’obunyiikivu obubaka obuwa essuubi okusinga nga bwe kyali kibadde. Lwaki? Kubanga mu mikisa emingi eginaaleetebwa obufuzi bw’Obwakabaka obwo, mulimu enkomerero y’omulembe guno omubi enaatera okutuuka. (Danyeri 2:44) Bubaka ki obulala obwandibadde businga obwo obulungi? Era ssanyu ki ery’ekitalo lye twandibadde tufuna erisinga eryo eriva mu kwenyigira mu kulangirira Obwakabaka nga “ekibonyoobonyo ekinene” tekinnatuuka?—Matayo 24:21; Makko 13:10.
Obuwanguzi Bwe Tutuuseeko mu Kunoonya Abantu
9. Bulagirizi ki Yesu bwe yawa abayigirizwa be, era abantu baayanukula batya obubaka bw’Obwakabaka?
9 Ensonga endala etuyamba okufuna essanyu ng’abakunguzi, bwe buwanguzi bwe tutuukako nga tunoonya abo abanaafuuka abayigirizwa era ne batwegattako mu mulimu gw’okukungula. Mu mwaka 31-32 C.E., Yesu yalagira abayigirizwa be: ‘Buli kibuga kye munaayingirangamu, munoonyeengamu omuntu bw’ali agwanira.’ (Matayo 10:11, NW) Okusinziira ku ngeri abantu gye baayanukulangamu obubaka bw’Obwakabaka yalaga nti bonna baali tebagwanira. Wadde kyali kityo, abayigirizwa ba Yesu baabuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu mu buli kifo abantu gye baabeeranga.
10. Pawulo yanoonya atya abo abaali bagwanira?
10 Oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira kwa Yesu, okunoonya abaali bagwanira kweyongera mu maaso n’amaanyi mangi. Pawulo yakubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu makuŋŋaaniro gaabwe era n’abantu abalala abaalinga mu katale ak’omu Asene. Bwe yabuulira mu Aleyopaago mu kibuga ekyo, ‘abasajja abamu baamwegattako era ne bafuuka abakkiriza. Mu bo mwalimu Diyonusiyo, omulamuzi mu kkooti y’Aleyopaago n’omukazi ayitibwa Damali, era n’abalala abaali naye.’ Buli Pawulo gye yalaganga, yassaayo ekyokulabirako ekirungi eky’okubuulira ‘mu lujjudde ne nnyumba ku nnyumba.’—Ebikolwa 17:17, 34; 20:20.
11. Ngeri ki ez’okubuulira ezaakozesebwa emyaka mingi egiyiseewo?
11 Mu makumi g’emyaka egyasembayo mu kyasa eky’e 19, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baanyiikira okunoonya abagwanira. Mu katundu akaaliko omutwe “Bafukiddwako Amafuta Okubuulira,” Zion’s Watch Tower aka Jjulaayi ne Agusito 1881 kaagamba: “Amawulire amalungi . . . gabuulirwa ‘abawombeefu,’ abo abaagala era abasobola okuwulira, kisobozese okufuna abo abanaabeera abasika awamu ne Kristo.” Abakozi ba Katonda ab’eby’okukungula baateranga okusanga abantu nga bava mu makanisa ne babawa tulakiti ezaalingamu obubaka okuva mu Byawandiikibwa, nga butegekeddwa okuyamba abagwanira okubaako kye bakolawo. Oluvannyuma lw’okwekenneenya emiganyulo egiri mu ngeri eyo ey’okubuulira, magazini Watch Tower aka Maayi 15, 1903, kaakubiriza abakunguzi okugaba tulakiti “nnyumba ku nnyumba buli lwa Ssande olweggulo.”
12. Tugaziyizza tutya omulimu gwaffe ogw’okubuulira? Nnyonnyola.
12 Mu myaka mitono egyakayita, tugaziyizza obuweereza bwaffe okusobola otutuukirira abantu mu bifo yonna gye bayinza okusangibwa so si mu maka gaabwe wokka. Ekyo kikoze bulungi nnyo nnaddala mu nsi abantu gye batabeera waka olw’embeera y’eby’enfuna oba olw’okuba baba bagenze okwesanyusaamu mu kiseera kye tugenderako mu maka gaabwe. Omujulirwa omu ne munne mu Bungereza bwe baalaba abagenyi nga buli kiseera balinya bbaasi okuddayo oluvannyuma lw’okwesanyusaamu ku lubalama lw’ennyanja, baafuna obuvumu ne balinnya baasi ne bagabira abasaabaze kopi za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Mu mwezi gumu gwokka, baagaba kopi 229. Bagamba: “Tetutya kubuulira ku lubalama lw’ennyanja, mu bifo abantu gye bakolera, oba ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo kubanga tumanyi nti buli kiseera Yakuwa aba naffe.” Baafuna abantu be batwalira magazini buli kiseera, baatandika okubayigiriza Baibuli, era bombi beenyigidde mu buweereza nga bapayoniya abawagizi.
13. Nkyukakyuka ki mu buweereza bwaffe kati eyeetaagisa mu bifo ebimu?
13 Ng’okunoonya abagwanira kweyongera mu maaso, kiyinza okutwetaagisa okwekenneenya obuweereza bwaffe mu bifo ebimu. Wadde ng’ababuulizi bangi bulijjo beenyigira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba ku Ssande ku makya, bakisanze nga si kirungi okugenda mu maka agamu ng’obudde bukyali bwa ku makya nnyo. Oluvannyuma lw’okukola enkyukakyuka mu ntegeka zaabwe, Abajulirwa bangi kati banoonya abo abagwanira mu biseera eby’emisaana, oboolyawo oluvannyuma lw’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Era okunoonyereza ng’okwo kuvuddemu ebibala ebirungi bingi. Omwaka oguwedde omuwendo gw’abalangirizi b’Obwakabaka mu nsi yonna gweyongera obutundu 2.3 ku buli kikumi. Kino kiweesa ekitiibwa Omukulu w’eby’okukungula era kituleetera essanyu mu mitima gyaffe.
Kuuma Emirembe mu Mulimu gw’Okukungula
14. Obubaka bwaffe tubutuusa ku bantu nga tulina ndowooza ki era lwaki?
14 Ensonga endala etuleetera essanyu, ekwataganyizibwa n’embeera ey’emirembe gye twoleka nga tuli mu mulimu gw’okukungula. Yesu yagamba ‘bwe munaayingiranga mu nju, mulamusenga nnyinimu; nnyinimu bw’abanga agwana, emirembe gyammwe gijjenga ku ye.’ (Matayo 10:12, 13) Okulamusa okw’Ekiyudaaya n’ekigambo ekikifaanana mu Luyonaani olwakozesebwa mu Baibuli, bitegeeza ekintu kye kimu nti ‘Beera bulungi.’ Endowooza eyo etulaga engeri gye tusaana okutuukiriramu abantu nga tubuulira amawulire amalungi. Tusuubira nti bajja kwanukula obubaka bw’Obwakabaka. Abo abanaayanukula, balina essuubi ery’okutabagana ne Katonda singa beenenya ebibi byabwe, ne bakyuka, era ne bakola ky’ayagala. Ku nkomerero, emirembe gye balina ne Katonda gijja kubaviirako okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 17:3; Ebikolwa 3:19; 13:38, 48; 2 Abakkolinso 5:18-20.
15. Tuyinza tutya okukuuma emirembe singa abantu tebasiima mulimu gwaffe ogw’okubuulira?
15 Tuyinza tutya okukuuma emirembe gyaffe singa abantu tebakkiriza bye tubabuulira? Yesu yagamba: ‘Enju bw’eba nga tegwana, emirembe gyammwe giddenga gye muli.’ (Matayo 10:13) Lukka bye yawandiika ebikwata ku kutuma abayigirizwa 70, bizingiramu ebigambo bya Yesu: “Oba nga mulimu omwana w’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli.” (Lukka 10:6) Bwe tutuukirira abantu n’amawulire amalungi, tukikola n’essanyu era n’emirembe. Nnyinimu bw’ateefiirayo, bwe yeemulugunya oba bw’addamu mu ngeri etali ya kisa, ekyo kiba kireetera emirembe gyaffe ‘okutuddira’. Naye tewaliwo kintu kyonna ku ebyo ekiyinza okutumalako emirembe, ekibala eky’omwoyo gwa Yakuwa.—Abaggalatiya 5:22, 23.
Ekiruubirirwa ky’Abakunguzi Ekirungi
16, 17. (a) Tuba na kiruubirirwa ki bwe tuddiŋŋana abantu? (b) Tuyinza tutya okuyamba abo ababa n’ebibuuzo okuva mu Baibuli?
16 Ng’abakunguzi, tulina essanyu olw’okwenyigira mu mulimu gw’okukuŋŋaanya abantu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Era nga kituleetera essanyu lya nsusso omuntu bw’asiima bye tubuulira, bw’ayagala okuyiga ebisingawo, era n’afuuka “omwana w’emirembe”! Oboolyawo alina ebibuuzo bingi okuva mu Baibuli kyokka nga tetusobola kubiddamu byonna mu lukyala olumu. Nga bwe kitali kirungi okulwa ennyo mu maka g’omuntu omulundi ogusooka, kiki ekiyinza okukolebwa? Tuyinza okubeera n’ekiruubirirwa ekyasembebwa emyaka 60 egiyise.
17 “Abajulirwa ba Yakuwa bonna basaanidde okubeera abeetegefu okuyigiriza abantu Baibuli.” Ebigambo ebyo byali mu katabo ak’okusatu ku obwo obwali buyitibwa Model Study obwalingamu obulagirizi bw’okuyigiriza Baibuli era nga bwakubibwa okuva mu mwaka 1937 okutuuka 1941. K’eyongera okugamba: “Ababuulizi [b’Obwakabaka] bonna basaanidde okunyiikira okuyamba abantu abagwanira era abaagala okumanya ebisingawo ku bubaka bw’Obwakabaka mu buli ngeri yonna esoboka. Abantu abo balina okudiŋŋanwa, ebibuuzo byabwe okuddibwamu . . . , era n’oluvannyuma okutandika okuyiga nabo . . . amangu ddala nga bwe kisoboka.” Yee, ekiruubirirwa kyaffe mu kuddiŋŋana kwe kutandika okuyigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe obutayosa.a Okwagala n’okufaayo ku muntu ayagala amazima bituleetera okutegeka obulungi era n’okumuyigiriza obulungi.
18. Tuyinza tutya okuyamba abappya okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo?
18 Nga tukozesa akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ne brocuwa nga Katonda Atwetaagisa Ki?, tusobola okuyigiriza obulungi abantu Baibuli mu maka gaabwe era mu ngeri eyo tusobola okwenyigira mu kuyamba abappya abaagala amazima okufuuka abayigirizwa. Bwe tufuba okukoppa Omuyigiriza Omukulu Yesu Kristo, kya lwatu, abayizi ba Baibuli nabo bajja kuyiga engeri zaffe ez’emirembe, ez’essanyu, ez’obwesimbu n’ez’okussa ekitiibwa mu mitindo n’obulagirizi bwa Yakuwa. Bwe tuba tuyamba abappya nga tuddamu ebibuuzo byabwe, ka tukole kyonna kye tusobola okubayigiriza engeri nabo gye bayinza okuddamu ebibuuzo by’abalala. (2 Timoseewo 2:1, 2; 1 Peetero 2:21) Ng’abakungula mu ngeri ey’akabonero, mazima ddala tusobola okuba abasanyufu kubanga abantu 4,766,631 baayigirizibwa Baibuli mu nsi yonna mu mwaka gw’obuweereza oguwedde. Tusanyuka nnyo naddala bwe tuba nga tuli bamu ku bakunguzi abeenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe.
Mweyongere Okusanyukira mu Amakungula
19. Lwaki waaliwo ensonga okusanyuka mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu n’oluvannyuma lw’obuweereza bwe ku nsi?
19 Waaliwo ensonga ennungi nnyingi ezaaleeta essanyu mu makungula mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu n’oluvannyuma lw’obuweereza bwe ku nsi. Bangi mu kiseera ekyo baasiima nnyo amawulire amalungi. N’okusingira ddala, waaliwo essanyu lya kitalo nnyo mu kiseera kya Pentekooti 33 C.E., kubanga abantu nga 3,000 bakkiriza obulagirizi bwa Peetero, ne bafuna omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu era ne bafuuka ekitundu ky’eggwanga lya Katonda, Isiraeri ey’omwoyo. Mazima ddala, beeyongera okwala era baasanyukanga ‘Yakuwa bwe yabongerangako bulijjo abaalokokanga.’—Ebikolwa 2:37-41, 46, 47; Abaggalatiya 6:16; 1 Peetero 2:9.
20. Kiki ekituleetera essanyu eringi ennyo mu mulimu gwaffe ogw’okukungula?
20 Mu kiseera ekyo, obunnabbi bwa Isaaya bwali butuukirizibwa: “Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng’essanyu bwe liri ery’omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago.” (Isaaya 9:3) Wadde nga kumpi ‘eggwanga eryaze’ ery’abaafukibwako amafuta lijjudde, essanyu lyaffe lyeyongera bwe tulaba omuwendo gw’abakunguzi abalala nga gweyongerako buli mwaka.—Zabbuli 4:7; Zekkaliya 8:23; Yokaana 10:16.
21. Kiki kye tunaakubaganyaako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
21 Awatali kubuusabuusa tulina ensonga ennungi okweyongera okuba abasanyufu mu mulimu gwaffe ogw’okukungula. Obubaka bwaffe obuwa essuubi, okunoonya abo abagwanira, n’embeera ey’emirembe gye tulina, ze nsonga ezituwa essanyu ng’abakunguzi. Naye ate, zireetera abantu abalala bangi obutasiima bye tubabuulira. Ekyo kyatuuka ku mutume Yokaana. Yasibibwa ku kizinga kye Patumo ‘olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okuwa obujulirwa obukwata ku Yesu.’ (Okubikkulirwa 1:9) Kati olwo, tuyinza tutya okukuuma essanyu lyaffe bwe twolekagana n’okuyigganyizibwa era n’okuziyizibwa? Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza abo abakakanyavu mu be tubuulira? Ekitundu kyaffe ekiddako kijja kutuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo nga tukozesa Ebyawandiikibwa.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusooka enteekateeka ez’okuyigiriza abantu Baibuli zaakolebwanga mu bifo abantu abaagala amazima gye baali bayinza okukuŋŋaanira awamu. Kyokka, amangu ddala, baatandika okuyigiriza abantu kinnoomu era n’amaka. Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 574, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Omulimu gw’okukungula ogw’akabonero gwe guluwa?
• Bubaka bwa ngeri ki bwe tulangirira?
• Lwaki tutuuka ku buwanguzi mu kunoonya abayigirizwa?
• Tuyinza tutya okukuuma emirembe mu mulimu gw’okukungula?
• Lwaki tweyongera okusanyukira mu makungula?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Okubuulira mu kyasa ekyasooka ne mu kya 20
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Okufaananako Pawulo, abakunguzi ab’omu kiseera kino bagezaako okutuukirira abantu mu buli kifo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Langirira amawulire amalungi mu ngeri ey’essanyu era ey’emirembe