LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 8/1 lup. 12-17
  • Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Bakyayibwa’
  • Obubaka Obuwonya Obulamu
  • Bayigganyizibwa Naye Basanyufu
  • Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula
  • Mubeere Abakunguzi Abasanyufu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Ennimiro Zituuse Okukungula
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Weenyigire mu Bujjuvu mu Makungula ag’eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Wenyigire mu Bujjuvu mu Mulimu gw’Amakungula
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 8/1 lup. 12-17

Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula!

“Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.”​—ZABBULI 126:5.

1. Lwaki kisaana “okusaba Omukulu w’eby’okukungula asindike abakozi leero?”

OLUVANNYUMA lw’olugendo lwe olw’okusatu olw’okubuulira mu Ggaliraaya, Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be: “Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono.” (Matayo 9:37) Embeera bw’etyo bwe yali ne mu Buyudaaya. (Lukka 10:2) Bwe kiba nga bwe kityo bwe kyali emyaka kumpi 2000 egiyise, kiri kitya leero? Mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka 6,000,000 baanyiikirira omulimu gw’okukungula ogw’akabonero mu nsi erimu abantu 6,000,000,000 nga bangi ku bo ‘bakooye nnyo era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.’ N’olwekyo, okukubiriza kwa Yesu ‘okw’okusaba Omukulu w’eby’okukungula asindike abakozi mu by’okukungula bye,’ kutuukirawo mu kiseera kino nga bwe kyali ebyasa bingi ebiyise.​—Matayo 9:36, 38.

2. Kiki ekireetera abantu okutumanya?

2 Yakuwa Katonda, Omukulu w’eby’okukungula, amaze okuddamu okusaba kwaffe okw’okusindika abakozi abalala. Era nga kya ssanyu okwenyigira mu mulimu guno ogw’okukungula ogulina obulagirizi bwa Katonda! Wadde nga tuli batono nnyo bw’ogeraageranya n’abantu abali mu nsi, bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa, kireetera abantu mu nsi okututegeera. Mu nsi nnyingi, batwogerako nnyo ku mikutu gy’eby’empuliziganya. Singa akade k’oku luggi kavuga mu muzannyo oguba ku ttivi, kiyinza okuleetera abantu okugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baabo bazze. Yee, omulimu gwaffe ogw’Ekikristaayo ng’abakunguzi mu ngeri ey’akabonero, gumanyiddwa bulungi nnyo mu kyasa kino ekya 21.

3. (a) Tumanya tutya nti omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu kyasa ekyasooka gwali gumanyiddwa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti bamalayika batuyamba mu buweereza bwaffe?

3 Ensi yategeera omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu kyasa ekyasooka era n’eyigganya abalangirizi b’amawulire amalungi. Bwe kityo, omutume Pawulo yawandiika: “Ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa enkomerero ng’abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n’abantu.” (1 Abakkolinso 4:9) Mu ngeri y’emu, bwe tuba abalangirizi b’Obwakabaka abanyiikivu, wadde nga tuyigganyizibwa, kireetera ensi okutumanya era kiba kikulu nnyo n’eri bamalayika. Okubikkulirwa 14:6 wagamba: “Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri [“amawulire amalungi,” NW] ey’emirembe n’emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” Yee, bamalayika batuyamba mu buweereza bwaffe, mu mulimu gwaffe ogw’okukungula!​—Abaebbulaniya 1:13, 14.

‘Bakyayibwa’

4, 5. (a) Kulabula ki Yesu kwe yawa abayigirizwa be? (b) Lwaki abaweereza ba Katonda ab’ekiseera kino ‘bakyayibwa’?

4 Yesu bwe yatuma abatume be okuba abakunguzi, baagoberera ebiragiro bye ‘eby’okubanga n’amagezi ng’emisota, n’obutaba na bukuusa ng’amayiba.’ Era, Yesu yagattako: “Mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; era mulitwalibwa eri abaamasaza n’eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n’amawanga. . . . Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.”​—Matayo 10:16-22.

5 Leero ‘tukyayibwa’ kubanga ‘ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi,’ Setaani Omulyolyomi, omulabe omukulu owa Katonda n’abantu be. (1 Yokaana 5:19) Abalabe baffe balaba okukulaakulana kwaffe okw’eby’omwoyo naye tebakkiriza nti Yakuwa y’akuleeseewo. Abatuziyiza balaba essanyu lye tuba nalyo nga twenyigidde mu mulimu gw’okukungula. Bawuniikirira olw’obumu bwe tulina! Mu butuufu, bayinza okuwalirizibwa okukkiriza bwe batambulako mu nsi endala era ne basanga nga Abajulirwa ba Yakuwa abaliyo bakola omulimu gwe gumu gwe baalaba mu nsi yaabwe. Kya lwatu, tumanyi nti ekiseera kijja kutuuka, Yakuwa, omuwagizi waffe era ensibuko y’obumu bwe tulina, amanyisibwe eri abalabe baffe.​—Ezeekyeri 38:10-12, 23.

6. Bukakafu ki bwe tuba nabwo nga twenyigidde mu mulimu gw’okukungula, naye kibuuzo ki ekijjawo?

6 Omukulu w’eby’okukungula awadde Omwana we, Yesu Kristo, “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Matayo 28:18) Bwe kityo, Yakuwa akozesa Yesu okuwa obulagirizi mu mulimu gw’okukungula okuyitira mu bamalayika be abali mu ggulu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ eyafukibwako amafuta ali wano ku nsi. (Matayo 24:45-47; Okubikkulirwa 14:6, 7) Naye tuyinza tutya okwaŋŋanga abalabe abatuziyiza ng’ate eno bwe tukuuma essanyu lyaffe nga tweyongera okunyiikirira omulimu gw’okukungula?

7. Ndowooza ki gye twandifubye okuba nayo bwe tuba tuziyizibwa oba nga tuyigganyizibwa?

7 Bwe twolekagana n’okuziyizibwa oba okuyigganyizibwa, tusabe Katonda atuwe obuyambi tusobole okukuuma essanyu lyaffe nga Pawulo bwe yali. Yawandiika: “Bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; bwe tuwaayirizibwa, twegayirira.” (1 Abakkolinso 4:12, 13) Bwe tuba n’endowooza ng’eyo nga tubuulira abantu mu ngeri ey’amagezi, oluusi kiyinza okukyusa endowooza z’abo abatuziyiza.

8. Kubudaabudaki kw’ofuna okuva mu bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:28?

8 Ka kibe nga tutiisibwatiisibwa okuttibwa, ekyo tekyandituletedde kuddirira mu mulimu gw’okukungula. Tulangirira obubaka bw’Obwakabaka mu lujjudde awatali kutya. Era tuzzibwamu amaanyi ebigambo bya Yesu: “Temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.” (Matayo 10:28) Tukimanyi nti Kitaffe ali mu ggulu ye Mugabi w’obulamu. Awa empeera abo abakuuma obugolokofu era abeeyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okukungula.

Obubaka Obuwonya Obulamu

9. Abamu baayanukula batya ebigambo bya Ezeekyeri, era mbeera ki eriwo leero egifaananako?

9 Nnabbi Ezeekyeri bwe yalangirira obubaka bwa Yakuwa n’obuvumu eri “amawanga amajeemu,” obwakabaka bwa Isiraeri ne Yuda, abantu abamu baasanyuka okuwulira kye yali agamba. (Ezeekyeri 2:3) Yakuwa yagamba: “Laba, oli gye bali ng’oluyimba olulungi ennyo olw’omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga.” (Ezeekyeri 33:32) Wadde nga baasiima ebigambo bya Ezeekyeri, baalemererwa okubikolerako. Kiri kitya leero? Ensigalira y’abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala bwe balangirira obubaka bwa Yakuwa n’obuvumu, abamu baba baagala okuwulira ebikwata ku mikisa gy’Obwakabaka, naye tebalina kye bakolawo, tebafuuka bayigirizwa wadde okutwegattako mu mulimu gw’okukungula.

10, 11. Mu kitundu ekyasooka eky’ekyasa ekya 20, kiki ekyakolebwa okwongera amaanyi mu okulangirira obubaka bwaffe obuwonya obulamu, era biki ebyavaamu?

10 Ku ludda olulala, bangi balina kye bakozeewo nga bawulidde amawulire amalungi era nabo beenyigidde mu kulangirira obubaka bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ennene ez’omuddiriŋŋanwa ezaaliwo okuva mu mwaka gwa 1922 okutuuka 1928, obubaka obukwata ku musango ogwali gusaliddwa enteekateeka ya Setaani embi, bwalangirirwa. Emikutu gya radiyo gyalangiriranga obubaka obwo obw’omusango mu nkuŋŋaana ennene. Oluvannyuma, abantu ba Katonda baabunyisa obukadde n’obukadde bwa tulakiti ezaaliko obubaka obwo.

11 Ng’emyaka gya 1930 giggwaako, engeri endala ey’okubuulira yatandikibwawo. Kuno kwali kutambula ku nguudo nga bategeeza abantu obubaka obwali ku bipande. Okusooka, abantu ba Yakuwa beetimbanga ebipande ebyalinga birangirira emboozi za bonna. Oluvannyuma, baasitulanga ebipandde ebyo nga biriko ebigambo nga “Eddiini kyambika era bulimba,” ne “Weereza Katonda ne Kristo Kabaka.” Nga batambulira mu nguudo z’omu kibuga, baasikirizanga abantu bangi okubatunuulira. ‘Ekyo kyaleetera Abajulirwa ba Yakuwa okumanyika era kyabazzaamu nnyo amaanyi,’ bw’atyo ow’oluganda eyeenyigiranga obutayosa mu mulimu gw’okubuulira ku nguudo z’ekibuga London bwe yagamba.

12. Ng’oggyeko obubaka bw’omusango gwa Katonda, kiki ekirala kye twogerako mu buweereza bwaffe, era kati baani abeegasse awamu mu kubuulira amawulire amalungi?

12 Bwe tuba tulangirira obubaka obukwata ku misango gya Yakuwa, era twogera ne ku mikisa gy’Obwakabaka egyasuubizibwa. Bwe tubuulira n’obuvumu kituyamba okunoonya abo abagwana. (Matayo 10:11) Abasinga obungi ku abo abaasembayo ab’omu kibiina ky’abaafukibwako amafuta, baayanukula omulanga gw’omulimu gw’okukungula mu myaka gya 1920 ne 1930. Kati ate mu lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1935, ne wabaawo amawulire amalungi ennyo agaali gakwata ku biseera eby’omu maaso eby’ekitalo ‘eby’ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala’ abanaabeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Bategedde obubaka obukwata ku musango gwa Katonda era beegasse n’abaafukibwako amafuta mu kubuulira amawulire amalungi agalokola obulamu.

13, 14. (a) Kubudaabuda ki okuyinza okufunibwa okuva mu Zabbuli 126:5, 6? (b) Bwe tweyongera okusiga n’okufukirira, kiki ekinaabaawo?

13 Ekibudaabuda ennyo abakozi ba Katonda ab’eby’amakungula, n’okusingira ddala abo abayigganyizibwa, bye bigambo ebiri mu Zabbuli 126:5, 6: “Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka. Newakubadde nga yagenda ng’akaaba, ng’atwala ensigo; alidda nate n’essanyu, ng’aleeta ebinywa bye.” Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebikwata ku kusiga n’okukungula biraga engeri Yakuwa gye yafaayo era gye yawaamu emikisa ensigalira y’Abayudaaya abaakomezebwawo okuva mu buwambe mu Babulooni. Baasanyuka nnyo bwe baateebwa, naye bayinza okuba nga baakaaba bwe baasiga ensigo mu ttaka eryali lirekeddwa awo ttayo okumala emyaka 70 nga bali mu buwambe. Kyokka, abo abaasiga ensigo era ne beezimbira amayumba, baasanyuka olw’ebibala ebyava mu kufuba kwabwe.

14 Tuyinza okukaaba bwe tuba mu buzibu oba nga basinza bannaffe babonaabona olw’obutuukirivu. (1 Peetero 3:14) Okusooka, tuyinza okusanga obuzibu mu mulimu gwaffe ogw’okukungula kubanga kiyinza okulabika nga awatali kirungi kyonna ekiva mu kufuba kwaffe mu buweereza. Naye bwe tweyongera okusiga n’okufukirira, Katonda ajja kutusobozesa okufuna ebibala, mu ngeri gye tutayinza na kusuubira. (1 Abakkolinso 3:6) Ekyo kyeyolekera bulungi nnyo mu ebyo ebiva mu mulimu gwaffe ogw’okubunyisa Baibuli n’ebitabo ebirala ebigyesigamiziddwako.

15. Waayo ekyokulabirako ekiraga omugaso gw’ebitabo by’Ekikristaayo mu mulimu gw’okukungula.

15 Lowooza ku kyokulabirako ky’omusajja ayitibwa Jim. Maama we bwe yafa, mu bintu bye yasangamu ekitabo ekiyitibwa Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? a Yakisoma ng’ayagala amanye ebisingawo. Bwe yali ng’akubaganya ebirowoozo n’Omujulirwa eyamusanga ku luguudo, Jim yakkiriza baddemu okusisinkana, era kino kyavaamu okumuyigiriza Baibuli. Jim yakulaakulana mangu nnyo ne yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa. Abalala ab’omu maka ge yabategeeza bye yali ayiga. Ekyavaamu, muganda we ne mwannyina baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa, oluvannyuma, Jim yafuna enkizo ey’okukola nga nnakyewa mu maka ga Beseri ag’omu London.

Bayigganyizibwa Naye Basanyufu

16. (a) Lwaki wabaddewo obuwanguzi mu mulimu gw’okukungula? (b) Kulabula ki Yesu kwe yawa okukwata ku mawulire amalungi kye gayinza okukola, naye abantu tubatuukirira mu ngeri ki?

16 Lwaki wabaddewo obuwanguzi ng’obwo mu mulimu gw’okukungula? Kubanga Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe bagoberedde obulagirizi bwa Yesu: “Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba.” (Matayo 10:27) Kyokka, tusobola okusuubira ebizibu, kubanga Yesu yalabula: “Ow’oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa.” Era Yesu yagamba: “Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.” (Matayo 10:21, 34) Yesu teyalina kigendererwa kya kwabuluzaamu maka. Naye, amawulire amalungi ebiseera ebimu gaali gasobola okukikola. Ekintu kye kimu n’eri abaweereza ba Katonda leero. Bwe tukyalira amaka, tetuba na kigendererwa kya kugaabuluzaamu. Kwe kwagala kwaffe buli muntu ategeere amawulire amalungi. N’olwekyo, tugezaako okutuukirira abantu bonna be tusanga mu maka mu ngeri ey’ekisa ereetera obubaka bwaffe okwagalibwa abo ‘abaagala obulamu obutaggwaawo.’​—Ebikolwa 13:48.

17. Abo abawagira obufuzi bwa Katonda baawulwawo batya, era kyakulabirako ki ekiraga ekyo?

17 Obubaka bw’Obwakabaka bwawuddewo abo abawagira obufuzi bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri basinza bannaffe gye baali ab’enjawulo kubanga bo ‘baasasula Kayisaali ebibye era ne Katonda ebibye’ mu kiseera ky’obufuzi bwa Hitler mu Bugirimaani. (Lukka 20:25) Obutafaanana bakulembeze b’amaddiini n’abo abaali beeyita Abakristaayo mu Kristendomu, Abajulirwa ba Yakuwa baanywera era tebekkiriranya misingi gya Baibuli. (Isaaya 2:4; Matayo 4:10; Yokaana 17:16) Profesa Christine King, omuwandiisi w’ekitabo The Nazi State and the New Religions, yagamba: “Wadde nga gavumenti ya Hitler yatta enkumi n’enkumi z’Abajulirwa, teyasobola kubawangula. Omulimu gwabwe gweyongera mu maaso, era mu Maayi 1945 ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa kyali kikyaliwo, ate nga bwo obufuzi bwa Hitler tebukyaliwo.”

18. Ndowooza ki abantu ba Yakuwa gye booleka wadde nga bayigganyizibwa?

18 Ekikulu ennyo gwe mwoyo abantu ba Yakuwa gwe booleka nga boolekaganye n’okuyigganyizibwa. Wadde ng’abafuzi bayinza okuwuniikirira olw’okukkiriza kwaffe, era beewuunya okulaba nga tetwoleka bukyayi bwonna. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa abaawona okuttibwa okw’ekikungo mu kiseera kya Hitler bulijjo booleka essanyu n’obumativu bwe bajjukira ebyabatuukako mu kiseera ekyo. Bakimanyi nti Yakuwa yabawa ‘amaanyi okusinga ku ga bulijjo.’ (2 Abakkolinso 4:7) Abaafukibwako amafuta abakyaliwo bakakafu nti ‘amannya gaabwe gawandiikiddwa mu ggulu.’ (Lukka 10:20) Obugumiikiriza bwabwe bubaleetera okuba n’essuubi, era n’abakunguzi abalala abeesigwa abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo balina obumativu ng’obwo.​—Abaruumi 5:4, 5.

Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula

19. Nkola ki ennungi ezikozeseddwa mu buweereza bw’Ekikristaayo?

19 Tetumanyi kiseera kisigaddeyo nga Yakuwa akyatulesse okwenyigira mu mulimu guno ogw’okukungula ogw’akabonero. Naye mu kiseera kino, tusaanye tukitegeere nti abakunguzi baba n’enkola gye bagoberera mu mulimu gwabwe. Mu ngeri y’emu, tusobola okuba abakakafu nti bwe tukozesa engeri z’okubuulira ezimaze okugezesebwa tujja kufuna ebibala. Pawulo yagamba bakkiriza banne: “Kyenva mbeegayirira okungobereranga.” (1 Abakkolinso 4:16) Pawulo bwe yasisinkana abakadde b’omu Efeso e Maluta, yabajjukiza nti teyeekeka kubayigiriza ‘mu maaso g’abantu ne mu buli nju.’ (Ebikolwa 20:20, 21) Timoseewo munne wa Pawulo yali amaze okuyiga engeri z’abatume ez’okuyigiriza era bwe kityo yali asobola okuziyigiriza Abakkolinso. (1 Abakkolinso 4:17) Nga Katonda bwe yawa Pawulo omukisa mu kuyigiriza kwe, era bw’atyo bw’ajja okuwa omukisa obunyiikivu bwaffe mu kubuulira amawulire amalungi mu lujjudde, nga tugenda nnyumba ku nnyumba, nga tukola okuddiŋŋana, nga tuyigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe era nga tugenda mu buli bifo abantu gye bayinza okusangibwa.​—Ebikolwa 17:17.

20. Yesu yakiraga atya nti waaliwo eby’okukungula bingi mu by’omwoyo, era kino kituukiridde kitya mu myaka emitono egyakayita?

20 Oluvannyuma lw’okubuulira omukyala Omusamaliya okumpi ne Sukali mu mwaka 30 C.E., Yesu yayogera ku makungula ag’eby’omwoyo. Yagamba abayigirizwa be: “Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. Akungula aweebwa empeera, n’akuŋŋaanya ebibala olw’obulamu obutaggwaawo; asiga n’akungula basanyukire wamu.” (Yokaana 4:34-36) Oboolyawo Yesu yali amaze okulaba ebyali biva mu kwogera n’omukyala Omusamaliya, kubanga bangi baali bamukkiriza olw’ebigambo omukyala Omusamaliya bye yali abategeezezza. (Yokaana 4:39) Mu myaka mitono egyakayita, ensi nnyingi zirekedde awo okukugira Abajulirwa ba Yakuwa oba zibawandiisizza mu mateeka, bwe kityo ne kisobozesa okufuna ebifo ebirala eby’okukungulamu. Ekivuddemu kiri nti, waliwo okukulaakulana kungi nnyo mu makungula ag’eby’omwoyo. Mu butuufu, mu nsi yonna, waliwo emikisa mingi nnyo egifunibwa nga bwe tweyongera okwenyigira mu mulimu gw’okukungula ogw’eby’omwoyo.

21. Lwaki tulina ensonga okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okukungula?

21 Ebibala bwe biba nga byengedde era nga bituuse okukungula, abakozi bateekwa okukolerawo amangu. Bateekwa okufuba ennyo awatali kulwa. Leero, twetaaga okukola n’obunyiikivu kubanga tuli mu nnaku ‘ez’enkomerero.’ (Danyeri 12:4) Kituufu, twolekagana n’ebizibu, naye waliwo amakungula mangi nnyo ag’abantu abanaasinza Yakuwa n’okusinga bwe kyali kibadde. N’olwekyo, luno lunaku lwa kusanyuka. (Isaaya 9:3) Ng’abakozi abasanyufu, ka tweyongere okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okukungula!

[Obugambo obuli wansi]

a Kikubibwa era ne kibunyisibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

• Omukulu w’eby’okukungula ayanukudde atya okusaba kw’okutuma abakozi abalala?

• Wadde nga ‘tukyayibwa,’ ndowooza ki gye tweyongera okuba nayo?

• Lwaki tusanyuka wadde nga tuyigganyizibwa?

• Lwaki tulina okukola omulimu gw’okukungula mu bwangu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Okutambula nga beetimbye ebipande, kyaviirako bangi okutegeera obubaka bw’Obwakabaka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Tusiga era ne tufukirira, naye Katonda y’akuza

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]

Abo abenyigira mu makungula ag’eby’omwoyo balina obuyambi bwa bamalayika

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share