Weenyigire mu Bujjuvu mu Makungula ag’eby’Omwoyo
“Mube n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”—1 KOL. 15:58.
1. Kiki Yesu kye yakubiriza abayigirizwa be okukola?
BWE yali ayita mu kitundu ky’e Samaliya awo ng’omwaka gwa 30 Embala Eno (E.E.) gunaatera okuggwako, Yesu yayimirirako ku luzzi oluli okumpi n’ekibuga Sukali asobole okuwummulako. Ng’ali awo, yagamba abayigirizwa be nti: “Muyimuse amaaso gammwe mulabe ennimiro; zituuse okukungula.” (Yok. 4:35) Wano Yesu yali tayogera ku kukungula birime, wabula yali ayogera ku kukuŋŋaanyizibwa kw’abantu ab’emitima emirungi abandifuuse abagoberezi be. Mu kwogera atyo, yali akubiriza abayigirizwa be okubaako kye bakolawo. Waaliwo omulimu munene nnyo ogw’okukola ng’ate ekiseera eky’okugukoleramu kitono nnyo!
2, 3. (a) Kiki ekiraga nti tuli mu kiseera eky’amakungula? (b) Bintu ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
2 Ebigambo bya Yesu ebikwata ku makungula bya makulu nnyo mu kiseera kyaffe. Tuli mu kiseera ng’ennimiro—abantu abali mu nsi—‘etuuse okukungulwa.’ Buli mwaka, obukadde n’obukadde bw’abantu bafuna akakisa okuyiga amazima aganaabasobozesa okufuna obulamu, era abayigirizwa abapya bangi babatizibwa. Tulina enkizo ya maanyi okwenyigira mu makungula agatabangawo mu byafaayo by’omuntu, nga tukolera ku bulagirizi bwa Nnannyini makungula, Yakuwa Katonda. Olina “eby’okukola bingi” mu mulimu guno ogw’amakungula?—1 Kol. 15:58.
3 Mu myaka essatu n’ekitundu gye yamala mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yateekateeka abayigirizwa be basobole okwenyigira mu mulimu gw’amakungula. Mu kitundu kino tugenda kwetegerezaayo ebintu bisatu Yesu bye yayigiriza abayigirizwa be. Buli kimu ku bintu ebyo kiraga engeri ey’omuwendo gye tulina okufuba okukulaakulanya okusobola okwenyigira obulungi mu mulimu gw’okukuŋŋaanya abayigirizwa ogukolebwa mu kiseera kino. Kati ka twetegereze engeri zino emu ku emu.
Kikulu Okuba Abeetoowaze
4. Yesu yalaga atya nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze?
4 Kuba akafaananyi ng’abayigirizwa baakamala okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo asinga obukulu. Amaaso gaabwe galaga nti buli omu akyanyiigidde munne. Yesu ayita omwana omuto n’amuyimiriza wakati waabwe. Era abagamba nti: “Buli eyeetoowaza [oba, “buli eyeefuula omutono,” Byington] ng’omwana ono omuto, y’asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.” (Soma Matayo 18:1-4.) Mu kifo ky’okuba n’endowooza ng’ey’abantu b’ensi abaagala ennyo obuyinza, eby’obugagga, n’ebifo ebya waggulu, abayigirizwa baalina okukitegeera nti okusobola okuba abakulu kyali kibeetaagisa ‘okwefuula abatono’ mu maaso g’abalala. Yakuwa teyandibawadde mikisa gye wadde okubakozesa okujjako nga bafubye okwoleka obwetoowaze obwa nnamaddala.
5, 6. Lwaki kikwetaagisa okuba omwetoowaze okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula? Waayo ekyokulabirako.
5 N’okutuusa leero, abantu bangi mu nsi beemalira ku kunoonya obuyinza, eby’obugagga, n’ebifo ebya waggulu. N’ekivuddemu, balina ebiseera bitono nnyo oba tebakyalina biseera kuyiga bikwata ku Katonda na kumuweereza. (Mat. 13:22) Ku luuyi olulala, abantu ba Yakuwa ‘beefuula batono’ mu maaso g’abalala basobole okusiimibwa Nnannyini makungula era bafune emikisa gye.—Mat. 6:24; 2 Kol. 11:7; Baf. 3:8.
6 Lowooza ku kyokulabirako kya Francisco, aweereza ng’omukadde mu Amerika. Bwe yali akyali muvubuka, yaleka emisomo gye egya yunivasite asobole okuweereza nga payoniya. Agamba nti: “Bwe nnali nnaatera okuwasa, nnali nsobola okufuna omulimu ogwanditusobozesezza, nze ne mukyala wange, okufuna ssente ennyingi. Kyokka ebyo byonna twasalawo okubyerekereza tusobole okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Oluvannyuma bwe twazaala abaana, embeera yeeyongera okuzibuwala. Naye Yakuwa yatuyamba okunywerera ku ekyo kye twali tusazeewo okukola.” Francisco amaliriza ng’agamba nti: “Kati mazze emyaka egisukka mu 30 nga mpeereza ng’omukadde, era nfunye n’enkizo endala nnyingi. Sejjusangako olw’okwerekereza bintu ebyo.”
7. Ofubye otya okukolera ku bigambo ebiri mu Abaruumi 12:16?
7 Singa weewala ‘okwegulumiza’ mu nsi eno era n’ofuba okuba “n’endowooza ey’okwetoowaza,” naawe ojja kufuna enkizo nnyingi n’emikisa mu mulimu gw’amakungula.—Bar. 12:16; Mat. 4:19, 20; Luk. 18:28-30.
Obunyiikivu Buvaamu Ebirungi
8, 9. (a) Mu bufunze, yogera ku lugero lwa Yesu olwa ttalanta. (b) Okusingira ddala baani abayinza okuzzibwamu amaanyi olugero luno?
8 Engeri endala gye tusaanidde okukulaakulanya okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula bwe bunyiikivu. Kino Yesu yakiraga bulungi mu lugero lwa ttalanta.a Olugero luno lukwata ku musajja eyali anaatera okugenda mu nsi ey’ewala, naye ebintu bye n’asalawo okubirekera abaddu be basatu. Omuddu eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, ow’okubiri n’amuwa ttalanta bbiri, n’ow’okusatu n’amuwa ttalanta emu. Mukama waabwe bwe yagenda, amangu ago abaddu ababiri baakola n’obunyiikivu ne ‘basuubuza’ ttalanta zaabwe. Naye ye omuddu ow’okusatu yali ‘mugayaavu.’ Yasima ekinnya n’akwekamu ttalanta eyamuweebwa. Omusajja oyo bwe yakomawo, yawa abaddu be ababiri empeera ng’abakwasa “ebintu bingi.” Yaggyako omuddu ow’okusatu ttalanta gye yali amuwadde era n’amugoba mu nnyumba ye.—Mat. 25:14-30.
9 Tewali kubuusabuusa nti wandyagadde okukoppa abaddu abanyiikivu aboogerwako mu lugero lwa Yesu ng’okola kyonna ky’osobola okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Naye kiri kitya singa embeera zo zikulemesa okukola ekyo kye wandyagadde okukola mu buweereza bwo? Oboolyawo obuzibu bw’eby’enfuna bukuwaliriza okumala essaawa nnyingi ku mulimu osobole okufuna ssente ez’okulabirira ab’omu maka go. Oba kiyinza okuba nti obukadde oba obulwadde bukuleetedde okunafuwa mu mubiri. Bwe kiba kityo, ebyo ebiri mu lugero lwa ttalanta bisobola okukuzzaamu amaanyi.
10. Omusajja ayogerwako mu lugero lwa ttalanta yalaga atya nti yali amanyi obusobozi bw’abaddu be, era ekyo kikuzzaamu kitya amaanyi?
10 Weetegereze nti omusajja ayogerwako mu lugero yali akimanyi nti abaddu be baalina obusobozi bwa njawulo. Kino yakiraga ng’awa abaddu be ttalanta “buli omu okusinziira ku busobozi bwe.” (Mat. 25:15) Nga bwe kyali kisuubirwa, omuddu asooka yakola amagoba mangi okusinga omuddu ow’okubiri. Wadde kyali kityo, mukama waabwe bombi yabasiima olw’obunyiikivu bwabwe ng’abayita abaddu ‘abalungi era abeesigwa’ era yabawa empeera y’emu. (Mat. 25:21, 23) Mu ngeri y’emu, Nnannyini makungula, Yakuwa Katonda, akimanyi bulungi nti embeera zo zikola kinene ku ekyo ky’osobola okukola mu buweereza bwe. Tasobola kubuusa maaso ebyo byonna by’okola n’omutima gwo gwonna okusobola okumuweereza era ajja kukuwa empeera.—Mak. 14:3-9; soma Lukka 21:1-4.
11. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okuba abanyiikivu nga tuli mu mbeera enzibu kiyinza okuvaamu ebirungi.
11 Ekyokulabirako kya Selmira, mwannyinaffe abeera mu Brazil, kiraga nti tekyetaagisa kuba mu mbeera nnungi okusobola okuweereza Katonda n’obunyiikivu. Emyaka 20 emabega, bba wa Selmira yattibwa ababbi, n’amuleka n’abaana abato basatu. Omulimu mwannyinaffe gwe yali akola ng’omukozi wa waka gwamwetaagisanga okukola okumala essaawa nnyingi n’okuyitanga mu kibuga omuli ebidduka ebingi ennyo. Wadde nga yali mu mbeera nzibu, yasobola okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Oluvannyuma babiri ku baana be nabo baatandika okuweereza nga bapayoniya. Mwannyinaffe agamba nti: “Emyaka bwe gigenze giyita, nsobodde okuyiga Baibuli n’abantu abasukka mu 20, era nga kati bafuuse baganda bange. N’okutuusa leero, abantu abo bakyali mikwano gyange. Kino kya bugagga ekitasobola kugulibwa na ssente.” Tewali kubuusabuusa nti Nnannyini makungula awadde Selmira emikisa olw’obunyiikivu bwe!
12. Tuyinza tutya okulaga nti tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?
12 Bwe kiba nti embeera gy’olimu tekusobozesa kufuna biseera bimala kwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, oyinza okubaako ky’okolawo okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula. Singa ofuba okukolera ku magezi agatuweebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa buli wiiki, kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu era oyige n’engeri ez’enjawulo mw’osobola okuweera obujulirwa. (2 Tim. 2:15) Ate era kiyinza okukwetaagisa okulekayo ebintu ebitali bikulu nnyo oba okubikola mu biseera ebirala kikuyambe okufuna ebiseera okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa awamu n’ekibiina.—Bak. 4:5.
13. Kiki ekitukubiriza okuba banyiikivu?
13 Kijjukire nti okusiima kwe tulina eri Katonda kwe kutukubiriza okuba abanyiikivu. (Zab. 40:8) Omuddu ow’okusatu ayogerwako mu lugero lwa Yesu yatya mukama we, ng’amutwala ng’omuntu omuzibu era eyeetaagisa abalala okukola ekisusse ku busobozi bwabwe. N’ekyavaamu, omuddu oyo yaziika ttalanta ye mu ttaka mu kifo ky’okugikozesa ezaalire mukama we amagoba. Okusobola okwewala okuba abagayaavu, twetaaga okufuba okuba n’enkolagana ennungi ne Nnannyini makungula, Yakuwa. N’olwekyo, tusaanidde okweteerawo ebiseera okusoma n’okufumiitiriza ku ngeri ze ez’ekitalo gamba ng’okwagala, obugumiikiriza, n’obusaasizi. Okukola ekyo kijja kutukubiriza okuba abanyiikivu mu buweereza bwe.—Luk. 6:45; Baf. 1:9-11.
“Muteekwa Okuba Abatukuvu”
14. Abo abaagala okwenyigira mu mulimu gw’amakungula bateekwa kuba bantu ba ngeri ki?
14 Ng’ajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, omutume Peetero yalaga ekyo Katonda kye yeetaagisa abaweereza be ku nsi. Yagamba nti: “Mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Muteekwa okuba abatukuvu kubanga ndi mutukuvu.’” (1 Peet. 1:15, 16; Leev. 19:2; Ma. 18:13) Ebigambo ebyo biraga nti abo abeenyigira mu mulimu gw’amakungula bateekwa okuba abayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. Ekyo okusobola okukituukako, twetaaga okubaako kye tukolawo okusobola okunaazibwa ne tutukuzibwa mu ngeri ey’akabonero. Ekyo tuyinza tutya okukikola? Tuyinza okukikola nga tuyambibwako ekigambo kya Katonda eky’amazima.
15. Maanyi ki agali mu kigambo kya Katonda eky’amazima?
15 Ekigambo kya Katonda eky’amazima kigeraageranyizibwa ku mazzi agasobola okunaaza ekintu ne kitukula. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yagamba nti ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kiyonjo mu maaso ga Katonda, ng’omugole alongooseddwa olwa Kristo, eyakinaaza ‘n’amazzi okuyitira mu kigambo kisobole okubeera ekitukuvu era nga tekiriiko kamogo.’ (Bef. 5:25-27) Emabegako, Yesu naye yali yakiraga nti ekigamba kya Katonda kye yali abuulira kisobola okulongoosa abantu. Bwe yali ayogera eri abayigirizwa be, Yesu yagamba nti: “Mmwe muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye.” (Yok. 15:3) N’olwekyo, ekigambo kya Katonda eky’amazima kirina amaanyi agasobola okulongoosa abantu mu mpisa ne mu by’omwoyo. Okusinza kwaffe okusobola okukkirizibwa mu maaso ga Katonda tuteekwa okukkiriza ekigambo kye eky’amazima okutulongoosa.
16. Tusobola tutya okusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa?
16 Bwe tuba ab’okukozesebwa mu mulimu gw’amakungula, tulina okusooka okweggyako emize emibi egiyinza okutwonoona mu by’omwoyo. Okusobola okusigala nga tulina enkizo eno ey’okwenyigira mu mulimu gw’amakungula, tuteekwa okufuba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, era n’okuba abayonjo mu mpisa. (Soma 1 Peetero 1:14-16.) Nga bwe tufuba okulaba nti bulijjo tuba bayonjo mu by’omubiri, tulina bulijjo okukkiriza ekigambo kya Katonda eky’amazima okututukuza. Kino kizingiramu okusoma Baibuli n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Era kitwetaagisa okufuba okukolera ku bintu Katonda by’atujjukiza. Okukola ekyo, kijja kutuyamba okulwanyisa okwegomba kw’emibiri gyaffe okubi era kituyambe okwewala okutwalirizibwa ebintu ebibi ebiri mu nsi eno. (Zab. 119:9; Yak. 1:21-25) Yee, nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ekigambo kya Katonda eky’amazima kisobola okutuyamba ‘okunaazibwako’ ebibi, ne bwe biba bya maanyi!—1 Kol. 6:9-11.
17. Okusobola okusigala nga tuli bayonjo, kulabula ki okuli mu Baibuli kwe tusaanidde okukolerako?
17 Okkiriza ekigambo kya Katonda eky’amazima okukutukuza? Weeyisa otya singa olagibwa akabi akali mu by’okwesanyusaamu ebitasaana ebiri mu nsi eno embi? (Zab. 101:3) Ofuba okwewala okukola omukwano ku bayizi banno oba bakozi banno abatali bakkiriza? (1 Kol. 15:33) Ofuba okulwanyisa obunafu bw’olina obuyinza okukufuula omuntu atali muyonjo mu maaso ga Yakuwa? (Bak. 3:5) Weewala okwenyigira mu nkaayana z’eby’obufuzi bw’ensi eno era n’okutwalirizibwa omwoyo gwa ggwanga ogweyolekera mu mizannyo mingi egizannyibwa leero?—Yak. 4:4.
18. Okuba abayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo kinaatuyamba kitya okubala ebibala mu mulimu gw’amakungula?
18 Bw’ofuba okugoberera obulagirizi bwa Katonda mu nsonga ng’ezo, kijja kukuviiramu emikisa mingi. Ng’ageraageranya abayigirizwa be abaafukibwako amafuta ku matabi g’omuzabbibu, Yesu yagamba nti: “Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala [Kitange] aliggyawo, era eryo eribala ebibala alirongoosa lisobole okweyongera okubala.” (Yok. 15:2) Bwe weeyongera okukkiriza amazima ga Baibuli okukutukuza, ojja kweyongera okubala ebibala.
Emikisa mu Kiseera Kino n’eky’Omu Maaso
19. Mikisa ki abayigirizwa ba Yesu gye baafuna olw’okubeera abanyiikivu mu mulimu gw’amakungula?
19 Abayigirizwa abeesigwa abaakolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza oluvannyuma baaweebwa omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. okuwa obujulirwa “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Baafuna enkizo okuweereza ku kakiiko akafuzi, okuweereza ng’abaminsani, okuweereza ng’abakadde abakyalira ebibiina, era baakola kinene nnyo mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Nga baafuna emikisa mingi, era nga baaganyula nnyo abalala!
20. (a) Mikisa ki gy’ofunye olw’okwenyigira mu bujjuvu mu makungula ag’eby’omwoyo? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Yee, bwe tufuba okuba abeetoowaze, ne tuba banyiikivu, era ne tunywerera ku mitindo egya waggulu egiri mu Kigambo kya Katonda, tujja kusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula ag’eby’omwoyo ogukolebwa mu kiseera kino. Wadde ng’abantu bangi abanoonya eby’obugagga n’amasanyu mu nsi eno si basanyufu, ffe tulina essanyu erya nnamaddala n’obumativu. (Zab. 126:6) N’ekisinga byonna, “okutegana kwa[ffe] si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Nnannyini makungula, Yakuwa Katonda, ajja kutuwa emikisa egy’olubeerera ‘olw’omulimu gwaffe n’okwagala kwe tulaga erinnya lye.’—Beb. 6:10-12.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde ng’olugero lwa ttalanta okusingira ddala lukwata ku bayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta, lulimu ebintu ebikwata ku Bakristaayo bonna.
Ojjukira?
Nga bw’ofuba okwenyigira mu mulimu gw’amakungula . . .
• lwaki kikulu okuba omwetoowaze?
• kiki ekinaakuyamba okuba omunyiikivu?
• lwaki kikulu okuba omuyonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Obwetoowaze butuyamba okwemalira ku mirimu gy’Obwakabaka