Tuuka ku Mutima gw’Omuyizi Wo
1 Yesu bwe yali nga tannagenda mu ggulu, yagamba abayigirizwa be okuyigiriza abalala “okukwata” byonna bye yabalagira. (Mat. 28:19, 20) Omuntu bw’aba ‘ow’okukwata’’ ebiragiro bya Kristo, by’omuyigiriza birina okutuuka ku mutima gwe. (Zab. 119:112) Oyinza otya okutuuka ku mutima gw’omuntu gw’oyigiriza Baibuli?
2 Saba Obulagirizi bwa Yakuwa: Okufuula abayigirizwa mulimu gwa Katonda. Tusobola okutuuka ku buwanguzi olw’emikisa gy’atuwa so si olw’obusobozi bwaffe. (Bik. 16:14; 1 Kol. 3:7) N’olwekyo, kikulu nnyo okusaba obuyambi bwa Katonda nga tuyigiriza abalala amazima.—Is. 50:4.
3 Manya Omuyizi Wo ky’Akkiriza: Okumanya abantu kye bakkiriza era n’ensonga lwaki bakikkiriza, kiyinza okutusobozesa okutegeera eky’okwogerako okusobola okutuuka ku mitima gyabwe. Lwaki omuyizi oyo asikirizibwa enjigiriza emu? Kiki ekyamuleetera okugikkiriza? Okumanya ebyo kiyinza okutuleetera okwogera n’amagezi.—Bik. 17:22, 23.
4 Kubaganya Ebirowoozo ku Byawandiikibwa mu Ngeri ey’Amagezi: Omuyizi asaanidde ategeere bulungi amazima. (Bik. 17:24-31) Tuteekwa okubawa ensonga ennungi lwaki tulina essuubi. (1 Peet. 3:15) Kyokka, bulijjo ekyo mukikole n’ekisa era n’obugumiikiriza.
5 Kozesa Ebyokulabirako mu Kuyigiriza: Ebyokulabirako tebiyamba buyambi muyizi kutegeera kyokka naye era bimuleetera okulowooza. Bituuka ku mutima ne ku birowoozo bye. Yesu yabikozesanga buli kiseera. (Mak. 4:33, 34) Kya lwatu, ekyokulabirako okuba ekirungi, kirina okutuukagana n’ensonga eba ekubaganyizibwako ebirowoozo. Era kisaana kikwate ku bulamu bw’omuyizi.
6 Mulage Emiganyulo Egiva mu Kukkiriza Amazima: Abantu baagala okumanya emiganyulo gye bafuna singa bassa mu nkola bye bayiga. Yamba omuyizi wo okulaba amagezi agali mu bigambo bya Pawulo ebiri mu 2 Timoseewo 3:14-17.
7 Toggwaamu maanyi singa abamu tebakkiriza by’obayigiriza. Abantu bonna tebayinza kubikkiriza. (Mat. 13:15) Kyokka, abantu abamu bafuuka abakkiriza. (Bik. 17:32-34) Okufuba kwo okutuuka ku mitima gy’abantu n’amawulire amalungi, ka kuyambe abantu abalala bangi okukkiriza ‘n’okukwata’ Yesu bye yalagira.